Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Malachi 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 This is the word of our Father to Israel, delivered through Malachi. Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Malaki abutuuse eri abaana ba Isirayiri.
2 "I have loved you," says our Father. "But you ask, 'How have you loved us?' Wasn't Esau Jacob's brother?" declares our Father. "Yet I loved Jacob, “Nabaagala,” bw’ayogera Mukama. “Naye mmwe ne mumbuuza nti, ‘Watwagala otya?’ “Esawu teyali muganda wa Yakobo?” bw’ayogera Mukama: “naye nze Yakobo gwe nayagala.
3 but Esau I hated. I made his hill country wasteland, left his inheritance to desert jackals." Esawu namukyawa ne nfuula ensi ye ey’ensozi okuba amatongo, obusika bwe ne mbuwa ebibe eby’omu ddungu.”
4 Edom may say, "We are shattered, but we will rebuild the ruins." But the Father of heaven's armies says: "They may build, but I will tear down. They will be called the Wicked Land, the people our Father stays angry with forever." Singa Edomu, ekika ekyava mu Esawu kigamba nti, “Wadde tukubiddwa wansi naye tulidda ne tuzimba ebyagwa.” Mukama ow’Eggye ayogera nti, “Bo balizimba, naye nze ndibimenya; era abantu banaabayitanga, ensi embi, era nti abantu Mukama be yanyiigira ennaku zonna.
5 Your own eyes will see it, and you'll say, 'Great is our Father—beyond Israel's borders!' Era amaaso gammwe galiraba ne mwogera nti, ‘Mukama agulumizibwe okusukka ensalo ya Isirayiri.’
6 "A son honors his father, a servant his master. If I am a father, where is my honor? If a master, where is my respect? says the Father of heaven's armies to you priests who despise my name. But you ask, 'How have we despised your name?'" “Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n’omuddu atya mukama we. Kale obanga ddala ndi kitammwe, ekitiibwa kye munzisaamu kiri ludda wa? Era obanga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Mukama ow’Eggye bw’abagamba mmwe nti, “Mmwe bakabona munyooma erinnya lyange. “Ne mubuuza nti, ‘Twayonoona tutya?’
7 "You put unclean food on my altar, then ask, 'How have we made you unclean?' By calling our Father's table despised. “Muwaayo ku kyoto kyange emmere eyonoonese. “Kyokka ne mwebuuza nti, ‘Twakwonoona tutya?’ “Kubanga olujjuliro lwange mulufuula ekitagasa.
8 When you offer a blind animal, isn't that evil? Offer the lame and sick—isn't that evil? Present it to your governor—will he be pleased with you? Will he accept you?" says the Father of heaven's armies. Bwe muwaayo ensolo enzibe z’amaaso okuba ssaddaaka, muba temukoze kibi? Ate bwe muwaayo eziwenyera oba endwadde, ekyo si kibi? Kale nno mugezeeko okuzitonera omufuzi wammwe, anaabasanyukira? Ye anaafaayo okukutunulako?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
9 "Now plead with our Father to be gracious to us. With such offerings from your hands, will he accept any of you?" says the Father of heaven's armies. “Kale nno mbasaba mwegayirire Katonda, atukwatirwe ekisa, kubanga ebyo ffe twabyereetera. Nga muleese ebiweebwayo ebifaanana bityo, waliwo n’omu gw’ayinza okukkiriza?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
10 "If only one of you would shut the doors, so you would not light useless fires on my altar! I take no pleasure in you," says the Father of heaven's armies, "and I will accept no offering from your hands. “Kale waakiri singa omu ku bakabona aggalawo enzigi muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange ogw’obwereere! Sibasanyukira n’akatono,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “so sikkirize kiweebwayo kyonna ekiva mu mikono gyammwe.
11 From sunrise to sunset my name will be great among the nations. Everywhere incense and pure offerings will be brought to my name, because my name will be great among the nations," says the Father of heaven's armies. Kubanga okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu baamawanga; obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, nga kuliko n’ekiweebwayo ekirongoofu, kubanga erinnya lyange kkulu mu baamawanga,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
12 "But you desecrate it, saying the Sovereign Father's table is unclean and its food may be despised." “Naye mmwe bakabona muvumisa erinnya lyange mu baamawanga buli lukya nga mugamba nti kya Mukama okuwaayo emmere etesaana n’ebiweebwayo ku kyoto kyange.
13 "You say, 'What a burden!' and snort at it in contempt," says the Father of heaven's armies. "You bring stolen, lame, and diseased animals as offerings—should I accept them from you?" says our Father. Era mwogera nti, ‘Nga tulabye;’ ne mugiwunyako ne mwetamwa, era ne mwesooza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. “Bwe muleeta ekinyage, n’ekiwenyera, n’ekirwadde, ebyo bye biweebwayo bye mulina okuleeta, mbikkirize?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
14 "Cursed is the cheat who has a sound male in his flock and vows it, but sacrifices a defective animal to the Sovereign Father. For I am a great King," says the Father of heaven's armies, "and my name is to be feared among the nations." “Buli mulimba yenna akolimirwe, oyo alina ennume mu kisibo kye eyeeyama okugiwaayo nga ssaddaaka eri Mukama naye n’awaayo ekintu ekiriko obulema: kubanga ndi Kabaka mukulu,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “n’erinnya lyange lya ntiisa mu baamawanga.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]