Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Job 35 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

1Eriku n’ayongera okwogera nti,

2“Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango.Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda.

3Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange?

4“Nandyagadde okukuddamune mikwano gyo egyo gy’oli nagyo.

5Tunula eri eggulu olabe;tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga.

6Singa oyonoona ekyo kimukwatako kitya?Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki?

7Bw’oba omutuukirivu, kiki ky’oba omuwadde,oba kiki ky’aba afunye okuva mu ngalo zo?

8Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe,era n’obutuukirivu bwo bukwata ku baana b’abantu.

9Abantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi,balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi.

10Naye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wangeatuwa ennyimba ekiro,

11atuyigiriza ebingi okusinga ensolo ez’omu nsiko,era n’atufuula bagezi okusinga ebinyonyi eby’omu nsiko?

12Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwuliran’addamu kukaaba kw’abasajja ab’amalala abakozi b’ebibi.

13Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu;Ayinzabyonna takufaako.

14Kale kiba kityabw’ogamba nti tomulaba,era nti, Omusango gwo guli mu maaso geera oteekwa okumulindirira;

15oba nti, ne bw’asunguwala tabonerezaera tafaayo nnyo ku butali butuukirivu.

16Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu;obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]