Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 53 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Who has believed our message? And to whom has the arm of our Father been revealed? Ani akkiriza ebigambo byaffe, era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?
2 For he grew up before him like a tender shoot, and like a root out of dry ground; he had no stately form or majesty to make us look at him, no beauty to attract us to him. Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ng’ekisimbe ekigonvu era ng’omulandira oguva mu ttaka ekkalu. Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali; tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.
3 He was despised and rejected by men, a man of sorrows and acquainted with grief; and like one from whom people hide their faces, he was despised, and we thought nothing of him. Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike. Tetwayagala na kumutunulako, ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo, bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.
4 Surely he has borne our griefs and carried our sorrows; yet we considered him stricken, struck down by our Father, and afflicted. Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe, obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga. Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe kyali kibonerezo okuva eri Katonda.
5 But he was pierced for our rebellion; he was crushed for our sins; the punishment that brought us peace was upon him, and by his wounds we are healed. Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe. Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya.
6 We all, like sheep, have gone astray; we have turned, each one, to his own way; and our Father has laid on him the sin of us all. Ffenna twawaba ng’endiga; buli omu ku ffe n’akwata ekkubo lye; Mukama n’amuteekako obutali butuukirivu bwaffe ffenna.
7 He was oppressed, and he was afflicted, yet he did not open his mouth; like a lamb led to the slaughter, and like a sheep silent before its shearers, so he did not open his mouth. Yanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa naye talina kye yanyega, yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika, bw’atyo bwe yasirika.
8 By oppression and judgment he was taken away; and who among his generation gave any thought to this—that he was cut off from the land of the living, struck down for the rebellion of my people? Mu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa. Ani amanyi ku bye zadde lye? Yaggyibwa mu nsi y’abalamu, ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.
9 They assigned him a grave with the wicked, and with a rich man in his death, though he had done no violence, and no deceit was in his mouth. Ne bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi, n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe, newaakubadde nga teyazza musango wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba.
10 Yet it was our Father's will to crush him and to make him suffer; when he makes his life an offering for guilt, he will see his offspring, he will live long, and the will of our Father will prosper through him. Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta, era n’okumuleetera okubonaabona. Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde, era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.
11 After the anguish of his soul he will see the light and be satisfied; by his knowledge my righteous servant will make many righteous, and he will bear their sins. Oluvannyuma lw’okubonaabona kw’obulamu bwe, bw’aliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera. Era olw’ebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu; era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
12 Therefore I will give him a portion among the many, and he will divide the spoil with the strong, because he poured out his life to death and was numbered with the transgressors; yet he bore the sin of many, and he intercedes for the transgressors. Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi, era aligabira bangi omunyago kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa, n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi. Era yeetikka ebibi by’abangi era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]