Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 54 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Sing, barren woman who never bore a child; burst into song and shout for joy, you who were never in labor! For the children of the desolate woman will be more than the children of the married woman, says our Father. “Yimba ggwe omugumba atazaalanga; tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala ggwe atalumwanga kuzaala. Kubanga ggwe eyalekebwa ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,” bw’ayogera Mukama.
2 Enlarge your tent, and let the curtains of your dwelling spread wide; do not hold back. Lengthen your cords and drive your stakes deep, “Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo, tokwata mpola; nyweza enkondo zo.
3 for you will spread out to the right and to the left; your children will possess the nations and resettle the desolate cities. Kubanga olisaasaanira ku mukono gwo ogwa ddyo era n’ogwa kkono, n’ezzadde lyo lirirya amawanga, era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo ebyereere.
4 Do not be afraid, for you will not be ashamed; do not be discouraged, for you will not be disgraced. You will forget the shame of your youth and remember no more the disgrace of your widowhood. “Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi. Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa. Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo, n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
5 For your Maker is your husband—the Father of heaven's armies is his name; the Holy One of Israel is your Redeemer, our Father of the whole earth he is called. Kubanga Omutonzi wo ye balo, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye. Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo, Katonda ow’ensi yonna, bw’ayitibwa.
6 For our Father has called you back like a wife forsaken and brokenhearted, like the wife of one's youth when she has been abandoned, says your Father. Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo, ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima; omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,” bw’ayogera Katonda wo.
7 For a brief moment I abandoned you, but with great compassion I will gather you back. “Nakulekako akaseera katono nnyo; naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.
8 In a flood of anger I hid my face from you for a moment, but with everlasting love my heart goes out to you, says our Father, your Redeemer. Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata nakweka amaaso gange okumala ekiseera, naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,” bw’ayogera Mukama Katonda, Omununuzi wo.
9 To me this is like the days of Noah, when I swore that the waters of Noah would never again flood the earth; so now I have sworn not to be angry with you or rebuke you. “Kubanga gye ndi, bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa. Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi, bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.
10 Though the mountains may depart and the hills be shaken, my loyal love will not depart from you, and my covenant of peace will not be shaken, says our Father, whose heart goes out to you in compassion. Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana so n’endagaano yange ey’emirembe teriggyibwawo,” bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.
11 "Afflicted one, storm-tossed and without comfort, look: I will set your stones in antimony and lay your foundations with sapphires. Mukama agamba nti, “Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe; laba ndikuzimba buto n’amayinja ag’amabala amalungi, emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro.
12 I will make your towers of rubies, your gates of sparkling jewels, and all your walls of precious stones. Ebitikkiro byo ndibikola n’amayinja amatwakaavu, n’emiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo, ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja ag’omuwendo.
13 All your children will be taught by our Father, and great will be the peace of your children. N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.
14 In righteousness you will be established; you will be far from oppression, for you will have nothing to fear, and far from terror, for it will not come near you. Olinywezebwa mu butuukirivu era toojoogebwenga, kubanga tolitya, onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.
15 If anyone stirs up strife against you, it is not from me; whoever attacks you will fall before you. Omuntu yenna bwakulumbanga kiriba tekivudde gye ndi. Buli anaakulumbanga anaawangulwanga ku lulwo.
16 See, it is I who created the smith who fans the coals into flame and forges a weapon fit for its work; and it is I who created the destroyer to ravage." Laba nze natonda omuweesi, awujja amanda agaliko omuliro n’aweesa ekyokulwanyisa olw’omugaso gwakyo. Era nze natonda abazikiriza abakozesa ekyokulwanyisa okumalawo obulamu.
17 No weapon forged against you will succeed, and you will refute every tongue raised against you in court. This is the inheritance of the servants of our Father, and their vindication is from me, declares our Father. Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola, era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe. Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama, n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]