Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 52 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Wake up, wake up, put on your strength, Zion; put on your beautiful garments, Jerusalem, the holy city; for the uncircumcised and the unclean will never enter you again. Zuukuka, zuukuka, oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni. Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, teekako ebyambalo byo ebitemagana. Kubanga okuva leero mu miryango gyo temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.
2 Shake yourself from the dust and arise; take your throne, Jerusalem; free yourself from the bonds around your neck, captive daughter of Zion. Weekunkumuleko enfuufu, yimuka otuule ku ntebe ey’obwakabaka ggwe Yerusaalemi. Weesumulule enjegere mu bulago bwo, ggwe Omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.
3 For this is what our Father says: "You were sold for nothing, and you will be redeemed without money." Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Mwatundibwa bwereere era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.”
4 For this is what the Sovereign Father says: "At first my people went down to Egypt to live there as foreigners, and Assyria oppressed them for nothing. Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti, “Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo, oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga.
5 "And now, what is this?" declares our Father, "seeing that my people are taken away for nothing? Their rulers wail," declares our Father, "and continually, all day long, my name is despised. “Kaakano kiki ate kye ndaba wano? “Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere era abo ababafuga babasekerera,” bw’ayogera Mukama. “Erinnya lyange livvoolebwa olunaku lwonna.
6 Therefore my people will know my name; therefore in that day they will know that it is I who speak; here I am." Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya. Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera. Weewaawo, Nze.”
7 How beautiful on the mountains are the feet of the messenger who brings good news, who proclaims peace, who brings good news of good things, who proclaims salvation, who says to Zion, "Your Father reigns!" Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi, alangirira emirembe, aleeta ebigambo ebirungi, alangirira obulokozi, agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”
8 Listen! Your watchmen lift up their voices; together they shout for joy, for with their own eyes they will see our Father returning to Zion. Wuliriza! Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa. Bonna awamu bajaguza olw’essanyu. Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe.
9 Burst into song together, you ruins of Jerusalem, for our Father has comforted his people; he has redeemed Jerusalem. Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna, mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika. Kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi.
10 Our Father has bared his holy arm in the sight of all the nations, and all the ends of the earth will see the salvation of our Father. Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna, bagulabe. Enkomerero z’ensi zonna ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.
11 Leave! Leave! Go out from there; touch no unclean thing; go out from among them; purify yourselves, you who carry the vessels of our Father. Mugende, mugende muveewo awo. Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu. Mukifulumemu mubeere balongoofu mmwe abasitula ebyombo bya Mukama.
12 For you will not go out in haste, nor will you flee; for our Father will go before you, and our Father will be your rear guard. Naye temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka; kubanga Mukama alibakulembera abasookeyo; Katonda wa Isirayiri y’alibakuuma.
13 See, my servant will act wisely; he will be raised and lifted up and highly exalted. Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi, aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa.
14 Just as many were appalled at him—his appearance was so disfigured beyond that of any man, and his form beyond that of any human being, Ng’abaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi, endabika ye ng’eyonoonese nnyo nga takyafaananika, era ng’eyonoonese evudde ku y’abantu,
15 so he will sprinkle many nations; kings will shut their mouths because of him. For what they were not told, they will see, and what they had not heard, they will understand. bw’atyo bw’anawuniikiriza amawanga mangi; bakabaka balibunira ku lulwe; kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba, era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]