Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 51 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "Listen to me, you who pursue righteousness, you who seek our Father: look to the rock from which you were cut, and to the quarry from which you were dug. “Mumpulirize, mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama: Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa.
2 Look to Abraham your father, and to Sarah who gave you birth; for when he was only one I called him, and I blessed him and made him many. Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala. Kubanga we namuyitira yali bw’omu ne mmuwa omukisa ne mmwaza.
3 For our Father comforts Zion; he comforts all her ruins. He makes her wilderness like Eden, her desert like the garden of our Father. Joy and gladness are found in her, thanksgiving and the sound of song. Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni; akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni, n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama; Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo, okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.
4 "Listen to me, my people; hear me, my nation: for a teaching will go out from me, and I will set my justice as a light to the peoples. “Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu mmwe ensi yange. Kubanga etteeka lifuluma okuva gye ndi, obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.
5 My righteousness is near, my salvation has gone out, and my arms will bring justice to the peoples; the coastlands wait for me, and they put their hope in my arm. Obutuukirivu bwange busembera mangu nnyo, obulokozi bwange buli mu kkubo. Era omukono gwange gujja kuleeta obwenkanya eri amawanga. Ebizinga birinnindirira era birindirire n’essuubi omukono gwange okubirokola.
6 Lift up your eyes to the heavens, and look at the earth beneath: the heavens will vanish like smoke, the earth will wear out like a garment, and those who live in it will die like gnats; but my salvation will last forever, and my righteousness will never be shattered. Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, mutunuulire ensi wansi! Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo. Abagituulamu balifa ng’ensowera. Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna, so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.
7 Listen to me, you who know righteousness, the people who carry my teaching in their hearts: do not fear the reproach of mortals, and do not be shattered by their insults. “Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu, eggwanga eririna amateeka gange mu mitima gyammwe. Temutya kuvumibwa bantu wadde okukeŋŋentererwa olw’okuyomba kwabwe.
8 For the moth will eat them like a garment, and the worm will eat them like wool; but my righteousness will last forever, and my salvation to all generations." Kubanga ennyenje ziribalya nga bwe zirya ebyambalo. N’obuwuka bubalye ng’obulya ebyoya by’endiga. Naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna. Obulokozi bwange bunywere emirembe gyonna.”
9 Awake, awake, clothe yourself with strength, O arm of our Father! Awake as in days of old, in the generations long past. Was it not you who cut the sea monster Rahab to pieces, who pierced the dragon through? Zuukuka, zuukuka oyimuke otuyambe Ayi Mukama Katonda. Kozesa amaanyi go otuyambe. Gakozese nga edda. Si ggwe wuuyo eyatemaatemamu Lakabu obufiififi? Si ye ggwe eyafumita ogusota?
10 Was it not you who dried up the sea, the waters of the great deep, who made the depths of the sea a road for the redeemed to cross over? Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, amazzi ag’obuziba obuwanvu ennyo ne gafuuka ekkubo abantu be wanunula bayitewo?
11 So the ransomed of our Father will return and come to Zion with singing; everlasting joy will crown their heads. Gladness and joy will overtake them, and sorrow and sighing will flee away. N’abo Mukama be wawonya balikomawo ne bajja mu Sayuuni nga bayimba. Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe. Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke.
12 "I, I am the one who comforts you. Who are you to fear mere mortals who die, people who pass away like grass, “Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi. Mmwe baani abatya omuntu alifa, n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,
13 that you forget me, your Maker, who stretched out the heavens and laid the foundations of the earth? You live in constant dread all day long because of the fury of the oppressor, who is bent on destruction. But where is the fury of the oppressor? ne weerabira Mukama Omutonzi wo eyabamba eggulu, n’ateekawo n’emisingi gy’ensi, ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya obusungu bw’abo abakunyigiriza, oyo eyemalidde mu kuzikiriza? Kubanga kale buliruddawa obulabe bw’oyo abanyigiriza?
14 The one bent down in chains will soon be set free; he will not die and go down to the pit, nor will he go hungry. Abo be bawamba ne basibibwa banaatera okuteebwa, tebalifiira mu bunnya, era tebalibulwa mmere gye balya.
15 For I am your Father, who stirs up the sea so that its waves roar—the Father of heaven's armies is his name. Kubanga nze Mukama Katonda wo, asiikuula amayengo g’ennyanja ne gawuluguma: Mukama ow’Eggye lye linnya lye.
16 And I have put my words in your mouth and covered you with the shadow of my hand, planting the heavens and laying the foundations of the earth, and saying to Zion, 'You are my people.'" Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange. Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi; era nze wuuyo agamba Sayuuni nti, ‘Muli bantu bange!’ ”
17 Awake, awake! Rise up, O Jerusalem, you who have drunk from the hand of our Father the cup of his wrath, who have drained the bowl to the dregs, the cup that makes you stagger. Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi eyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe, eyanywa n’omaliramu ddala ekibya ekitagaza.
18 Among all the children she has borne there is no one to guide her; among all the children she has raised there is no one to take her by the hand. Ku baana aboobulenzi bonna be yazaala tewali n’omu wa kumukulembera. Ku baana bonna aboobulenzi be yakuza tewali n’omu wa kumukwata ku mukono.
19 These two things have fallen on you—who will mourn for you?—ruin and destruction, famine and sword. Who can comfort you? Ebintu bino ebibiri bikuguddeko ani anaakunakuwalirako? Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala, ani anaakubeesabeesa?
20 Your children have fainted; they lie at every street corner like an antelope caught in a net, filled with the wrath of our Father, the rebuke of your Father. Batabani bo bazirise, bagudde ku buli nsonda y’oluguudo ng’engabi egudde mu kitimba. Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama, n’okunenyezebwa kwa Katonda wo.
21 Therefore hear this, you who are afflicted, drunk, but not with wine: Noolwekyo wulira kino ggwe, atamidde naye si lwa mwenge.
22 This is what your Sovereign Father says, who defends the cause of his people: 'See, I have taken from your hand the cup that makes you stagger, the bowl of my wrath; you will never drink it again.' Bw’atyo bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wo alwanirira abantu be. “Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawa olw’ekiruyi kye nalina, ekyabatagaza. Temuliddayo kukinywa nate.
23 I will put it into the hand of your tormentors, who said to you, 'Bow down so we can walk over you,' so that you made your back like the ground, like a street for them to cross. Ndikiteeka mu mikono gy’abo abaababonyaabonya abaabagamba nti, ‘Mugwe wansi mwegolole tubatambulireko.’ Emigongo gyammwe gibe ng’ettaka, ng’oluguudo olw’okulinnyirira.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]