Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 25 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 You are my Father; I will exalt you, I will praise your name, for you have done wonderful things—plans formed long ago, faithful and sure. Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange; ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo, kubanga okoze ebintu eby’ettendo, ebintu bye wateekateeka edda, mu bwesigwa bwo.
2 For you have turned a city into a heap of rubble, a fortified town into a ruin; the palace of foreigners is a city no more—it will never be rebuilt. Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro, ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo, ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga, tekirizimbibwa nate.
3 Therefore a strong people will honor you; the city of ruthless nations will fear you. Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa n’ebibuga eby’amawanga ag’entiisa birikutya.
4 For you have been a refuge to the poor, a refuge to the needy in their distress, a shelter from the storm and a shade from the heat; for the breath of the ruthless is like a storm against a wall. Ddala obadde kiddukiro eri abaavu, ekiddukiro eri oyo eyeetaaga, ekiddukiro ng’eriyo embuyaga n’ekisiikirize awali ebbugumu. Omukka gw’ab’entiisa guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge
5 Like heat in a parched land, you subdue the uproar of foreigners; as heat is subdued by the shadow of a cloud, so the song of the ruthless is silenced. era ng’ebbugumu ery’omu ddungu. Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga, era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu, n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.
6 On this mountain the Father of heaven's armies will prepare for all peoples a feast of rich food, a feast of aged wine—the finest of meats and the best of well-aged wines. Ku lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi, n’embaga eya wayini omuka n’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.
7 And on this mountain he will swallow up the shroud that enfolds all peoples, the veil that is spread over all nations. Ku lusozi luno alizikiriza ekibikka ekyetoolodde abantu bonna, n’eggigi eribikka amawanga gonna,
8 He will swallow up death forever; and the Sovereign Father will wipe away the tears from every face, and he will remove the reproach of his people from all the earth—for our Father has spoken. era alimalirawo ddala okufa. Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna, era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be mu nsi yonna. Mukama ayogedde.
9 And in that day it will be said, "Look, this is our Father; we waited for him, and he saved us. This is the Father; we waited for him—let us rejoice and be glad in his salvation." Mu biro ebyo balyogera nti, “Eky’amazima oyo ye Katonda waffe; twamwesiga n’atulokola. Ono ye Mukama Katonda twamwesiga; tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”
10 For the hand of our Father will rest on this mountain, but Moab will be trampled down in its place, as straw is trampled down in a manure pit. Ddala omukono gwa Mukama Katonda guliwummulira ku lusozi luno, naye Mowaabu alirinnyirirwa wansi we, ng’essubi bwe lirinnyirirwa okukolamu ebijimusa.
11 He will spread out his hands within Moab as a swimmer spreads out his hands to swim, but he will bring down their pride along with the craftiness of their hands. Aligolola emikono gye, ng’omuwuzi bw’agolola emikono gye ng’awuga. Katonda alikkakkanya amalala ge newaakubadde ng’emikono gye gikola eby’amagezi.
12 The high walls of your fortress he will bring down, lay low, and cast to the ground, into the dust. Alimenya bbugwe omuwanvu, n’amusuula, alimusuula ku ttaka, mu nfuufu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]