Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 24 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Look—our Father lays the earth waste and leaves it empty; he twists its surface and scatters its inhabitants. Laba Mukama alifuula ensi amatongo, agimalirewo ddala, era azikirize n’obwenyi bwayo era asaasaanye n’abagibeeramu.
2 It will be the same for the people as for the priest, for the servant as for his master, for the maid as for her mistress, for the buyer as for the seller, for the lender as for the borrower, for the creditor as for the debtor. Bwe kityo bwe kiriba, ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu, ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja, ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi, ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi, ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola, ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.
3 The earth will be utterly laid waste and utterly plundered, for our Father has spoken this word. Okumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa, n’okunyagibwa, erinyagibwa. Mukama Katonda y’akyogedde.
4 The earth mourns and withers; the world fades and withers; the exalted ones of the earth fade away. Ensi ekala n’eggwaamu obulamu, ensi ekala n’ewuubaala, abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi.
5 The earth lies defiled beneath its inhabitants, for they have disobeyed the teachings, violated the statute, and broken the everlasting covenant. Ensi eyonooneddwa abantu baayo, bajeemedde amateeka, bamenye ebiragiro, ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe.
6 Therefore a curse devours the earth, and those who dwell in it bear their guilt; therefore the earth's inhabitants are burned away, and few people are left. Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi; n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga. Abatuuze b’ensi bayidde, Era abatono be basigaddewo.
7 The new wine mourns, the vine grows weak; all the merrymakers sigh. Wayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala, ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi.
8 The joy of the tambourines is stilled, the uproar of the revelers has ceased, the joy of the lyre is stilled. Okujaguza kw’ebitaasa kusirise, n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise, entongooli esanyusa esirise.
9 No longer do they drink wine with song; strong drink turns bitter to those who drink it. Tebakyanywa nvinnyo nga bwe bayimba, n’omwenge gukaayira abagunywa.
10 The city of chaos is shattered; every house is shut up, with no way in. Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo, na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa.
11 In the streets there is an outcry over the wine; all gladness has gone dark, the joy of the earth is driven away. Bakaabira envinnyo mu nguudo, n’essanyu lyonna liweddewo, n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi.
12 Only desolation is left in the city; the gate is battered to ruins. Ekibuga kizikiridde wankaaki waakyo amenyeddwamenyeddwa.
13 For so it will be throughout the earth, among the peoples: like an olive tree beaten bare, like the grapes left behind when the harvest is done. Bwe kityo bwe kiriba ku nsi ne mu mawanga ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu.
14 They lift up their voices, they sing for joy; over the majesty of our Father they cry aloud from the west. Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu, batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.
15 Therefore in the east give glory to our Father; on the shores of the sea, glorify the name of our Father, the God of Israel. Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama, mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri, mu bizinga eby’ennyanja.
16 From the ends of the earth we hear songs: "Glory to the Righteous One!" But I said, "I waste away, I waste away—woe to me! The treacherous betray; with treachery the treacherous betray." Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi, “Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.” Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo. Zinsaze. Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe, Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.”
17 Terror and pit and snare are upon you, you who dwell on the earth! Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde, mmwe abantu b’ensi.
18 Whoever flees at the sound of the terror will fall into the pit, and whoever climbs out of the pit will be caught in the snare. For the windows of heaven are opened, and the foundations of the earth tremble. Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa, aligwa mu kinnya, na buli alirinnya n’ava mu kinnya alikwatibwa mu mutego. Enzigi z’eggulu ziguddwawo, N’emisingi gy’ensi gikankana.
19 The earth is utterly broken apart, the earth is torn apart, the earth is violently shaken. Ensi emenyeddwamenyeddwa, ensi eyawuliddwamu, ensi ekankanira ddala.
20 The earth staggers like a drunkard, it sways like a hut; its rebellion lies heavy upon it, and it falls and will not rise again. Ensi etagala ng’omutamiivu, eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga, omusango gwe gumulumiriza nnyo olw’obujeemu bwe, era ensi egwa n’etaddamu kuyimuka.
21 On that day our Father will punish the host of the heights in the heights, and the kings of the earth on the earth. Ku lunaku olwo Mukama Katonda alibonereza ab’amaanyi abali waggulu mu bwengula, ne bakabaka abali wansi ku nsi.
22 They will be herded together like prisoners into a pit; they will be locked up in a dungeon, and after many days they will be punished. Balikuŋŋaanyirizibwa wamu ng’abasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera, era baliweebwa ekibonerezo eky’okuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi.
23 Then the moon will be ashamed and the sun put to shame, for the Father of heaven's armies reigns on Mount Zion and in Jerusalem, and before his elders his glory shines. Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa; Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, ne mu maaso g’abakadde.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]