Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 23 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The oracle concerning Tyre: Wail, you ships of Tarshish, for your harbor is destroyed, left without house or haven. From the land of Cyprus the news has reached them. Obunnabbi obukwata ku Tuulo: Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo by’e Talusiisi, kubanga Tuulo kizikirizibbwa ne mutasigala nnyumba newaakubadde ebyombo we biyinza okugobera. Ekigambo kyababikulirwa okuva mu nsi ya Kittimu.
2 Be silent, you who live on the coast, you merchants of Sidon, whose messengers cross the sea. Musirike mmwe ab’oku kizinga nammwe abasuubuzi b’e Sidoni abagaggawalidde ku nnyanja.
3 Across the great waters came the grain of Shihor, the harvest of the Nile—this was her revenue; and she became the marketplace of the nations. Ku nnyanja ennene kwajjirako ensigo za Sikoli, n’ebyamakungula bya Kiyira bye byali amagoba ga Tuulo, era yafuuka akatale k’amawanga.
4 Be ashamed, Sidon, for the sea has spoken, the stronghold of the sea, saying: "I have not labored nor given birth, I have not raised young men nor brought up young women." Okwatibwe ensonyi ggwe Sidoni naawe ggwe ekigo ky’ennyanja, kubanga ennyanja eyogedde nti: “Sirumwangako kuzaala wadde okuzaalako. Sirabiriranga baana babulenzi newaakubadde okukuza abaana aboobuwala.”
5 When the report reaches Egypt, they will writhe in anguish at the news about Tyre. Ekigambo bwe kirijja eri Misiri, balinakuwalira ebigambo ebiva e Tuulo.
6 Cross over to Tarshish; wail, you who live on the coast. Muwunguke mugende e Talusiisi, mukube ebiwoobe mmwe abantu ab’oku kizinga.
7 Is this your jubilant city, whose origins go back to ancient times, whose feet carried her to settle in distant lands? Kino kye kibuga kyammwe eky’amasanyu, ekibuga ekikadde, ekyagenda okusenga mu nsi eyeewala?
8 Who has planned this against Tyre, the bestower of crowns, whose merchants were princes, whose traders were the honored of the earth? Ani eyateekateeka kino okutuuka ku Tuulo, Tuulo ekitikkira engule, ekibuga ekirina abasuubuzi abalangira, ekirina abasuubuzi abamanyifu mu nsi?
9 The Father of heaven's armies has planned it—to defile all glorious pride, to humble all the honored of the earth. Mukama Katonda ow’Eggye yakiteekateeka, amuggyemu amalala n’ekitiibwa kyonna, akkakkanye n’abo bonna abamanyifu ku nsi.
10 Flow over your land like the Nile, daughter of Tarshish; there is no harbor any longer. Ne bw’otambula ku lukalu lwonna olw’omugga Kiyira, tokyalina kifo ebyombo we bituukira ggwe muwala wa Talusiisi.
11 He has stretched out his hand over the sea; he has shaken the kingdoms. Our Father has given the command concerning Canaan to destroy her strongholds. Mukama Katonda agolodde omukono gwe eri ennyanja, n’akankanya obwakabaka bwayo. Awadde ekiragiro ekikwata ku Kanani nti ebigo byakyo birizikirizibwa.
12 He said, "You will no longer rejoice, violated virgin daughter of Sidon. Arise, cross over to Cyprus; even there you will find no rest." Yayogera nti, “Tokyaddayo kukola bya masanyu nate, ggwe muwala wa Sidoni embeerera obetenteddwa. Yambuka osomoke ogende e Kittimu, naye nayo tolifunirayo kuwummula.”
13 Look at the land of the Babylonians! This is the people who are no more; Assyria gave it over to desert creatures. They raised their siege towers, they stripped its palaces bare, they made it a ruin. Laba ensi ey’Abakaludaaya abantu abo abatakyaliwo. Omwasuli agifudde ekifo ekibeeramu ensolo ez’omu ddungu. Baayimusa eminaala gyabwe, ne bamenya ebigo byabwe, era n’abazikiriza.
14 Wail, you ships of Tarshish, for your stronghold is destroyed. Mukube ebiwoobe mmwe ebyombo by’e Talusiisi, ekigo kyo kizikiriziddwa.
15 In that day Tyre will be forgotten for seventy years, like the lifetime of one king. At the end of seventy years, Tyre's fate will be like the song of the prostitute: Mu biro ebyo Tuulo kiryerabirwa okumala emyaka nsanvu, gy’emyaka kabaka gy’awangaala. Naye oluvannyuma lw’emyaka egyo ensanvu, ekirituuka ku Tuulo kiriba ng’ekiri mu luyimba olw’omwenzi.
16 "Take a harp, go about the city, forgotten prostitute; play sweetly, sing many songs, so that you may be remembered." “Kwata ennanga, otambulire mu kibuga, ggwe omwenzi eyeerabiddwa. Ennanga gikube bulungi, oyimbe ennyimba nnyingi olyoke ojjukirwe.”
17 At the end of seventy years, our Father will turn his attention to Tyre, and she will return to her earnings, prostituting herself with all the kingdoms of the world across the earth. Oluvannyuma lw’emyaka ensanvu, Mukama alikyalira Tuulo. Aliddayo ku mulimu gwe ogw’obwamalaaya, era alibukola mu bwakabaka bwonna obuli ku nsi.
18 But her profit and her earnings will be set apart as holy to our Father. It will not be stored up or hoarded; her profit will go to those who live before our Father, for abundant food and fine clothing. Wabula amagoba ge ne byalifunamu biriyawulibwako bibe bya Mukama, tebiriterekebwa newaakubadde okukwekebwa, omuntu okubikozesa by’ayagala. Amagoba ge galigenda eri abo ababeera mu maaso ga Mukama, basobole okuba n’emmere emala, n’okuba n’ebyambalo ebirungi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]