Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 22 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 An oracle concerning the Valley of Vision. What is the matter with you now, that you have all gone up to the rooftops, Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa: Kiki ekikutawanya kaakano, n’okulinnya n’olinnya waggulu ku busolya,
2 you town full of noise, you wild, chaotic city, you reveling town? Your dead were not killed by the sword, nor did they die in battle. ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano, ggwe ekibuga eky’amasanyu era eky’ebinyumu? Abantu bo abattibwa, tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo.
3 All your rulers fled together; they were captured without a bow being drawn. All of you who were found were taken captive together, though you had fled far away. Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu; bawambiddwa awatali kulwana. Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe, kubanga badduka.
4 So I said, "Look away from me; let me weep bitterly. Do not try to comfort me over the ruin of the daughter of my people." Kyenava njogera nti, “Munveeko, mundeke nkaabire ddala nnyo. Temugezaako kunsaasira olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”
5 For the Father of heaven's armies has a day of tumult and trampling and confusion in the Valley of Vision—walls battered down and a cry for help echoing to the mountains. Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku olw’akatabanguko, olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa; olunaku olw’okumenya bbugwe, n’okukaabirira ensozi.
6 Elam took up the quiver with chariots and horsemen, and Kir bared their shields. Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale, n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi, Kiri asabuukulula engabo.
7 Your choicest valleys were full of chariots, and the horsemen took their positions at the gates. Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali, n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki.
8 Our Father stripped away the defenses of Judah. And in that day you looked to the weapons in the House of the Forest, Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo. Ku lunaku olwo watunuulira ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.
9 and you saw how many breaches there were in the city of David. You collected the water of the lower pool, Walaba amabanga agaali mu kwerinda kw’Ekibuga kya Dawudi, wakuŋŋaanya amazzi mu Kidiba eky’Emmanga.
10 and you counted the houses of Jerusalem and tore some down to fortify the wall. Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi n’omenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe.
11 You built a reservoir between the two walls for the water of the old pool, but you did not look to the One who made it, nor consider our Father who planned it long ago. Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri, n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde, naye tewatunuulira Oyo eyakisima, wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.
12 In that day the Father of heaven's armies called for weeping and mourning, for shaved heads and mourning clothes. Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe, n’okwemwako enviiri n’okwambala ebibukutu.
13 But instead there was joy and celebration, slaughtering cattle and killing sheep, eating meat and drinking wine: "Let us eat and drink, for tomorrow we die!" Naye laba, ssanyu na kujaguza, okubaaga ente n’okutta endiga, okulya ennyama n’okunywa envinnyo. Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe kubanga enkya tunaafa.”
14 The Father of heaven's armies has revealed this to me: "Surely this sin will not be wiped away from you until you die," says the Father of heaven's armies. Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
15 This is what the Father of heaven's armies says: Go to this steward, Shebna, who is over the household, and say to him: Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Genda eri omuwanika oyo, eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti,
16 What are you doing here, and who gave you the right to be here, that you have cut out a tomb for yourself here—carving your grave high up on the heights, chiseling your resting place in the rock? Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa okwetemera entaana wano, n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi, ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu?
17 Look, our Father is about to hurl you away violently, you strong man; he will seize firm hold of you. “Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira, akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi.
18 He will wind you up tightly and fling you like a ball into a vast open land. There you will die, and there your splendid chariots will lie—you disgrace to your master's house. Alikuzingazingako, n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa. Eyo gy’olifiira, era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala, ggwe ensonyi ez’ennyumba ya Mukama wo.
19 I will depose you from your office, and you will be pulled down from your post. Ndikuggya ku ntebe yo, era oliggyibwa mu kifo kyo.
20 In that day I will summon my servant Eliakim son of Hilkiah, “Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya.
21 I will clothe him with your robe and fasten your sash on him, and I will hand your authority over to him. He will be a father to the people of Jerusalem and to the house of Judah. Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza n’olukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe w’abo ababeera mu Yerusaalemi, n’eri ennyumba ya Yuda.
22 I will place the key of the house of David on his shoulder; what he opens no one will shut, and what he shuts no one will open. Ndimukwasa ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi; bw’aliggulawo tewaliba aggalawo, bw’aliggalawo tewaliba aggulawo.
23 I will drive him in like a peg in a firm place, and he will become a seat of honor for his father's house. Ndimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe.
24 They will hang on him the whole weight of his father's house—the offspring and the offshoots, every small vessel, from the bowls to all the jars. Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”
25 In that day, declares the Father of heaven's armies, the peg driven into the firm place will give way; it will be cut down and fall, and the load hanging on it will be cut off—for our Father has spoken. Bw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]