Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ezekiel 19 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Okukungubagira Abalangira ba Isirayiri

1Kungubagira abalangira ba Isirayiri, 2oyogere nti,“ ‘Maama wo nga yali mpologoma nkazi,mu mpologoma!Yagalamiranga wakati mu mpologoma ento,n’erabirira abaana baayo.

3N’ekuza emu ku baana baayon’efuuka empologoma ey’amaanyi,n’eyiga okuyigga ebisolo,n’okulya abantu.

4Amawanga gaawulira ebimufaako,n’akwatirwa mu kinnya kye yali asimye,ne bamusibamu amalobone bamuleeta mu nsi y’e Misiri.

5“ ‘Awo bwe yalaba essuubi lye nga terituukiridde,ne bye yali alindirira nga biyise,n’eddira emu ku baana baayo ab’empologoma endala,n’egifuula empologoma ey’amaanyi.

6N’etambulatambula mu mpologoma,kubanga yali efuuse empologoma ey’amaanyi,era n’eyiga okuyigga ensolo,n’okulya abantu.

7N’emenyaamenya ebifo byabwe eby’amaanyi,n’ezikiriza n’ebibuga byabwe;ensi n’abo bonna abaagibeerangamu,ne batya olw’okuwuluguma kwayo.

8Awo amawanga gonna ne gagirumba,okuva mu bitundu ebyali byetooloddewo,ne bayanjuluza ekitimba kyabwe,ne bagikwatira mu kinnya kyabwe.

9Ne bakozesa amalobo okugisikayo,ne bagiteeka mu kayumba ak’ebyuma,ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni;n’eteekebwa mu kkomera,n’etaddayo kuwulikika nate ku nsozi za Isirayiri.

10“ ‘Maama wo yali ng’omuzabbibu mu nnimiroogwasimbibwa okumpi n’amazzi;ne gubala ebibala ne bijjula amatabi,kubanga waaliwo amazzi mangi.

11Amatabi gaagwo gaali magumu,era nga gasaanira okukolebwamu omuggo gw’obwakabaka.Omuzabbibu ogwo gwali muwanvu ne guyitamuokusinga emiti emirala,ne gumanyibwa olw’obuwanvu bwagwo,n’olw’amatabi gaagwo amangi.

12Naye gwasigulibwa n’ekiruyine gusuulibwa wansi;embuyaga ez’Ebuvanjuba ne zigukaza,ebibala byagwo ne biggwaako,n’amatabi gaakwo amagumu ne gakala,era ne gwokebwa omuliro.

13Kaakano gusimbiddwa mu ddungu,awakalu awatali mazzi.

14Omuliro gwava ku limu ku matabi,ne gwokya amatabi gaagwo n’ebibala byagwo.Tewasigadde ttabi ggumu na limu ku gwoeriyinza okukolwamu omuggo ogw’obwakabaka.’Kuno kukungubaga, era kukozesebwa ng’okukungubaga.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]