Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 John 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 What was from the beginning, what we heard, what we saw with our own eyes, what we gazed on and touched with our hands—this we announce about the Word of life, Jesus. Tubawandiikira ku Kigambo ow’obulamu, eyaliwo okuva ku lubereberye, gwe twawulira, gwe twalaba n’amaaso gaffe, era gwe twakwatako n’engalo zaffe.
2 The life appeared; we saw it, testify to it, and proclaim to you the eternal life that was with our Father and appeared to us. Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli.
3 What we have seen and heard we proclaim to you too, so you may share deep communion with us—our deep communion is with our Father and his Son, Jesus Christ. Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo.
4 And we are writing these things so that our joy may be complete. Era tubawandiikira ebintu bino essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
5 This is what we heard from him and tell you: our Father is light—no darkness in him at all. Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono.
6 If we say we have communion with him yet walk in the darkness, we lie and don't live the truth. Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima.
7 But if we walk in the light, as he is in the light, we share fellowship with each other, and the blood of his Son Jesus cleanses us from every sin. Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna.
8 If we claim to be without sin, we deceive ourselves and the truth is not in us. Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe.
9 If we confess our sins, our Father is faithful and just to forgive us our sins and cleanse us from all wrongdoing. Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.
10 If we say we have not sinned, we make him a liar, and his word is not in us. Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]