Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Peter 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Beloved, this is now the second letter I write you; in both I stir up your sincere mind by reminder. Abaagalwa, eno y’ebbaluwa eyookubiri gye mbawandiikira. Mu bbaluwa zombi ngezezzaako okubakubiriza mutegeerere ddala ebyo ebituufu era ebisaana.
2 Remember the words the holy prophets spoke beforehand, and the command of our Lord and Savior given through your apostles. Mujjukire ebyo ebyayogerwa bannabbi abatukuvu n’ekiragiro kya Mukama waffe era Omulokozi waffe ekyaweebwa abatume bammwe.
3 Know this first: mockers will come in the last days, mocking, following their own lusts. Ekisooka, mutegeerere ddala nga mu nnaku ez’oluvannyuma abantu abagoberera okwegomba kw’omubiri gwabwe balijja mu mmwe nga babasekerera,
4 They will ask, "Where is his promised coming? Since the fathers fell asleep, everything continues as it has since creation's beginning." nga bwe bagamba nti, “Eyasuubiza nti alijja, aluwa? Kubanga kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna biri nga bwe byabanga okuva ensi lwe yatondebwa!”
5 They willfully ignore this: long ago, by our Father's word, heavens existed, and earth formed out of water and through water, Beefuula abatamanyi nti edda Katonda yalagira bulagizi, era olw’ekigambo eggulu n’ensi ne bitondebwa. Olw’ekigambo kya Katonda ensi yatondebwa ng’eggyibwa mu mazzi era n’ebeera wakati w’amazzi.
6 and through these the world of that time was deluged with water and perished. Era olw’ekigambo ekyo ensi eyo ey’edda, amazzi gaagisaanyaawo n’ezikirira.
7 By the same word, today's heavens and earth are stored up for fire, kept for the day of judgment and destruction of the wicked. Era olw’ekigambo ekyo, eggulu n’ensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olw’okusalirako omusango, n’okuzikirizibwa kw’abo abatatya Katonda.
8 Don't overlook this, loved ones: with our Father, one day is like 1,000 years, and 1,000 years like one day. Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ng’olunaku olumu, era n’olunaku olumu luli ng’emyaka olukumi.
9 Our Father isn't slow to keep his promise, as some think; he's patient with you, wanting no one to perish, but all to reach repentance. Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ng’abamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.
10 But the day of our Lord Jesus will come like a thief: the heavens will vanish with a rushing sound, the elements will burn and melt, and the earth with all its works will be exposed. Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja nga tewali n’omu amanyi; eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n’ebiririko birizikirizibwa n’omuliro, era ensi n’ebintu ebigirimu birisirikka.
11 Since all this will dissolve, what sort of people should you be? You should live holy lives, devoted to God, Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda,
12 as you wait for and hasten the coming of our Father's day, when the heavens will be set ablaze and dissolved, and the elements melt in the heat. nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna bwe buryokebwa ne buzikirizirwa n’ebiburimu ne bisaanuuka ne bisirikka.
13 But as he promised, we wait for new heavens and a new earth, where righteousness lives. Naye nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira obwengula obuggya n’ensi empya omuli obutuukirivu.
14 So, beloved, awaiting these things, strive to be found by him in peace, spotless and without defect. Kale, abaagalwa, nga bwe mulindirira ebintu ebyo okubaawo mufubenga nnyo okuba abalongoofu abataliiko kya kunenyezebwa nga mulina emirembe.
15 Regard our Lord's patience as salvation, just as our beloved brother Paul wrote you, with the wisdom given him, Kyokka mulowoozenga ku kubonyaabonyezebwa okw’obulokozi bwa Mukama waffe, nga ne muganda waffe omwagalwa Pawulo kye yabategeeza mu bbaluwa ze yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa.
16 as in all his letters, where he speaks about these things. Some parts are hard to understand, and the ignorant and unstable twist them—as they do the other Scriptures—to their own destruction. Weewaawo ebbaluwa ze zirimu bingi ebizibu okutegeera, kyokka buli lw’awandiika aba ayogera ku nsonga ezo; wabula bo abatamanyi era abatali banywevu babinnyonnyola nga bwe bannyonnyola ebyawandiikibwa ebirala ne beereetako okuzikirira.
17 So then, loved ones, knowing this in advance, guard yourselves, so you aren't swept away by the error of lawless people and lose your own firm standing. Kale, mmwe abaagalwa, ebyo nga bwe mubitegedde, mwekuume muleme kukyamizibwa abantu abo abajeemu, si kulwa nga babaleetera okugwa ne muva we munyweredde.
18 Grow in the grace and knowledge of our Lord and Savior Jesus Christ. To him be glory, now and to the day of eternity. Amen. Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano n’emirembe gyonna. Amiina.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]