Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Peter 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 False prophets arose among the people, just as false teachers will arise among you. They will secretly bring in destructive heresies, even deny the Master who bought them, and bring swift destruction on themselves. Naye waaliwo ne bannabbi ab’obulimba mu bantu, era nga bwe walibaawo abayigiriza ab’obulimba mu mmwe. Baliyingiza mu nkiso enjigiriza enkyamu etwala abantu mu kuzikirira. Balyegaana ne Mukama waffe, ne beereetako okuzikirira okw’amangu.
2 Many will follow their lust, and because of them the way of truth will be slandered. Abantu bangi baligoberera empisa zaabwe ez’obukaba ne bavumaganyisa ekkubo ery’amazima;
3 In their greed they'll exploit you with made-up words. Their judgment, decreed long ago, isn't idle; their ruin isn't asleep. balibafunamu amagoba mangi nga bakozesa ebigambo eby’obulimba olw’omululu gwabwe. Abo Katonda yabasalira dda omusango era n’okuzikirizibwa kwabwe tekubuusibwabuusibwa.
4 For if our Father did not spare angels who sinned, but threw them into the deepest pit of gloom, chained in darkness, kept for judgment; Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olw’okusalirwako omusango.
5 if he didn't spare the ancient world, but protected Noah, an announcer of righteousness, with seven others, when he brought a flood on the wicked world; N’ensi ey’edda teyagisaasira, n’aleeta amataba ku nsi okuzikiriza abo abataamutya, n’alokolako Nuuwa eyabuulira obutuukirivu wamu n’abalala musanvu.
6 and if he condemned Sodom and Gomorrah, reducing their cities to ashes, as an example of what awaits the wicked; Era yasalira omusango abaali mu bibuga by’e Sodomu n’e Ggomola bwe yabazikiriza, ne bisirikka mu muliro, bw’atyo n’alaga ebyo ebigenda okutuuka ku buli atatya Katonda.
7 and if he rescued righteous Lot, worn out by the shameless behavior of lawless people. Kyokka n’awonya Lutti, omutuukirivu, eyalumwanga ennyo olw’obulamu obw’abantu abo abajeemu.
8 That righteous man, living among them, was tormented day after day in his righteous soul by the lawless deeds he saw and heard, Olw’okubanga yababeerangamu, buli lunaku, yalabanga era n’awuliranga ebikolwa eby’obujeemu bye baakolanga, ekyo ne kimuleetera okunyolwa mu mwoyo gwe omutuukirivu.
9 then our Father knows how to rescue the godly from trials, and keep the wicked under punishment until judgment day. Mukama amanyi okuwonya n’okuggya mu kugezesebwa abamutya, n’abonereza abatali bakkiriza okutuusa ku lunaku olw’okusalirako omusango,
10 Especially those chasing flesh's corrupt desires and despising authority—bold, arrogant, unafraid to slander celestial beings. n’okusingira ddala abo abagoberera okwegomba kwabwe okw’omubiri ne banyooma abakulembeze baabwe. Tebaliiko kye batya, beerowoozaako bokka, era tebakwatibwa na nsonyi kuvuma baakitiibwa.
11 Whereas angels, greater in strength and power, don't bring a slanderous judgment against them before our Father. Kyokka bo bamalayika newaakubadde be basinga abayigiriza abo amaanyi n’obuyinza, bwe batwala ensonga ezo eri Mukama waffe tebakozesa lulimi luvuma.
12 But these people, like unreasoning animals born by instinct to be caught and destroyed, insult what they don't understand, and will be destroyed in their destruction, Abantu bali bavuma ne bye batategeera, bali ng’ensolo obusolo ezitaliimu magezi ezikwatibwa okuttibwa ne zizikirizibwa; era nabo okufaanana ng’ensolo ezo, bagenda kuzikirizibwa.
13 suffering wrong as pay for wrongdoing. They count it a pleasure to revel in broad daylight. They are stains and flaws, reveling in their deceptions while feasting with you. Abantu abo bagenda kubonerezebwa olw’ebibi bye bakola. Kubanga buli lunaku bagoberera okwegomba kwabwe olw’okwesanyusa, era abantu abo bakwasa mmwe ensonyi era babaswaza bwe beegatta nammwe mu mbaga zammwe, nga bakola effujjo mu masanyu gaabwe.
14 Their eyes are full of adultery, never stopping from sin, luring unstable souls, hearts trained in greed—cursed children! Balina amaaso agajjude obukaba, tebalekaayo kukola kibi buli kiseera boonoona era basendasenda abatali banywevu, bajjudde omululu. Baana abaakolimirwa,
15 Abandoning the straight path, they went astray, following the way of Balaam son of Beor, who loved the wages of wrongdoing. abaakyama ne bava mu kkubo okufaanana nga Balamu mutabani wa Beyoli, eyayagala empeera ey’obutali butuukirivu.
16 But he was corrected for his own wrongdoing: a mute donkey spoke with a human voice and stopped the prophet's madness. Kyokka endogoyi etayogera, Katonda bwe yagyogeza n’emumanya olw’obujeemu bwe n’eziyiza eddalu lya nnabbi oyo.
17 These are dry springs, storm-driven mists—thick darkness is kept for them. Abantu abo nzizi ezitaliimu mazzi. Bali ng’ebire ebitwalibwa embuyaga, era baterekeddwa ekifo eky’ekizikiza ekikutte be zigizigi.
18 With inflated, empty words they lure through the sensual desires of the flesh those barely escaping from people living in error. Boogera ebigambo eby’okwekuluntaza era ebitaliimu nsa. Mu kwegomba kw’omubiri ne mu bukaba bwabwe basendasenda abo abali okumpi n’okubadduka abakyatambulira mu kibi.
19 They promise them freedom, while themselves enslaved to corruption—for whatever overcomes a person enslaves them. Babasuubiza eddembe, so nga bo bennyini baddu ba bikolwa ebibi eby’okuzikirira. Kubanga omuntu afuuka muddu w’ekyo ekimufuga.
20 For if, having escaped the world's corruption through knowing our Lord and Savior Jesus Christ, they are entangled in it again and overcome, their end is worse than their start. Era abantu bwe bategeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, ne badduka okuva mu bintu ebyo eby’ensi ebyonoona era ebitwala abantu mu kuzikirira, ate ne bava awo ne babiddamu, bibasibira ddala era obulamu bwabwe bufuuka bubi nnyo okusinga bwe bwali okusooka.
21 It would have been better for them never to know the way of righteousness than to know it and turn back from the holy commandment given to them. Ekyandisinze be bantu abo obutategeerera ddala kkubo lya Mukama waffe ery’obutuukirivu, eriggya abantu mu kuzikirira, okusinga lwe bamala okulitegeera, ate ne bava ku biragiro ebitukuvu bye baaweebwa.
22 The true proverb has happened to them: "A dog returns to its vomit," and "A washed sow returns to wallow in mud." Olugero olwagerebwa kyeluva lutuukirira ku bo olugamba nti, “Embwa eridde ebisesemye byayo,” na luno nti: “Embizzi eva okunaazibwa ezzeeyo okwekulukuunya mu bitosi.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]