Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Peter 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Simon Peter, servant and apostle of Jesus Christ, to those given a faith as precious as ours through the righteousness of our God and Savior Jesus Christ: Nze Simooni Peetero omuddu era omutume wa Yesu Kristo mpandiikira abo abaafuna okukkiriza okw’omuwendo nga ffe, mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo,
2 May grace and peace be multiplied to you through knowing our Father and Jesus our Lord. ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe nga mutegeera Katonda ne Yesu Mukama waffe.
3 His divine power gave us all we need for life and devotion to God, through knowing him who called us by his glory and excellence. Kubanga mu maanyi g’obwakatonda bwe, mwe twaweerwa ebintu byonna olw’obulamu buno n’okutya Katonda mu kumanya oyo eyatuyita olw’ekitiibwa kye n’obulungi bwe ye.
4 Through these he gave us his precious and very great promises, so that through them you may share the divine nature, having escaped the world's corruption from evil desires. Ebyo bye byatuweesa ebisuubizo eby’omuwendo ebikulu, mu byo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bw’obwakatonda, muwone okuzikirira okuva mu kwegomba okubi okw’omu nsi.
5 So, making every effort, add goodness to your faith, and to goodness, knowledge; Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera,
6 to knowledge, self-control; to self-control, endurance; to endurance, devotion to God, ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda,
7 to devotion to God, brotherly affection; to brotherly affection, love. ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga.
8 If you have these qualities, growing, they'll keep you from being useless or fruitless in knowing our Lord Jesus Christ. Kubanga bwe muba n’ebyo ne byeyongera obungi, bibafuula ba mugaso era ababala ebibala olw’okutegeera Mukama waffe Yesu Kristo.
9 Whoever lacks these things is blind, shortsighted, forgetting he was cleansed from his past sins. Oyo atalina ebyo muzibe wa maaso era awunaawuna, era yeerabidde bwe yanaazibwako ebibi bye eby’edda.
10 So, brothers and sisters, strive to confirm your calling and election; do these things and you will never stumble. Kale, abooluganda mweyongerenga okunywerera mu kulondebwa kwammwe ne mu kuyitibwa kwammwe. Kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temulyesittala n’omulundi n’ogumu.
11 This way you'll be richly given entrance into the eternal kingdom of our Lord and Savior Jesus Christ. Era mulyanirizibwa n’essanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
12 So I will always remind you of these things, though you know them and stand firm in the truth you now hold. Noolwekyo, ebyo nzija kubibajjukizanga buli kiseera, newaakubadde nga mubimanyi, era nga ddala munyweredde mu mazima ge mwategeera.
13 I think it right to keep stirring you with reminders while I remain in this tent, Era ndowooza nti kiŋŋwanira nga nkyali mu mubiri guno, okubakubirizanga nga nneeyongera okubibajjukiza.
14 since I know I'll soon set my tent aside, as our Lord Jesus Christ showed me. Kubanga mmanyi nga nnaatera okuva mu mubiri guno, nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza.
15 I will also strive so you can always recall these things after I depart. Kyenva nfuba ennyo okukola kyonna kye nsobola, ne bwe ndivaawo mube ng’ebyo byonna mubijjukira.
16 For we didn't follow ingenious myths to tell you of our Lord Jesus Christ's power and coming—we were eyewitnesses of his majesty. Kubanga tetwagoberera ngero bugero ezaagunjibwa wabula twabategeeza ebyo bye twalabirako ddala, eby’amaanyi n’okukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era n’obukulu bwe.
17 He received honor and glory from our Father when a voice came to him from the Majestic Glory: "This is my Son, the one I love; I delight in him." Kubanga Katonda Kitaffe yamuwa ekitiibwa n’ettendo, eddoboozi bwe lyawulikika okuva mu ggulu mu kitiibwa ekingi ekimasamasa nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
18 We ourselves heard this voice come from heaven, for we were with him on the holy mountain. Ffe bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu, twawulirira ddala eddoboozi eryo eryava mu ggulu.
19 We also have the prophetic word made more certain—you do well to attend to it, like a lamp shining in a dark place, until day dawns and the morning star rises in your hearts. Kyetuvudde tweyongera okukakasa ebyo bannabbi bye baategeeza, era bwe munaabigonderanga munaabanga mukoze bulungi. Kubanga biri ng’ettaala eyaka mu kizikiza okutuusa obudde lwe bukya, emunyeenye ey’enkya n’eryoka eyaka mu mitima gyammwe.
20 Above all, you must understand that no prophecy of Scripture comes from one's own interpretation. Okusooka mukimanye nga buli bunnabbi obuli mu byawandiikibwa, tewali ayinza kubunnyonnyola ku bubwe yekka.
21 No prophecy ever came by human will, but men spoke from our Father, carried along by the Holy Spirit. Kubanga bannabbi tebaayogeranga byabwe ku bwabwe, wabula baategeezanga ebyo Katonda bye yabalagiranga nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabibawanga.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]