Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 John 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 My dear children, I write this so you won't sin. But if anyone does sin, we have an advocate before the Father—Jesus Christ, the righteous one. Baana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bw’akolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu.
2 He himself is the atoning sacrifice for our sins, and not ours only but also the whole world's. Ye, ye mutango olw’ebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lw’ebibi by’abantu bonna.
3 By this we know that we have come to know him: if we keep his commandments. Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera.
4 Whoever says, "I know him," yet doesn't keep his commands, is a liar—the truth isn't in him. Kyokka oyo agamba nti amutegeera n’atakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima.
5 But whoever keeps his word, the love of our Father is truly complete in him. This is how we know we are in him: Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ng’okwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye.
6 Whoever claims to remain in him ought to walk in the very way he walked. Oyo agamba nti ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.
7 Dear ones, I write you no new command, but an old one, held since the start—the old command is the word you heard. Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, naye mbawandiikira ekiragiro ekyabaawo edda, kye kyo kye mwawuliranga okuva ku lubereberye.
8 Again, I write you a new command—true in him and in you—because the darkness is passing and the true light already shines. Kyokka nno ekiragiro kino kye mbawandiikira kiggya era kikakasirizibwa mu ye ne mu mmwe. Kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo era omusana ogw’amazima kaakano gwaka.
9 Anyone who says they're in the light but hates their brother or sister is in the dark even now. Omuntu agamba nti atambulira mu musana, kyokka ate n’akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza.
10 Whoever loves his brother or sister abides in the light, and in him there is no cause for stumbling. Naye ayagala owooluganda aba ali mu musana, era talinaawo kimwesittaza.
11 But whoever hates his brother or sister is in the dark, walking in the dark, not knowing where he's going—the dark has blinded his eyes. Kyokka oyo akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mw’atambulira, nga tategeera gy’alaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.
12 I write to you, little children, because your sins are forgiven for his name's sake. Baana bange abaagalwa, mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olw’erinnya lye.
13 I write to you, fathers, because you know the One from the beginning. I write to you, young men, because you have defeated the evil one. Era nammwe abakulu, mbawandiikidde kubanga mwamutegeera okuva ku lubereberye. Nammwe abavubuka, mbawandiikidde kubanga muwangudde omubi. Mmwe abaana abaagalwa bawandiikidde, kubanga mutegedde Kitaffe.
14 Children, I write because you know the Father. Fathers, I write because you know the One from the beginning. Young men, I write because you're strong, and our Father's word lives in you, and you've overcome the evil one. Mbawandiikidde mmwe abakulu kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe abavubuka kubanga muli ba maanyi era n’ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi.
15 Do not love the world, or anything in the world. Whoever loves the world, the love of the Father is not in him. Temwagalanga nsi, wadde eby’ensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe.
16 Everything in the world—the craving of the flesh, the craving of the eyes, and the pride of life—is not from the Father but from the world. Kubanga buli eky’ensi: okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwekuluntaza okw’obulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi.
17 The world and its cravings are passing away, but whoever does the will of our Father remains forever. Ensi n’okwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe gyonna.
18 Children, it is the last hour. As you heard antichrist comes, so now many antichrists have come; by this we know it's the last hour. Baana bange, ekiseera ekisembayo kituuse. Mwategeezebwa ng’Omulabe wa Kristo bw’agenda okujja, era ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi, era kwe tutegeerera ng’ekiseera ekisembayo kituuse.
19 They went out from us, but were not of us; if they had been of us, they would have stayed with us. But they left, to show that none of them belonged to us. Abantu abo tebaali baffe ddala, era kyebaava batwawukanako, kubanga singa baali baffe ddala bandisigalidde ddala mu ffe. Naye baatuvaako kiryoke kitegeerekekere ddala nga bonna si b’ewaffe.
20 But you have an anointing from the Holy One, and you all know the truth. Kyokka mmwe mwafukibwako amafuta okuva eri Omutukuvu, era mumanyi byonna.
21 I write to you not because you don't know the truth, but because you do—and no lie comes from the truth. Kyenva mbawandiikira, si lwa kubanga temumanyi mazima, naye lwa kubanga mugategeera era mumanyi okwawula eby’obulimba n’eby’amazima.
22 Who is the liar, if not the one denying Jesus is the Christ? This is the antichrist, denying the Father and the Son. Omulimba y’ani, wabula oyo agamba nti Yesu si ye Kristo. Omuntu oyo yennyini ye Mulabe wa Kristo, era oyo takkiririza Kitaffe wadde Omwana.
23 No one who denies the Son has the Father. Whoever confesses the Son has the Father also. Kubanga buli atakkiriza Mwana era ne Kitaffe tamukkiriza. Buli ayatula Omwana aba alina ne Kitaffe.
24 You—let what you heard from the start remain in you. If what you heard from the start remains in you, you too will remain in the Son and the Father. Ekituufu kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Bwe munaakuumanga ekyo kye mwawulira okuva ku lubereberye, Omwana awamu ne Kitaffe banaabeeranga wamu nammwe.
25 And this is the promise that he himself made to us—eternal life. Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza: obulamu obutaggwaawo.
26 I write these things to you about those who are trying to lead you astray. Mbawandiikidde bino olw’okubanga waliwo abo ababalimbalimba.
27 As for you, the anointing you received from him remains in you, and you don't need anyone to teach you. But since his anointing teaches you about everything—true, not a lie—remain in him, just as it taught you. Kyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gy’ali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu y’abayigiriza buli kimu, era w’amazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.
28 And now, little children, remain in him, so that when he appears we may have confidence and not shrink from him in shame at his coming. Kaakano, abaana abaagalwa, munywerere mu Kristo, bw’alirabika tulyoke tube bagumu abatalikwatibwa nsonyi ku lunaku lw’aliddirako.
29 If you know he's righteous, you also know that all who do right are born of him. Nga bwe mumanyi nti Mukama mutuukirivu, kirungi mutegeere nti oyo akola eby’obutuukirivu ye mwana we.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]