Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 John 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 See what kind of love our Father has given us, that we should be called children of our Father! And we are. The world doesn't know us because it didn't know him. Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.
2 Beloved, we are our Father's children now; what we will become has not yet been shown. But we know that when he appears, we will be like him, since we will see him as he is. Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bw’alirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw’ali.
3 And everyone who has this hope in him purifies himself, just as he is pure. Buli muntu alina essuubi eryo yeetukuza nga Katonda bw’ali omutukuvu.
4 Everyone who keeps committing sin also commits lawlessness; sin is lawlessness. Buli muntu akola ebibi aba mujeemu, era ekibi bwe bujeemu.
5 You know he appeared to take away our sins, and in him is no sin. Naye mmwe mumanyi nti ye, yalabisibwa alyoke aggyewo ebibi. Era mu ye, temuliimu kibi.
6 Whoever remains in him doesn't go on sinning; whoever goes on sinning hasn't seen or known him. Era tewali n’omu abeera mu ye ate ne yeeyongera okukola ekibi. Wabula oyo eyeeyongera okukola ekibi tamutegeeranga, era tamumanyi n’akatono.
7 Little children, let no one deceive you. Whoever practices righteousness is righteous, just as he is righteous. Abaana abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga muntu n’omu; Buli akola eby’obutuukirivu aba mutuukirivu, nga Katonda bw’ali omutuukirivu,
8 Whoever keeps on sinning is of the devil, for the devil has been sinning from the beginning. The reason the Son of our Father appeared was to destroy the works of the devil. naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani.
9 No one born of our Father keeps on sinning, because his seed abides in him; and he cannot keep on sinning, because he has been born of our Father. Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.
10 This shows who our Father's children are, and who the devil's children are: whoever doesn't do what's right isn't from our Father, nor is anyone who doesn't love their brother or sister. Ku kino abaana ba Katonda n’aba Setaani kwe bategeererwa. Buli akola ebitali bya butuukirivu si wa Katonda, era na buli atayagala muganda we si wa Katonda.
11 For this is the message you have heard from the beginning: that we should love one another. Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga,
12 Not like Cain, who belonged to the evil one and killed his brother. Why did he kill him? Because his own deeds were evil and his brother's were righteous. si nga Kayini eyali owa Setaani, n’atta muganda we. Kale yamuttira ki? Kayini yatta muganda we kubanga Kayini yakola ebibi, so nga ye muganda we yakola eby’obutuukirivu.
13 Do not be surprised, brothers and sisters, if the world hates you. Abooluganda, ensi bwe bakyawanga, temwewuunyanga.
14 We know we've passed from death to life, because we love each other. Whoever doesn't love remains in death. Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa.
15 Everyone who hates his brother or sister is a murderer, and you know no murderer has eternal life remaining in him. Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye.
16 This is how we know love: Christ laid down his life for us; we too should lay down our lives for one another. Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda.
17 But if anyone has the world's goods and sees his brother or sister in need, yet closes his heart to them, how does our Father's love remain in him? Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye?
18 Little children, let us not love with words or talk, but in deed and in truth. Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.
19 By this we'll know we come from the truth, and settle our heart before him, Mu ekyo mwe tutegeerera nga tuli ba mazima, era ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge.
20 whenever our heart condemns us; for our Father is greater than our heart, and he knows everything. Singa omutima gwaffe tegutusalira musango, Katonda ye asinga omutima gwaffe era ye ategeera ebintu byonna.
21 Beloved, if our heart does not condemn us, we have confidence before our Father; Abaagalwa, omutima gwaffe bwe gutatusalira musango, tuba bagumu mu maaso ga Katonda.
22 whatever we ask, we receive from him, because we keep his commands and do what pleases him. Era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tugondera ebiragiro bye, era ne tukola ebimusanyusa.
23 This is his command: believe in his Son Jesus Christ's name, and love one another as he commanded us. Era kino ky’atulagira nti, tukkiririze mu linnya ly’Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga ye bwe yatulagira.
24 Whoever keeps his commands remains in our Father, and our Father in them. This is how we know he remains in us: by the Holy Spirit he gave us. Kale oyo agondera ebiragiro bye abeera mu Ye, era naye abeera mu ye. Kino tukimanyi ng’ali mu ffe, kubanga Mwoyo Mutukuvu gwe yatuwa abeera mu ffe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]