Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 John 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Beloved, don't believe every spirit, but test the spirits to see if they're from our Father, for many false prophets have gone out into the world. Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi ab’obulimba bangi mu nsi.
2 By this you know the Spirit of our Father: every spirit confessing that Jesus Christ has come in the flesh is from our Father, Eno y’engeri gye tutegeeramu Mwoyo wa Katonda: buli ayatula nti Yesu Kristo yafuuka omubiri, ng’ava eri Katonda, oyo y’alina Mwoyo wa Katonda.
3 and every spirit that does not confess Jesus is not from our Father. This is the antichrist's spirit, which you heard was coming, and is already in the world now. Naye buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo ogw’Omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nti ajja mu nsi, era amaze okutuuka.
4 You are from our Father, little children, and have overcome them, because greater is the one in you than the one in the world. Mmwe, abaana abaagalwa, muli ba Katonda era mumaze okuwangula, kubanga oyo ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi.
5 They are from the world; therefore they speak from the world, and the world listens to them. Bo ba nsi era boogera bya nsi, era abantu b’ensi kyebava babawuliriza.
6 We are from our Father. Whoever knows him hears us; whoever is not from him does not hear us. This is how we know the Spirit of truth and the spirit of error. Naye ffe tuli bantu ba Katonda, era buli amanyi Katonda atuwuliriza; atali wa Katonda tatuwuliriza. Eyo y’engeri gye tusobola okwawulamu omwoyo ogw’amazima n’omwoyo ogw’obulimba.
7 Beloved, let us love one another, for love is from our Father, and all who love are born of him and know him. Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala mwana wa Katonda, era amanyi Katonda.
8 Whoever does not love does not know our Father, because our Father is love. Naye buli atalina kwagala tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwagala.
9 This is how our Father's love was shown among us: our Father sent his one and only Son into the world so we might live through him. Katonda yatulaga okwagala kwe, bwe yatuma mu nsi Omwana we omu yekka bw’ati, tulyoke tube abalamu ku bw’oyo.
10 This is love: not that we loved our Father, but that he loved us and sent his Son as the atoning sacrifice for our sins. Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, n’awaayo Omwana we ng’omutango olw’ebibi byaffe.
11 Beloved, if our Father so loved us, we also ought to love one another. Kale abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo naffe tuteekwa okwagalananga.
12 No one has ever seen our Father; if we love one another, our Father remains in us and his love is made complete in us. Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, naye bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n’okwagala kwe ne kulabikira mu ffe.
13 By this we know we live in him and he in us: he has given us his Spirit. Mu ekyo mwe tutegeerera nti Katonda ali mu ffe era naffe tuli mu Ye, olwa Mwoyo gw’atuwadde.
14 We have seen and testify that our Father sent the Son as Savior of the world. Era ffe twamulaba n’amaaso gaffe, kyetuva tutegeeza nti Kitaffe yatuma Omwana we okuba Omulokozi w’ensi.
15 Whoever confesses Jesus is the Son of our Father, our Father remains in him, and he in our Father. Kale buli ayatula nti Yesu Mwana wa Katonda, nga Katonda ali mu ye era nga naye ali mu Katonda.
16 We have known and believed the love our Father has for us. Our Father is love, and whoever remains in love remains in him, and he in them. Ffe tumanyi okwagala kwa Katonda era tukkiririza mu kwagala kwe okwo kw’alina gye tuli. Katonda kwagala, era buli abeera n’okwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye.
17 This is how love is made complete in us, so we may have confidence on judgment day, because as he is, so are we in this world. Bwe twagala bannaffe nga Kristo bwe yakola ng’ali mu nsi muno, tetulibaako kye tweraliikirira ku lunaku olw’okusalirako omusango.
18 In love there is no fear; perfect love drives out fear, since fear involves punishment, and whoever fears is not complete in love. Mu kwagala temuliimu kutya, kubanga okwagala okutuukiridde kumalawo okutya; kubanga okutya kulimu okubonerezebwa, na buli atya, aba tannatuukirira mu kwagala.
19 We love because our Father first loved us. Tulina okwagala kubanga Ye ye yasooka okutwagala.
20 If anyone says, "I love our Father," yet hates his brother, he is a liar. For whoever does not love his brother, whom he has seen, cannot love our Father, whom he has not seen. Omuntu yenna bw’agamba nti, “Njagala Katonda,” naye n’akyawa muganda we, omuntu oyo mulimba. Kubanga buli atayagala muganda we gw’alabako, tasobola kwagala Katonda gw’atalabangako.
21 And this commandment we have from him: whoever loves our Father must also love his brother. Era Katonda yennyini yatulagira nti, “Buli ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]