Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 John 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Everyone who believes Jesus is the Christ has been born of our Father, and everyone who loves the Father who gives birth loves the child born of him. Buli akkiriza nti Yesu ye Kristo, oyo aba mwana wa Katonda, era buli ayagala kitaawe w’omwana ayagala n’omwana we.
2 By this we know we love the children of our Father: when we love our Father and keep his commands. Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola by’atulagira.
3 This is love of our Father: that we keep his commands, and his commands aren't burdensome. Kubanga okwagala kwa Katonda kwe kukola ebyo by’atulagira okukola. Okukola by’atulagira si kizibu,
4 Everyone born of our Father overcomes the world. This is the victory that overcame the world: our faith. kubanga buli mwana wa Katonda awangula ekibi n’okwegomba ensi, era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe.
5 Who overcomes the world except the one believing Jesus is the Son of our Father? Naye ani ayinza okuwangula ensi okuggyako oyo akkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda?
6 Jesus Christ came by water and blood—not water only, but water and blood. The Holy Spirit testifies to this, because the Holy Spirit is the truth. Yesu Kristo oyo yennyini ye yajja n’amazzi n’omusaayi, si na mazzi, naye n’amazzi n’omusaayi. Era ne Mwoyo ekyo akikakasa kubanga Mwoyo ye mazima.
7 For there are three that testify: Waliwo okukakasa kwa mirundi esatu:
8 the Spirit, the water, and the blood; and these three are in agreement. Mwoyo Mutukuvu, n’amazzi, n’Omusaayi, era ebisatu ebyo bikkiriziganya.
9 If we accept human testimony, our Father's testimony is greater—for this is our Father's testimony: that he testified about his Son. Obanga tukkiriza obujulirwa bw’abantu, obujulirwa bwa Katonda tusaana okubukkiriza ennyo n’okusingawo, kubanga bwe businga obukulu ng’ategeeza ku Mwana we.
10 Whoever believes in the Son of our Father carries this testimony within himself. Whoever does not believe has made him a liar, since he hasn't believed the testimony our Father gave about his Son. Kale buli akkiririza mu Mwana wa Katonda akyetegeezeza ddala ye yennyini. Oyo atakkiririza mu Katonda ng’amufudde mulimba, kubanga takkiriza ekyo Katonda ky’ayogera ku Mwana we.
11 And this is the testimony: our Father gave us eternal life, and this life is in his Son. Era buno bwe bujulirwa nti: “Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu buno buli mu Mwana we.”
12 Whoever has the Son has life; whoever lacks the Son of our Father lacks life. Buli alina Omwana alina obulamu, naye oyo atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.
13 I write these things to you who believe in the name of the Son of our Father, so you may know you have eternal life. Ebyo mbiwandiikidde mmwe abakkiriza erinnya ly’Omwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti mulina obulamu obutaggwaawo.
14 This is our confidence before him: whatever we ask according to his will, he hears us. Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira.
15 And if we know he hears us—whatever we ask—we know we have what we asked him for. Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.
16 If anyone sees his brother sin a sin not leading to death, he should ask, and our Father will give him life—to those sinning not to death. There's a sin leading to death; I'm not saying he should pray about that. Omuntu yenna bw’alaba muganda we ng’agudde mu kibi ekitali kya kufa, amusabirenga, Katonda talirema kumuwa bulamu. Njogera ku abo bokka abagwa mu kibi ekitali kya kufa.
17 All wrongdoing is sin, and there is sin that does not lead to death. Buli ekitali kya butuukirivu kibi, naye waliwo ekibi ekitaleetera muntu kufa.
18 We know: whoever is born of our Father does not keep sinning, but the One who was born of our Father protects him, and the evil one cannot touch him. Tumanyi nga buli muntu yenna azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi, kubanga Katonda amukuuma, Setaani n’atamukola kabi.
19 We know we are from our Father, and the whole world lies under the evil one's power. Tumanyi nga tuli ba Katonda, n’ensi yonna eri mu mikono gya Setaani.
20 We know the Son of our Father has come and given us understanding, to know the One who is true. We are in the One who is true, in his Son Jesus Christ. He is the true God and eternal life. Era tumanyi ng’Omwana wa Katonda yajja mu nsi, n’atuwa okutegeera tumanye Katonda ow’amazima, era tuli mu oyo Katonda ow’amazima, ne mu Yesu Kristo Omwana we. Oyo ye Katonda ow’amazima n’obulamu obutaggwaawo.
21 Little children, keep yourselves from idols. Abaana abaagalwa, mwewalenga bakatonda abalala.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]