Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 John 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The elder, to the chosen lady and her children, whom I love in truth—not only I, but all who know the truth, Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde awamu n’abaana be, be njagalira ddala mu mazima, si nze mbaagala nzekka, wabula n’abo bonna abategeera amazima.
2 because of the truth that lives in us and will be with us forever. Amazima ago gabeera mu ffe, era gajjanga kubeera mu ffe emirembe gyonna.
3 Grace, mercy, and peace will be with us from our Father and from Jesus Christ, our Father's Son, in truth and love. Ekisa, n’okusaasira n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe bijjanga kubeera naffe mu mazima ne mu kwagala.
4 I was overjoyed to find some of your children walking in truth, as our Father commanded us. Nnasanyuka nnyo, bwe nnasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima nga bwe twalagirwa Kitaffe.
5 Now I ask you, dear lady: not a new command, but one we've had from the start—love one another. Naye nnyabo kaakano nkusaba nga siri ng’akuwa ekiragiro ekiggya, naye nkujjukiza ekiragiro ekyo Katonda kye yatuwa okuva ku lubereberye nti, “Twagalanenga.”
6 This is love: that we walk by his commands. This is the command, as you heard from the beginning: that you walk in love. Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.
7 For many deceivers have gone out into the world, denying that Jesus Christ came in the flesh. This is the deceiver and the antichrist. Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bw’atyo mulimba era mulabe wa Kristo.
8 Watch yourselves, so that you don't lose what we have worked for, but receive a full reward. Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna.
9 Anyone who oversteps, not remaining in Christ's teaching, lacks our Father; whoever remains in the teaching has both our Father and the Son. Buli asukka ku ebyo Kristo by’ayigiriza n’atabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe n’Omwana.
10 If someone comes to you without this teaching, don't welcome them into your home or greet them, Omuntu yenna bw’ajja gye muli, n’atayigiriza bw’atyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, n’okulamusa temumulamusanga.
11 for whoever greets him shares in his evil deeds. Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.
12 I have much to write, but I'd rather not use paper and ink. I hope to come and speak with you face to face, so our joy may be complete. Mbadde na bingi eby’okubawandiikira, kyokka saagala byonna kubibawandiikira buwandiikizi, wabula nsuubira okubakyalira tulyoke twogeraganye nga tulabagana amaaso n’amaaso, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
13 The children of your chosen sister greet you. Abaana ba mwannyoko omulonde bakulamusizza.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]