Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

3 John 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The elder, to the beloved Gaius, whom I love in truth. Nze, Omukadde, mpandiikira ggwe Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.
2 Beloved, I pray you prosper in every way and stay healthy, as your soul prospers. Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bw’oli mu mwoyo.
3 I rejoiced greatly when brothers arrived and testified about your faithfulness to the truth—for you truly are walking in it. Abooluganda bwe nabatuukako kya nsanyusa nnyo bwe bambuulira nti onyweredde mu mazima, era nti mw’otambulira.
4 I have no greater joy than this: to hear that my children are walking in the truth. Tewali kindeetera ssanyu lisinga ng’eryo lye nfuna bwe mpulira nti abaana bange batambulira mu mazima.
5 Beloved, you act faithfully in all you do for the brothers, even strangers. Omwagalwa, okola ekintu kya bwesigwa buli lw’okolera abooluganda ebirungi na ddala ababeera ku ŋŋendo ne bw’oba tobamanyi.
6 They testified to your love before the church. Send them on in a way worthy of our Father. Baategeeza Ekkanisa omukwano gwe wabalaga awamu ne bye wabakolera. Kibeera kirungi singa obasiibuza ekirabo ekiba kisaanidde.
7 For they went out for the sake of the Name, accepting nothing from the Gentiles. Kubanga baatambulira mu linnya lya Mukama, nga tebakkiriza ebyo abatali bakkiriza bye baabawanga.
8 Therefore we ought to support such people, so that we may be fellow workers for the truth. Noolwekyo ffe ffennyini, ffe tusaana okubalabirira tulyoke tufuuke bakozi bannaabwe mu mazima.
9 I wrote something to the church, but Diotrephes, who loves being first among them, does not receive us. Nawandiikira Ekkanisa ku nsonga eyo, kyokka Diyotuleefe, olw’okwagala okwefuula omukulembeze tatwagala.
10 So if I come, I'll expose what he's doing—slandering us with malicious words. Not satisfied with that, he refuses to welcome the brothers, stops those who want to, and throws them out of the church. Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu by’akola, n’ebintu by’atwogerako ebitali birungi, era n’olulimi oluvuma lw’akozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye n’okulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa.
11 Beloved, don't imitate evil, but good. Whoever does good is from our Father; whoever does evil hasn't seen our Father. Mukwano gwange, togobereranga kyakulabirako ekibi wabula eby’obutuukirivu. Gobereranga ebyo byokka by’olaba nga bya butuukirivu. Kirungi ojjukirenga nti abo abakola eby’obutuukirivu baba bakakasiza ddala nga bwe bali abaana ba Katonda; naye abakola ebitali bya butuukirivu balaga nga bwe bali ewala ne Katonda.
12 All speak well of Demetrius, and so does the truth. We testify too, and you know our testimony is true. Naye buli omu ayogera bya mazima ku Demeteriyo. Nange mwogerako bya mazima byereere. Naye omanyi nga nze njogera mazima.
13 I had much to write to you, but I would rather not write with pen and ink. Mbadde na bingi eby’okukugamba, kyokka saagala kubikuwandiikira mu bbaluwa,
14 I hope to see you soon, and we will talk face to face. kubanga nsuubira okukulaba mu bbanga ttono. Kale olwo tuliba na bingi eby’okwogerako ffembi nga tulabaganye amaaso n’amaaso.
15 Peace to you. The friends send their greetings. Greet each of the friends by name. Emirembe gibeerenga naawe. Ab’emikwano abali wano bakulamusizza. Nange, mikwano gyange abali eyo, buli omu munnamusize.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]