Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Jude 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jude, servant of Jesus Christ and brother of James, to those called, loved in our Father and kept for Jesus Christ: Nze, Yuda, omuddu wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, mpandiikira abaagalwa bonna abaayitibwa mu Katonda Kitaffe, era abakuumibwa Yesu Kristo.
2 May mercy, peace, and love be multiplied to you. Ekisa kya Katonda, n’emirembe, n’okwagala byeyongerenga mu mmwe.
3 Beloved, though eager to write about our shared salvation, I had to write urging you to fight for the faith once for all given to the holy ones. Abaagalwa, nnali neesunga nnyo okubawandiikira ku bulokozi bwaffe bwe ntyo nawalirizibwa okubawandiikira nga mbazzaamu amaanyi nga mbegayirira mulwanirire okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu.
4 For some have slipped in unnoticed, long ago marked out for this judgment—godless people who twist our Father's grace into a license for lust, and deny our only Master and Lord, Jesus Christ. Waliwo abantu abajja mu bubba, abaawandiikwako edda nga baasalirwa omusango, abatatya Katonda abajerega ekisa kya Katonda waffe, ne bakiyisaamu amaaso, ne beegaana Yesu Kristo Mukama waffe, omu yekka.
5 Now I want to remind you, though you already know all this, that Jesus, having saved a people out of the land of Egypt, afterward destroyed those who did not believe. Naye njagala okubajjukiza nti newaakubadde nga byonna mubimanyi, nga olunaku lumu Mukama yalokola eggwanga n’aliggya mu nsi y’e Misiri, oluvannyuma n’azikiriza abatakkiriza,
6 The angels who didn't keep their own position but left their proper home, he has kept in eternal chains, under deep darkness, for judgment on the great day. ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira n’ebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere n’abassa mu kkomera ery’ekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango.
7 Likewise Sodom, Gomorrah, and the nearby towns, given to sexual sin and pursuit of unnatural flesh, stand as an example, suffering the punishment of eternal fire. Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi n’obwenzi, nga n’abasajja bakolaganako eby’ensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa n’omuliro, era byabonerezebwa n’omuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli.
8 Yet these dreamers likewise pollute their flesh, reject authority, and insult glorious ones. Mu ngeri y’emu abo abaloota bagwagwawaza omubiri, ate oludda ne banyooma obuyinza, ne bavvoola ne bamalayika.
9 But Michael the archangel, contending with the devil, argued about Moses' body, not daring to bring an insulting judgment against him, but said, "May our Father rebuke you." Kale newaakubadde nga Mikayiri, ye malayika asinga obukulu, naye bwe yali akaayana ne Setaani ku mulambo gwa Musa, teyamuvuma wabula yagamba bugambi nti, “Mukama akunenye!”
10 But these people insult whatever they don't understand; what they do understand by instinct, like unreasoning animals, destroys them. Naye kale abantu bano bavvoola kye batategeera, era okufaanana ng’ensolo obusolo bakola buli kye baagala, era ebyo bibaleetedde okuzikirira.
11 Woe to them! They took Cain's path, rushed for pay into Balaam's error, and died in Korah's revolt. Zibasanze abo! Kubanga bagoberera ekkubo lya Kayini, era bakola buli kye basobola okufunamu ensimbi okufaanana nga Balamu, era ne bajeemera Katonda nga Koola bwe yakola, noolwekyo balizikirizibwa.
12 These are hidden reefs at your love feasts, feasting with you without fear, feeding only themselves—dry clouds blown by wind, fruitless autumn trees, twice dead, uprooted. Abantu bano bwe bajja ne babeegattamu nga muli ku mbaga zammwe ez’okumanyagana, baba ng’amabala amabi, nga tebatya, nga beefaako bokka, nga bali ng’ebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; oba ng’emiti egiwaatudde, egitaliiko bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuulibwa n’emirandira;
13 Wild waves of the sea, foaming up their own shame; wandering stars, for whom deepest darkness is kept forever. oba ng’amayengo ag’oku nnyanja agasiikuuse, ebikolwa byabwe ne bibaswaza; oba ng’emmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo eky’olubeerera.
14 Enoch, the seventh from Adam, prophesied about these also: "Look, our Lord Jesus came with ten thousands of his holy ones, Enoka eyaliwo nga wayiseewo emirembe musanvu okuva ku Adamu, abantu bano yaboogerako eby’obunnabbi nti, “Mulabe Mukama ajja n’abatukuvu be abangi ennyo.
15 to execute judgment on all and to convict every person of all the ungodly deeds they have committed in such an ungodly way, and of all the harsh things that ungodly sinners have spoken against him." Alireeta abantu bonna mu maaso ge basalirwe omusango mu bwenkanya olw’ebikolwa byabwe bonna abatatya Katonda, bye baakola mu bugenderevu, n’olw’ebigambo byonna ebizibu abakozi b’ebibi bye bamwogeddeko eby’obutatya Katonda.”
16 These grumble and complain, chasing their own desires; their mouths boast, and they flatter people for gain. Beemulugunya, era bakola buli kye beegomba, era nga boogerera waggulu ebigambo eby’okweraga; era olaba bassizzaamu omuntu ekitiibwa ng’omanya nti balina kye bamwagalako.
17 But you, beloved, remember what our Lord Jesus Christ's apostles said beforehand. Naye mmwe, abaagalwa, mujjukire abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo ebigambo bye baayogera edda
18 How they told you: "In the last time there will be mockers, following their own godless desires." bwe baabagamba nti, “Mu nnaku ez’oluvannyuma walijjawo abantu abalibasekerera, nga beegomba nga bwe baagala, nga batambulira mu bitasiimibwa Katonda.”
19 These are the ones who cause divisions, worldly people, devoid of the Spirit. Abo be bo abaleeta enjawukana, ab’omubiri obubiri era abatalina Mwoyo Mutukuvu.
20 But you, beloved, building yourselves up in your most holy faith and praying in the Holy Spirit. Naye mmwe, abaagalwa, musaana okuzimba obulamu bwammwe nga bweyongera okuba obw’amaanyi, nga mubuzimbira ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu, era nga musaba mu Mwoyo Mutukuvu,
21 Keep yourselves in the love of our Father, waiting for the mercy of our Lord Jesus Christ, leading to eternal life. nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw’obulamu obutaggwaawo.
22 And have mercy on those who doubt; Mubeerenga ba kisa eri abo ababuusabuusa mu kukkiriza,
23 save some by seizing them from the fire; show others mercy in fear, hating even the garment stained by their sin. n’abalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi z’omuliro, n’abalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ng’aboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe.
24 Now to him able to keep you from stumbling and set you blameless before his glory with great joy, Katonda asobola okubawanirira muleme okuva mu kkubo lye, era n’okubatuusa mu maaso ge ag’ekitiibwa nga temuliiko kamogo era nga mujjudde essanyu;
25 to our Father alone, our Savior, through Jesus Christ our Lord, be glory, majesty, dominion, and authority, before all time and now and forever. Amen. Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olw’amaanyi ge n’obuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]