Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Zephaniah 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Woe to this rebellious, defiled city—the oppressor! Zikisanze ekibuga ekijooga, ekijeemu era ekyonoonefu!
2 She listens to no voice; she accepts no correction. She does not trust in our Father; she does not draw near to her Father. Tekigondera ddoboozi lya Mukama, wadde okukkiriza okubuulirirwa; tekyesiga Mukama; wadde okusemberera Katonda waakyo.
3 Her officials within her are roaring lions; her judges are evening wolves that devour everything before morning. Abakungu baakyo mpologoma eziwuluguma, era n’abalamuzi baakyo misege gya kiro, bakirimululu abatafissaawo kantu.
4 Her prophets are reckless, treacherous men; her priests profane what is holy and twist the law. Bannabbi baakyo si ba buvunaanyizibwa era ba nkwe; bakabona baakyo baweebuusizza ekifo ekitukuvu, era bamenya amateeka.
5 Our Father in her midst is righteous; he does no wrong. Morning by morning he brings his justice to light; it never fails. But the unjust knows no shame. Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu era tasobya. Buli nkya alamula mu bwenkanya, era buli lukya talemwa; naye atali mutuukirivu taswala.
6 "I have cut off nations; their corner towers are desolate. I have laid waste their streets so that no one passes through; their cities are ruined, with no one left—no inhabitant at all." “Nsanyizzaawo amawanga, era ebigo byabwe bifufuggaziddwa; nzisizza enguudo zaabwe, ne wataba ayitamu. Ebibuga byabwe bizikiridde, ne watabaawo muntu n’omu abeeramu.
7 I said, 'Surely you will fear me; you will accept correction,' so that her dwelling would not be cut off according to all that I had appointed against her. But still they rose early to corrupt all their deeds. Nagamba eri ekibuga nti, ‘Ddala onontya, era onokkiriza okubuulirirwa.’ Ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo, n’ebibonerezo byange byonna tebyandimutuuseeko. Naye beesunganga nnyo okukola ebitasaana mu byonna bye baakolanga.
8 "So wait for me,' our Father declares, 'until the day I rise as a witness. For my decision is to gather the nations, to assemble kingdoms, to pour my indignation on them, all my burning anger; for the fire of my jealousy will consume the whole earth.' Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama. Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, ndireeta obwakabaka wamu okubayiwako obusungu bwange, n’ekiruyi kyange kyonna. Omuliro ogw’obuggya bwange gulisaanyaawo ensi yonna.
9 "For then I will give the peoples purified lips, that they may all call upon my name and serve me shoulder to shoulder. “Mu biro ebyo ndirongoosa enjogera ey’amawanga; bonna balikoowoola erinnya lya Mukama, okumuweereza n’omwoyo gumu.
10 From beyond the rivers of Cush my worshipers, my scattered children, will bring my offering. Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya, abo abansinza, abantu bange abasaasaana, balindeetera ssaddaaka.
11 On that day you will not be ashamed of all the deeds by which you rebelled against me; for then I will remove from your midst your proud and boastful ones, and never again will you be arrogant on my holy mountain. Ku lunaku olwo toliswala olw’ebyo byonna by’osobezza gye ndi: kubanga ndiggya wakati mu ggwe abo abeenyumiririza mu malala, toliddayo nate kwegulumiza ku lusozi lwange olutukuvu.
12 But I will leave in your midst a people humble and lowly, and they will take refuge in my name. Naye ndireka wakati mu ggwe abantu abakakkamu era abeetoowaze, abo abesiga erinnya lya Mukama.
13 The remnant of Israel will do no wrong and speak no lies, and no deceitful tongue will be found in their mouths. For they will graze and lie down, and no one will make them afraid." Ekitundu kya Isirayiri ekirisigalawo tebalikola bitali bya butuukirivu so tebalyogera bya bulimba wadde okuba abakuusa. Balirya, baligalamira, so tewaliba alibatiisa.”
14 Sing aloud, daughter of Zion; shout, Israel! Rejoice and shout for joy with all your heart, daughter of Jerusalem! Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ggwe Isirayiri; sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna, ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 Our Father has taken away the judgments against you; he has cleared away your enemy. The King of Israel, our Father, is in your midst; never again will you fear harm. Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo, agobyewo omulabe wo. Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe; tokyaddayo kutya kabi konna.
16 On that day it will be said to Jerusalem: "Do not fear, O Zion; do not let your hands grow weak. Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti, “Totya, ggwe Sayuuni; emikono gyo gireme okuddirira.
17 Your Father is in your midst, a mighty warrior who saves. He will rejoice over you with gladness; he will quiet you by his love; he will exult over you with loud singing." Mukama Katonda ali naawe, ow’amaanyi alokola: alikusanyukira, alikukkakkanyiza mu kwagala kwe, alikusanyukira n’okuyimba.”
18 I will gather those of yours who mourn—those kept away from the appointed feasts—for they have been a reproach and a burden upon Jerusalem. “Ennaku eyabakwatanga olw’embaga ezabakuŋŋaanyanga ndigibaggyako; kubanga kibafuukidde omugugu.
19 At that time I will deal with all who oppress you. I will save the lame and gather the outcast, and I will turn their shame into praise and renown in all the earth. Laba, mu biro ebyo ndibonereza abo bonna abaakubonyaabonya: era ndinunula omulema, ne nkuŋŋaanya n’abo abaasaasaanyizibwa; era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa mu nsi zonna gye baaswazibwa.
20 At that time I will bring you home; at that time I will gather you together. For I will make you renowned and praised among all the peoples of the earth, when I restore your fortunes before your very eyes, says our Father. Mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya; mu kiseera ekyo ndibazza eka. Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna, bwe ndikomyawo obugagga bwammwe nga mulaba,” bw’ayogera Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]