Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Haggai 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In King Darius's second year, in the sixth month, on the first day, the word of our Father came through Haggai the prophet to Zerubbabel son of Shealtiel, governor of Judah, and to Joshua son of Jehozadak, the high priest: Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:
2 This is what the Father of heaven's armies says: "These people say it isn't yet time to rebuild the house of our Father." Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, “Abantu bano boogera nti, ‘Ekiseera tekinnatuuka okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.’ ”
3 Then the word of our Father came through Haggai the prophet: Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nga kyogera nti;
4 "Should you be living in your paneled houses while this house lies in ruins?" “Kino kye kiseera mmwe okubeera mu nnyumba zammwe enkole obulungi, naye ennyumba eyo n’erekebwa nga kifulukwa?”
5 So then, this is what the Father of heaven's armies says: "Consider carefully how you have lived. Kale nno bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe.
6 You have sown much, but harvested little. You eat, but never have enough. You drink, but never have your fill. You put on clothes, but no one keeps warm. And the one who earns wages earns them only to put them into a purse with holes." Musimbye bingi naye ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye ennyonta tebaggwaako; mwambala naye temubuguma; mukolera empeera naye ze mukoze muziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.”
7 This is what the Father of heaven's armies says: "Consider carefully how you have lived. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe.
8 Go up into the hills, bring down timber, and rebuild the house, so that I may take pleasure in it and be honored," says our Father. Mwambuke mu nsozi muleeteyo embaawo muzimbe ennyumba ngisanyukire, ngulumizibwe,” bw’ayogera Mukama.
9 "You expected much, but it amounted to so little. What you brought home, I blew away. Why?" declares the Father of heaven's armies. "Because of my house, which still lies in ruins, while each of you is busy with his own house. “Mwasuubira bingi, naye mulaba bwe muvuddemu ebitono. Bye mwaleeta eka, nabifuumuula. Mumanyi ensonga? bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kubanga buli muntu afa ku nnyumba ye naye ennyumba yange mugigayaaliridde.
10 Therefore, because of you the heavens have withheld their dew, and the earth has withheld its produce. Eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n’ettaka n’okuleeta ne litaleeta bibala byalyo.
11 I called for a drought on the fields and the hills, on the grain, the new wine, the olive oil, on whatever the ground produces, on people and livestock, and on all the labor of your hands." Nasindika ekyeya ku nnimiro ne ku nsozi, ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya, ku mafuta ne ku buli bibala eby’ettaka, ku bantu ne ku nsolo, ne ku mirimu gyonna egy’engalo.”
12 Then Zerubbabel son of Shealtiel, Joshua son of Jehozadak the high priest, and all the remnant of the people obeyed our Father's voice and the words of Haggai the prophet, since our Father had sent Haggai; and the people feared before our Father. Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, ye yali kabona asinga obukulu, n’abantu bonna abaasigalawo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, n’obubaka bwa nnabbi Kaggayi, kubanga Mukama Katonda waabwe ye yamutuma. Abantu ne batya Mukama.
13 Then Haggai, our Father's messenger, gave the people this message: "I am with you, declares our Father." Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n’ategeeza abantu obubaka obwava eri Mukama nti, “Ndi wamu nammwe,” bw’ayogera Mukama.
14 So our Father stirred the spirit of Zerubbabel son of Shealtiel, governor of Judah, the spirit of Joshua son of Jehozadak the high priest, and the spirit of all the remnant of the people. They came and worked on the house of the Father of heaven's armies, Awo Mukama n’akubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, n’omutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, n’emitima egy’abantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama ow’Eggye, Katonda waabwe,
15 on the twenty-fourth day of the sixth month in the second year of Darius the king. ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omukaaga mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]