Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Zechariah 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 An oracle: the word of our Father is against the land of Hadrach, and Damascus is its resting place—for the eyes of mankind and all the tribes of Israel are toward our Father, Ekigambo kya Katonda kyolekedde ensi ya Kadulaki era kirituuka e Ddamasiko. Kubanga abantu bonna n’ebika byonna ebya Isirayiri batunuulidde Mukama,
2 and against Hamath also, which borders on it, and against Tyre and Sidon, though they are very wise. era ne Kamasi ekiriraanyeewo nakyo bwe kityo, ne Ttuulo ne Sidoni wadde nga birina amagezi mangi.
3 Tyre built herself a fortress and heaped up silver like dust, and fine gold like the mud of the streets. Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza n’eba ng’enfuufu, ne zaabu n’eba nnyingi ng’ettaka ery’omu kkubo.
4 But look—the Sovereign Father will dispossess her and strike down her power on the sea, and she will be devoured by fire. Laba, Mukama alikyambulako ebintu byakyo, alizikiriza amaanyi gaakyo ag’oku nnyanja, era kiryokebwa omuliro.
5 Ashkelon will see it and be afraid; Gaza too will writhe in anguish, and Ekron, for her hope withers away. The king will perish from Gaza, and Ashkelon will not be inhabited. Asukulooni bino kiribiraba ne kitya; ne Gaza bwe kityo kiribeera mu kulumwa okw’amaanyi. Era n’essuubi lya Ekuloni liriggwaawo; Gaza aliggyibwako kabaka we, ne Asukulooni tekiribaamu bantu.
6 "A mongrel people will settle in Ashdod, and I will cut off the pride of the Philistines. Abagwira balitwala Asudodi, era n’amalala g’Abafirisuuti ndigamalawo.
7 I will take away the blood from its mouth and its abominations from between its teeth; it too will be a remnant for our Father, and it will be like a clan in Judah, and Ekron like the Jebusites. Era ndiggya omusaayi mu kamwa ke n’emmere ey’omuzizo okuva wakati mu mannyo ge. N’abo bonna abalisigalawo mu kyo baliba bantu ba Katonda waffe, balifuuka bakulembeze mu Yuda, ne Ekuloni kiriba nga Abayebusi.
8 Then I will encamp at my house as a guard, so that no one marches back and forth; no oppressor will ever again overrun them, for now I am watching with my own eyes." Naye ndirwanirira ennyumba yange eri eggye eddumbaganyi, so tewaliba mulumbaganyi aliddayo kujooga bantu bange kubanga kaakano mbalabirira.
9 Rejoice greatly, daughter of Zion! Shout aloud, daughter of Jerusalem! Look—your king is coming to you; righteous and victorious is he, humble and riding on a donkey, on a colt, the foal of a donkey. Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni: leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gy’oli; mutuukirivu era muwanguzi; muwombeefu era yeebagadde endogoyi, endogoyi ento, omwana gw’endogoyi.
10 I will cut off the chariot from Ephraim and the warhorse from Jerusalem, and the battle bow will be cut off; and he will speak peace to the nations. His rule will reach from sea to sea, and from the River to the ends of the earth. Efulayimu ndimuggyako amagaali, ne Yerusaalemi muggyeko embalaasi ennwanyi, n’omutego gw’obusaale gulimenyebwa era alireeta emirembe mu mawanga, n’obufuzi bwe buliva ku nnyanja emu butuuke ku nnyanja endala era buve ku mugga Fulaati butuuke ku nkomerero z’ensi.
11 "As for you also, because of the blood of my covenant with you, I will set your prisoners free from the waterless pit. Naawe ggwe, olw’omusaayi gw’endagaano gye nakola naawe, ndisumulula abasibe bo okuva mu bunnya obutaliimu mazzi.
12 Return to your stronghold, you prisoners of hope; today I declare that I will restore to you double. Mudde mu nkambi yammwe mmwe abasibe abalina essuubi; nangirira leero nti ndibadizaawo emirundi ebiri.
13 For I have bent Judah as my bow and laid Ephraim to it as the arrow. I will rouse your sons, O Zion, against your sons, O Greece, and make you like the sword of a warrior." Yuda ndigiweta ng’omutego ogw’obusaale ngujjuze Efulayimu. Ndiyimusa batabani ba Sayuuni, balwane n’abaana bo, ggwe Buyonaani, mbakozese ng’ekitala eky’omutabaazi.
14 Then our Father will appear over them, and his arrow will go out like lightning; the Sovereign Father will sound the trumpet and march out in the whirlwinds of the south. Era Mukama alirabika ng’ali waggulu waabwe, akasaale ke kamyanse ng’okumyansa kw’eggulu. Mukama Katonda alifuuwa ekkondeere, n’akumbira mu muyaga ogw’omu bukiikaddyo.
15 The Father of heaven's armies will shield them, and they will devour and trample the sling stones; they will drink and roar as with wine, and be full like the bowl, drenched like the corners of the altar. Mukama ow’Eggye alibakuuma. Balirinnyirira ne bawangula envuumuulo, balinywa ne baleekaana ng’abatamiivu. Balijjula ng’ekibya ekikozesebwa okumansira ku nsonda z’ekyoto.
16 On that day their Father will save them, as the flock of his people; for like the jewels of a crown they will sparkle over his land. Ku lunaku olwo Mukama Katonda alirokola abantu be ng’omusumba bw’alokola ekisibo ky’endiga ze. Balitangalijja mu nsi ye, ng’amayinja ag’omuwendo bwe gatemagana mu ngule.
17 How great is his goodness, and how great his beauty! Grain will make the young men flourish, and new wine the young women. Nga baliba balungi era abatuukirivu! Emmere ey’empeke erireetera abavubuka abalenzi obulamu obweyagaza, n’abawala nabo beeyagale olwa wayini omuggya.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]