Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Zechariah 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The word of the Father of heaven's armies came to me, saying: Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:
2 This is what the Father of heaven's armies says: I am jealous for Zion with great jealousy; with burning wrath I am jealous for her. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi obw’ekitalo.”
3 This is what our Father says: I have returned to Zion and will live within Jerusalem. Jerusalem will be called the City of Truth, and the mountain of the Father of heaven's armies, the Holy Mountain. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikomawo mu Sayuuni, ndibeera wakati mu Yerusaalemi era Yerusaalemi kiriyitibwa ekibuga ekyesigwa, olusozi olwa Mukama ow’Eggye, Olusozi Olutukuvu.”
4 This is what the Father of heaven's armies says: Old men and women will again sit in Jerusalem's streets, each holding a staff for great age. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Abakadde abasajja n’abakazi bajja kuddamu okutuula mu nguudo za Yerusaalemi, nga buli omu akutte omuggo, olw’obukadde.
5 And the streets of the city will be full of boys and girls playing in its streets. N’enguudo ez’ekibuga zirijjula abalenzi n’abawala nga bazannya.”
6 This is what the Father of heaven's armies says: If it seems too marvelous to the remnant of this people in those days, should it also be too marvelous to me? says the Father of heaven's armies. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Kirirabika ng’eky’ekitalo mu maaso g’abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
7 This is what the Father of heaven's armies says: See, I am saving my people from the land of the sunrise and the land of the sunset. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Laba ndirokola abantu bange abali mu nsi ey’Ebuvanjuba n’abali mu nsi ey’Ebugwanjuba:
8 I will bring them home to live within Jerusalem. They will be my children, and I their Father, in truth and righteousness. Ndibakomyawo, babeere mu Yerusaalemi, nange nnaabeeranga Katonda waabwe mu bwesigwa ne mu butuukirivu.”
9 This is what the Father of heaven's armies says: Let your hands be strong, you who in these days hear these words from the mouth of the prophets who spoke when the foundation of the house of the Father of heaven's armies was laid, so the temple could be built. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe, mu nnaku zino ababadde bawulira ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw’ennyumba ya Mukama ow’Eggye lwe gwasimbibwa, yeekaalu ye eryoke ezimbibwe.
10 Before then no wages came for man or beast, and no one going out or coming in was safe from the enemy, for I set everyone against his neighbor. Ekiseera ekyo nga tekinnatuuka, tewaali asobola kutoola nsimbi okupangisa omuntu wadde okupangisa ensolo. Era tewaali muntu ayinza kukola mirimu gye mu mirembe olw’omulabe we, kubanga buli muntu nnali mufudde mulabe wa muliraanwa we.
11 But now I will not treat the remnant of this people as in former days, declares the Father of heaven's armies. Naye kaakano abantu bano abaasigalawo sijja kubakola nga mu nnaku ezaayita,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
12 There will be a sowing of peace: the vine gives its fruit, the land its produce, the heavens their dew. And I will give the remnant of this people all these as an inheritance. “Kubanga ensigo erikula bulungi, n’omuzabbibu gubale ekibala kyagwo, n’ettaka lireetenga ekimera kyalyo, n’eggulu lireetenga omusulo gwalyo. Nange abantu bange abaasigalawo ndibawa ebintu ebyo byonna nga gwe mugabo gwabwe.
13 As you were a curse among the nations, house of Judah and house of Israel, so I will save you, and you will be a blessing. Do not fear; let your hands be strong. Nga bwe mwali ekikolimo mu baamawanga, ggwe ennyumba ya Yuda, naawe ennyumba ya Isirayiri, bwe ntyo bwe ndibalokola, era mulibeera omukisa eri abalala. Temutya, munywere emikono gyammwe gibe n’amaanyi.”
14 This is what the Father of heaven's armies says: As I planned disaster for you when your ancestors provoked me to anger, and did not change my mind, says the Father of heaven's armies, Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nga bwe nasalawo okubabonereza, bajjajjammwe bwe bansunguwaza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “era ne sibasaasira,
15 so again in these days I have determined to do good to Jerusalem and the house of Judah. Don't be afraid. bwe ntyo nate bwe nsazeewo kaakano mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n’ennyumba ya Yuda. Temutya.
16 Do these things: Speak truth to each other; judge with truth and justice for peace in your gates. Bino bye bintu bye munaakolanga: buli muntu ayogerenga bya mazima ne muntu munne, musalenga emisango mu bwenkanya mu mpya zammwe;
17 Do not plot evil in your hearts against your neighbor, and do not love a false oath, for I hate all these, declares our Father. tosaliranga muliraanwa wo lukwe. So tolayiranga bya bulimba, kubanga ebyo byonna mbikyawa,” bw’ayogera Mukama.
18 And the word of the Father of heaven's armies came to me, saying: Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:
19 This is what the Father of heaven's armies says: The fasts of the fourth, fifth, seventh, and tenth months will become joy, delight, and cheerful feasts for the house of Judah. So love truth and peace. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Okusiiba omwezi ogwokuna, n’ogwokutaano, n’ogw’omusanvu, n’ogw’ekkumi kunaabeeranga mbaga ey’essanyu era n’okwesiima mu nnyumba ya Yuda. Noolwekyo mwagalenga amazima n’emirembe.”
20 This is what the Father of heaven's armies says: Peoples will yet come, residents of many cities. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Amawanga mangi n’abantu bangi abalijja okuva mu bibuga bingi era n’okuva mu nsi nnyingi;
21 The people of one city will go to another, saying, 'Let us go at once to seek the favor of our Father, to seek the Father of heaven's armies; I myself will go.' era ab’ekibuga ekimu baliraga mu kibuga ekirala babagambe nti, ‘Tugende mangu twegayiririre Mukama, tunoonye amaaso ga Mukama ow’Eggye. Nze kennyini ŋŋenda.’
22 Many peoples and strong nations will come to seek the Father of heaven's armies in Jerusalem and to seek our Father's favor. Abantu bangi n’amawanga mangi ag’amaanyi galijja okunoonya Mukama ow’Eggye mu Yerusaalemi n’okwegayirira Mukama.”
23 This is what the Father of heaven's armies says: In those days ten men from all languages of the nations will grasp the robe of a Jewish man, saying, 'Let us go with you, for we've heard God is with you.' Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mu nnaku ezo abasajja kkumi okuva mu buli lulimi olwogerwa mu mawanga balyekwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya bagambe nti, ‘Muleke tugende nammwe kubanga twawulira nga Katonda ali nammwe.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]