Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Zechariah 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In King Darius's fourth year, our Father's word came to Zechariah on the fourth day of the ninth month, Chislev. Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya, ku lunaku olwokuna olw’omwezi ogw’omwenda oguyitibwa Kisuleevu.
2 The people of Bethel sent Sharezer and Regem-melech and their men to plead for our Father's favor, Abayudaaya mu Beseri baali batumye Salezeeri omukungu wa kabaka ne Legemumereki n’abantu baabwe mu Yerusaalemi okwogerako ne bakabona babegayiririre eri Mukama,
3 and to ask the priests of the house of the Father of heaven's armies, and the prophets, "Should I weep and fast in the fifth month, as I have these many years?" n’okusaba bakabona b’omu nnyumba ya Mukama ow’Eggye ne bannabbi nti, “Nkaabe era nsiibe mu mwezi ogwokutaano nga bwe mbadde nkola okumala emyaka gino gyonna?”
4 Then the word of the Father of heaven's armies came to me: Awo ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nga kigamba nti,
5 Say to all the people of the land and the priests: When you fasted and mourned in the fifth and seventh months these seventy years, was it really for me that you fasted? “Gamba abantu bonna abali mu nsi, ne bakabona nti, ‘Bwe mwasiiba ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gw’omusanvu mu myaka gino ensanvu, mwali musiibira nze?
6 When you eat and drink, isn't it for yourselves that you eat and drink? Era bwe mulya ne munywa, muba temulya ku lwammwe era n’okunywa ku lwammwe?
7 Aren't these the very words our Father proclaimed through the earlier prophets, when Jerusalem and her surrounding towns were settled and at peace, and the Negev and foothills were inhabited? Bino si bye bigambo Mukama bye yalangirira mu bannabbi ab’edda, Yerusaalemi bwe kyali kikyalimu abantu era nga kikyakulaakulana, nga n’ebibuga byakyo bikyetoolodde, nga ne mu bukiikaddyo ne mu bitundu eby’ensenyi mukyalimu abantu?’ ”
8 And the word of our Father came to Zechariah: Ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya nate nti,
9 What the Father of heaven's armies says: Render true justice; show kindness and compassion to one another. “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Musalenga emisango egy’ensonga, mukwatirweganenga ekisa n’okusaasiragananga buli muntu eri muganda we.
10 Do not oppress the widow, the fatherless, the foreigner, or the poor; and do not plot evil against one another in your hearts. Temutulugunyanga bannamwandu, n’abatalina bakitaabwe, n’abatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu n’omu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’
11 But they refused to listen, stubbornly turned their backs, and covered their ears so they wouldn't hear. “Naye baagaana okuwuliriza ne bakakanyaza emitima gyabwe ne baziba n’amatu gaabwe baleme okuwulira.
12 They made their hearts as hard as flint, refusing to hear the law and the words the Father of heaven's armies had sent by his Spirit through the earlier prophets. So great anger came from the Father of heaven's armies. Ne bakakanyaza emitima gyabwe ng’ejjinja, ne batawuliriza mateeka wadde ebigambo Mukama ow’Eggye bye yaweereza n’Omwoyo we mu mukono gwa bannabbi ab’edda. Mukama ow’Eggye kyeyava abanyiigira ennyo.
13 "Just as I called and they would not listen, so when they called I would not listen," says the Father of heaven's armies. “ ‘Bwe nabakoowoola ne batafaayo, nange ne ŋŋaana okufaayo nga bankowodde,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
14 I scattered them with a whirlwind among all the nations they had not known. The land was left desolate behind them, with no one passing through, coming or going. This is how they made the pleasant land a wasteland. Era nabasaasaanya n’omuyaga ogukunta mu mawanga ge baali batamanyi. Ensi gye baaleka n’ebeera matongo nga tewali agibeeramu, ensi ennungi esanyusa, kyeyava efuuka eddungu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]