Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Zechariah 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 I looked up again—four chariots coming out between two mountains, mountains of bronze. Ne nyongera okuyimusa amaaso gange, era laba, amagaali g’embalaasi ana nga gava wakati w’ensozi bbiri, n’ensozi ezo zaali nsozi za bikomo.
2 The first chariot had red horses, the second chariot black horses, Eggaali esooka ng’esikibwa embalaasi za lukunyu, eyookubiri nga nzirugavu.
3 the third chariot white horses, and the fourth chariot dappled horses—all of them strong. Eggaali eyokusatu ng’esikibwa mbalaasi njeru, eyokuna yo ng’esikibwa za kikuusikuusi atabikiddwamu n’obwoya obweru. Embalaasi ezo zonna zaali z’amaanyi.
4 So I asked the angel who was speaking with me, "What are these, my lord?" Ne ndyoka mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino bitegeeza ki mukama wange?”
5 The angel answered, "These are heaven's four winds, going out from standing before the Sovereign of all the earth. Malayika n’anziramu nti, “Ezo z’empewo ennya ez’omu ggulu; ziva kweyanjula mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
6 The chariot with black horses goes to the northern land, the white after them, and the dappled to the southern land. Ekigaali eky’embalaasi enzirugavu kigenda mu nsi ey’omu bukiikakkono, ate ekyo eky’enjeru mu bugwanjuba, ekyo ekyali kisikibwa embalaasi ez’obwoya obweru, kiraga mu nsi ey’omu bukiikaddyo.”
7 When the strong horses went out, straining to patrol the earth, he said, 'Go, patrol the earth!' So they patrolled the earth." Awo embalaasi ezo ez’amaanyi nga zivudde mu maaso ga Mukama, ne zifuba okutambulatambula mu nsi yonna; n’azigamba nti, “Mugende, mutambuletambule mu nsi yonna.” Awo ne zitambulatambula mu nsi yonna.
8 Then he called to me, saying, "Look, those going to the northland have set my Spirit at rest in the northland." Awo n’ampita n’aŋŋamba nti, “Laba, ezo eziraga mu nsi ey’obukiikakkono ziwummuzza Omwoyo wange mu nsi ey’omu bukiikakkono.”
9 Then the word of our Father came to me: Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kigamba nti,
10 "Take an offering from the exiles—Heldai, Tobijah, and Jedaiah, who have come from Babylon—and go that same day to the house of Josiah son of Zephaniah. “Genda eri bano: Kerudayi, ne Tobiya, ne Yedaya, abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, olunaku olwo lwennyini olage mu nnyumba ya Yosiya, mutabani wa Zeffaniya, mwe bali.
11 Take silver and gold, make a crown, and set it on the head of Joshua son of Jehozadak, the high priest.' Ddira effeeza ne zaabu okole engule ogitikkire ku mutwe gwa Yoswa, kabona asinga obukulu, omwana wa Yekozadaaki.
12 Tell him: This is what the Father of heaven's armies says: 'Here is the man named the Branch; he will branch out from his place and build the temple of our Father. Mugambe nti, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Laba omuntu erinnya lye ye Ttabi; alirokera mu kifo kye, azimbe yeekaalu ya Mukama.
13 He will build our Father's temple, carry the majesty, and sit and rule on his throne. He will be a priest on his throne, and peaceful harmony will join the two offices. Oyo y’alizimba yeekaalu ya Mukama, era alijjula ekitiibwa. Alituula ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’afuga. Era y’aliba Kabona ku ntebe ye ey’obwakabaka; walibaawo okutegeeragana okw’emirembe wakati wa Ttabi ne Yoswa.’
14 The crown will stay in our Father's temple as a memorial to Heldai, Tobijah, Jedaiah, and Hen son of Zephaniah. Era n’engule ya kubeera mu yeekaalu ya Mukama ng’ekijjukizo eri Keremu, ne Tobiya ne Keeni omwana wa Zeffaniya.
15 Those far off will come and build the temple of our Father, and you will know the Father of heaven's armies sent me to you. This will happen if you diligently obey his voice.'" Era n’abo abali ewala balijja okuyamba okuzimba yeekaalu ya Mukama, era mulimanya nga Mukama ow’Eggye yantuma gye muli. Bino tebirirema kubaawo singa munaagondera eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obumalirivu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]