Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Zechariah 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Again I lifted my eyes and looked, and there before me was a flying scroll. Awo ne nnyimusa amaaso gange era laba ne ndaba, omuzingo gw’ekitabo ogutambulira mu bbanga.
2 He asked, "What do you see?" I answered, "I see a flying scroll, thirty feet long, fifteen feet wide." N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?” Ne nziramu nti, “Ndaba omuzingo gw’ekitabo ogutambulira mu bbanga, obuwanvu bwagwo buli mita mwenda n’obugazi bwagwo buli mita nnya ne desimoolo ttaano.”
3 Then he said to me, "This is the curse going out over the whole land. Everyone who steals will be purged away, by one side of it; everyone who swears falsely, purged away by the other." Awo n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekyo ky’ekikolimo ekizze okubuna ensi yonna, kubanga buli muntu yenna abba aliggyibwawo era buli muntu yenna alayiririra obwereere aliggyibwawo, bamutwale ku luuyi olulala.
4 "I have sent it out, declares the Father of heaven's armies; it will enter the thief's house and the house of whoever swears falsely by my name, stay there, and consume it—both timbers and stones." Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘Ndikifulumya, era ndikiyingiza mu nnyumba y’omubbi ne mu nnyumba y’oyo alayiririra obwereere erinnya lyange. Era kirisigala mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza yonna, emiti gyayo n’amayinja gaayo.’ ”
5 Then the angel talking with me came forward and said, "Now look up and see what this is going out." Malayika eyali ayogera nange n’akomawo n’aŋŋamba nti, “Yimusa amaaso go olabe, waliwo ekintu ekirala ekizze.”
6 I asked, "What is it?" He said, "The basket going out." Then, "This is their guilt across the whole land." Ne mubuuza nti, “Kiki ekyo?” N’anziramu nti, “Ekyo kisero, kye kifuluma.” Era n’ayongerako nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.”
7 Suddenly, the lead cover was lifted, and there was a woman sitting inside the basket. Awo ekibikka kyakyo, ekyuma eky’essasi ne kibikkulwa era ne ndaba omukazi ng’akituddemu.
8 He said, "This is Wickedness." He pushed her back into the basket and forced the lead weight over its mouth. Malayika n’aŋŋamba nti, “Buno bwe bwonoonyi.” N’amusindika n’amuzza munda mu kisero, n’aggalawo omumwa gwakyo n’ekisaanikira eky’ekyuma eky’essasi.
9 I looked up and saw two women coming, wind in their wings—wings like a stork's—and they lifted the basket between earth and sky. Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, era laba, abakazi babiri nga bajja gye ndi, baali batambulira mu bbanga nga bakozesa empewo mu biwaawaatiro byabwe. Era ebiwaawaatiro byabwe nga biri ng’ebya kalooli, ne basitula ekisero mu bbanga wakati w’ensi n’eggulu.
10 Then I said to the angel who was speaking with me, "Where are they taking the basket?" Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Abo ekisero bakitwala wa?”
11 He said to me, "To build a house for it in the land of Shinar; and when it's ready, the basket will be set there on its base." N’anziramu nti, “Mu nsi ya Sinaali ey’e Babulooni, okuzimba ennyumba y’omukazi ali mu kisero, era ennyumba ye bw’eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]