Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Zechariah 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then the angel who talked with me returned and woke me, like someone woken from sleep. Awo malayika eyali ayogera nange n’akomawo, n’anzuukusa ng’omuntu bw’azuukusibwa mu tulo.
2 He asked, "What do you see?" I said, "A gold lampstand, a bowl on top, seven lamps, seven spouts for each lamp on top. N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?” Ne muddamu nti, “Ndaba ekikondo ky’ettaala nga kyonna kya zaabu, nga waggulu kiriko n’akabakuli kaakwo, n’ettaala zaakwo omusanvu, nga buli ttaala eriko omumwa gwayo.
3 Two olive trees stand by it, one on the bowl's right, the other on its left." Era waliwo emiti emizeeyituuni ebiri ku mabbali gaakyo, ogumu ku mukono ogwa ddyo ogw’akabakuli, n’omulala ku mukono ogwa kkono.”
4 And I said to the angel who talked with me, "What are these, my lord?" Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino biki mukama wange?”
5 Then the angel talking with me said, "Don't you know what these are?" I said, "No, my lord." Malayika eyali ayogera nange n’addamu n’aŋŋamba nti, “Tobimanyi?” Ne muddamu nti, “Nedda mukama wange.”
6 He said to me, "This is our Father's word to Zerubbabel: Not by might, nor by power, but by my Spirit, says the Father of heaven's armies. Awo n’addamu n’aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
7 Who are you, great mountain? Before Zerubbabel you become level ground. He brings out the capstone shouting, "Grace, grace to it!" “Ggwe olusozi olunene weyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi, era alireeta ejjinja erya waggulu mu mizira n’okwogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, ‘Liweebwe omukisa, liweebwe omukisa!’ ”
8 Then the word of our Father came to me, saying, Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti,
9 Zerubbabel's hands laid this house's foundation; his hands will finish it. Then you'll know the Father of heaven's armies sent me to you. “Emikono gya Zerubbaberi gitaddewo omusingi gwa yeekaalu eno era girigumaliriza, era olitegeera nti Mukama ow’Eggye ye yantuma gye muli.
10 Who has despised the day of small things? They will rejoice, seeing the plumb line in Zerubbabel's hand. These seven are the eyes of our Father, ranging over the whole earth." “Ani anyooma olunaku olw’ebintu ebitono? Abantu balijaguza, bwe baliraba ejjinja erigera mu mukono gwa Zerubbaberi. Gano omusanvu ge maaso ga Katonda agayitaayita mu nsi yonna.”
11 Then I asked him, "What are these two olive trees right and left of the lampstand?" Ne ndyoka mubuuza nti, “Emizeeyituuni gino ebiri ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono ogw’ekikondo ky’ettabaaza, gitegeeza ki?”
12 I asked again, "What are these two olive branches beside the two golden pipes pouring out golden oil?" Ne nnyongera okumubuuza nti, “Gano amatabi abiri ag’emizeeyituuni agaliraanye emidumu gya zaabu ge gayitamu amafuta aga zaabu?”
13 He said to me, "Don't you know what these are?" I said, "No, my lord." N’anziramu nti, “Tobimanyi?” Ne njogera nti, “Nedda, mukama wange.”
14 He said, "These are the two anointed ones standing by the Sovereign of all the earth." Awo n’addamu nti, “Abo be babiri abaafukibwako amafuta abaweereza Mukama ow’ensi yonna.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]