Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Philippians 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So if any encouragement in Christ, any comfort from love, any deep communion in the Holy Spirit, any tenderness and compassion exist, Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okw’okwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okw’engeri yonna, oba okusaasira,
2 complete my joy: think alike, love alike, unite in spirit, one in purpose. mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, n’omwoyo gumu, nga mulowooza bumu,
3 Do nothing out of selfish ambition or empty conceit, but in humility consider others better than yourselves. nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka,
4 Each of you should attend not only to your own interests, but also to others'. nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.
5 Have this mindset among yourselves—one that is yours in Christ Jesus, Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,
6 who, existing in the form of our Father, did not consider equality with our Father something to be grasped, ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda, Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda,
7 but emptied himself by taking on the form of a servant and being born in human likeness. wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu, era n’azaalibwa ng’omuntu, era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,
8 And appearing as a human being, he humbled himself by becoming obedient to death—even death on a cross. ne yeetoowaza, n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa, ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.
9 Therefore our Father exalted him to the highest place and gave him the name that is above every name, Katonda kyeyava amugulumiza, n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
10 so that at the name of Jesus every knee should bow, in heaven and on earth and under the earth, buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi, era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,
11 and every tongue confess that Jesus Christ is Lord, to the glory of our Father. era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
12 So, my dear ones, as you've always obeyed—not only in my presence but now much more in my absence—keep working out your salvation with fear and trembling, Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo n’okusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana.
13 for our Father works in you, giving both the will and the work for his good purpose. Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa n’abasobozesa okukola by’ayagala, olw’okumusanyusa.
14 Do everything without grumbling or arguing, Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka,
15 so you may be blameless and pure, faultless children of our Father amid a crooked and depraved generation—shining among them like stars in the world, mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi,
16 holding firmly to the word of life, so I can boast on Christ's day that I didn't run or work for nothing. nga munyweza ekigambo ky’obulamu gye bali, ndyoke mbeere n’eky’okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa.
17 But even if I'm poured out as a drink offering on the sacrifice and service of your faith, I'm glad and rejoice with you all. Naye singa ddala nfukibwa ng’ekiweebwayo ekyokunywa ku ssaddaaka ne ku kuweereza okw’obwakabona okw’okukkiriza kwammwe, nsanyukira wamu nammwe mwenna.
18 So you too should be glad and rejoice with me. Era nammwe musanyukire wamu nange.
19 I hope, in the Lord Jesus, to send Timothy to you soon, so I too may be encouraged, knowing how you are. Mukama waffe Yesu bw’alisiima nsuubira okubatumira mangu Timoseewo, ndyoke ntereere omwoyo nga ntegedde ebibafaako.
20 I have no one else like him, who will genuinely care for your welfare. Kubanga tewali mulala alina ndowooza nga yange,
21 For they all look after their own interests, not those of Jesus Christ. kubanga abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, so si ebya Yesu Kristo.
22 You know Timothy's proven worth—like a son with a father, he served with me in the gospel work. Naye ye Timoseewo mumumanyi nga bw’asaanira, kubanga aweerereza wamu nange, ng’omwana bw’akolera awamu ne kitaawe nga tukola omulimu gw’okubuulira Enjiri.
23 So I hope to send him as soon as I see how things go with me, Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera.
24 and I am confident in the Lord that I myself will come soon. Naye nkakasa nti Mukama waffe bw’alisiima, nange nze kennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja eyo.
25 I thought it necessary to send Epaphroditus back to you—my brother, coworker, and fellow soldier, your messenger and servant for my needs. Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza ow’eby’obwakabona ow’eby’etaago byange,
26 He has longed for you all, and is troubled that you heard he was sick. ayagala ennyo okubalaba, mwenna, eyeeraliikirira ennyo olw’obutabalaba, kubanga mwawulira nga yalwala.
27 Indeed he was sick, and nearly died. But our Father had mercy on him—not only him but me too, sparing me sorrow upon sorrow. Ddala yalwala era yali kumpi n’okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku n’eteenneeyongera.
28 So I'm more eager to send him, so seeing him again you'll rejoice and I'll worry less. Noolwekyo nayagala nnyo okumutuma gye muli mulyoke musanyuke okumulaba nate, ekyo kikendeeze ku nnaku gye nnina.
29 Welcome him in the Lord with all joy, and honor people like him, Kale mumwanirize nnyo n’essanyu lyonna mu Mukama waffe, era abantu abali ng’oyo mubassangamu ekitiibwa,
30 because he neared death for Christ's work, risking his life to make up your missing help to me. kubanga yabulako katono okufa ng’ali ku mulimu gwa Kristo, ng’akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]