Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Philippians 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Finally, brothers and sisters, rejoice in the Lord. Writing the same things again is no trouble for me, and it protects you. Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga mu Mukama waffe. Okuddamu ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya kubanga kyongera kubanyweza.
2 Watch for the dogs, watch for the evil workers, watch for those who mutilate the flesh. Mwekuumenga embwa, era mwekuumenga ab’empisa embi, era mwekuumenga abakomola omubiri.
3 We are the circumcision—worshiping by the Spirit of our Father, boasting in Christ Jesus, trusting nothing in the flesh, Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ng’Omwoyo bw’atuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.
4 though I too could have confidence in the flesh. If anyone else thinks he has grounds for confidence in the flesh, I have more: Ne bwe kwandibadde okwesiga omubiri, omuntu omulala yenna bw’alowooza okuba n’obwesige mu mubiri, nze musinga.
5 Circumcised the eighth day; Israelite by birth, from Benjamin's tribe; Hebrew of Hebrews; a Pharisee under the law. Kubanga nze nakomolebwa ku lunaku olw’omunaana. Ndi Muyisirayiri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu, era mu mateeka ndi Mufalisaayo,
6 In zeal, persecuting the church; in righteousness under the law, blameless. eyanyiikira okuyigganya ekkanisa, eyali omutuukirivu mu mateeka, nga siriiko kya kunenyezebwa.
7 But whatever was gain to me, I now count as loss for the sake of Christ. Naye ebyo byonna ebyali omugabo gye ndi, nabiraba nga butaliimu.
8 Yes, I count everything as loss because of the priceless worth of knowing Christ Jesus my Lord. For his sake I've lost all things, and count them garbage, so I may gain Christ, Naye okusinga byonna, byonna mbiraba ng’okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Yesu Mukama wange, kusinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng’ebisasiro, ndyoke ngobolole Kristo,
9 and be found in him, not having my own righteousness from the law, but that through faith in Christ—the righteousness from our Father based on faith, ndabikire mu ye nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula nga nnina obutuukirivu obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda obwesigamye ku kukkiriza.
10 so I may know him, his resurrection's power, sharing his sufferings, becoming like him in death, Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi g’okuzuukira kwe,
11 if somehow I may attain to the resurrection from the dead. nga nsuubira nga nange ndizuukira.
12 Not that I have already obtained it, or am already perfected, but I press on to grasp that for which Christ Jesus grasped me. Sigamba nti mmaze okufuna oba nti mmaze okutuukirira, wabula nfuba okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera nfune.
13 Brothers, I don't count myself as having grasped it yet. But one thing: forgetting what's behind, reaching for what's ahead, Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola kwe kwerabira ebyo ebiri emabega ne nduubirira ebyo ebiri mu maaso.
14 I press toward the goal for the prize of our Father's heavenward call in Christ Jesus. Nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.
15 Let all of us who are mature think this way; if you think differently on anything, our Father will reveal that to you too. Noolwekyo ffe ffenna abatuukiridde ekyo kye tusaana okulowoozanga, naye obanga mulowooza bulala, na kino Katonda alikibabikkulira.
16 Only let us hold true to what we have already attained. Naye ka tunywerere ku ekyo kye tutuuseeko.
17 Brothers, imitate me together, and watch those who live by the pattern you have in us. Kale, abooluganda, mwegatte n’abo abangoberera era mugobererenga abo abatambulira mu ebyo bye twabalaga.
18 Many live as enemies of Christ's cross—I've told you this often, and now say it in tears. Ekyo newaakubadde nkibabuulidde emirundi emingi, nkiddamu nga nkaaba n’amaziga, nti waliwo abalabe b’omusaalaba gwa Kristo,
19 Their end is destruction, their god the stomach, their glory their shame, minds fixed on earthly things. era ekibalindiridde kwe kuzikirira, kubanga okulya kubafuukidde katonda waabwe, ebyo ebyandibakwasizza ensonyi kye kitiibwa kyabwe era balowooza bintu bya mu nsi.
20 But our citizenship is in heaven; from there we eagerly await a Savior, the Lord Jesus Christ, Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva.
21 who will transform our lowly body to match his glorious body, by the power that subjects all things to himself. Kale bw’alijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ng’ogugwe ogw’ekitiibwa, ng’akozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]