Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Philippians 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So, my dear, longed-for brothers and sisters, my joy and crown, stand firm in the Lord this way, dear ones. Kale, baganda bange abaagalwa, era be nnumirirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era mmwe ngule yange; noolwekyo abaagalwa, muyimirire mu Mukama waffe.
2 I urge Euodia and I urge Syntyche to agree with each other in the Lord. Ewudiya ne Sintuke mbeegayirira mukkiriziganye mu Mukama waffe.
3 Yes, I ask you too, true partner: help these women—they struggled with me for the gospel, along with Clement and my other coworkers, whose names are in the book of life. Era ggwe mukozi munnange, nkusaba oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw’okubunyisa Enjiri. Abo awamu ne Kerementi, era ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.
4 Rejoice in the Lord always; again I will say, rejoice. Musanyukirenga mu Mukama waffe bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga.
5 Show your gentleness to everyone. The Lord is near. Era mubeere n’okuzibiikiriza eri abantu bonna. Mukama waffe, ali kumpi.
6 Worry about nothing; instead, in everything, through prayer and petition with thanksgiving, make your requests known to our Father. Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga.
7 The peace of our Father, beyond all understanding, will guard your hearts and your minds in Christ Jesus. N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.
8 Finally, brothers, fix your minds on whatever is true, honorable, right, pure, lovely, admirable, excellent, and praiseworthy—and keep dwelling on these things. Eky’enkomerero, abooluganda, mulowoozenga ku buli kya mazima, na buli ekisiimibwa na buli kya butuukirivu, na buli kirongoofu, na buli kyagalibwa, na buli kyogerwako obulungi, era bwe wabangawo ekirungi oba bwe wabangawo ettendo, ebyo mubirowoozengako.
9 What you have learned and received and heard and seen in me—do these things, and our Father of peace will be with you. Ebyo bye mwayiga, n’ebyo bye mwafuna ne muwulira, ebyo mubirowoozengako.
10 I rejoiced greatly in the Lord that at last you renewed your concern for me—you were indeed concerned, but lacked opportunity. Nasanyuka nnyo mu Mukama waffe, kubanga kaakano oluvannyuma lw’ebbanga muzzeemu okundowoozaako buggya, kubanga mwali munzisaako nnyo omwoyo, naye temwalina mukisa ku kiraga.
11 Not that I speak from need—I've learned to be content in any circumstance. Soogera kino olwokubanga Ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nayiga okumalibwanga.
12 I know how to be brought low, and I know how to overflow. In any and every circumstance I've learned the secret: full and hungry, overflowing and lacking. Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba n’ebingi ne mu bwetaavu.
13 I can do all things through Christ who strengthens me. Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.
14 Yet it was kind of you to share my trouble. Kyokka mukola bulungi okulumirirwa awamu nange mu kubonaabona kwange.
15 You Philippians know too: when the gospel began, when I left Macedonia, no church shared with me in giving and receiving except you alone. Mmwe, Abafiripi, mumanyi nti bwe nava e Makedoniya nga nakatandika okubuulira Enjiri, tewali Kkanisa n’emu eyampaayo akantu olw’ebyo bye yafuna okuggyako mmwe mwekka.
16 Even in Thessalonica you sent me help for my needs more than once. Kubanga ddala ddala bwe nnali mu Sessaloniika mwampeereza emirundi ebiri.
17 Not that I seek the gift, but I seek the fruit that increases to your credit. Soogera kino lwa kubanga njagala okufuna ekirabo, wabula kye njagala kwe kulaba ng’ekibala kyeyongera ku lwammwe.
18 I have received full payment, and more—filled, having received from Epaphroditus your gifts, a fragrant offering, a sacrifice acceptable and pleasing to our Father. Naye kaakano nfunye bingi okusinga bye neetaaga, kino kisinzidde mu ebyo bye mwampeereza, Epafuladito bye yandeetera. Biri ng’akaloosa akalungi ennyo aka ssaddaaka esanyusa era esiimibwa Katonda.
19 And my Father will supply all your needs according to his riches in glory in Christ Jesus. Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ng’obugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.
20 Now to our Father be glory forever and ever. Amen. Katonda Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
21 Greet every saint in Christ Jesus. The brothers who are with me greet you. Munnamusize buli mutukuvu mu Kristo Yesu; era n’abooluganda abali wano nange babalamusizza.
22 All the saints greet you, especially those of Caesar's household. Era n’abatukuvu bonna babatumidde, naye okusingira ddala abo abali mu lubiri lwa Kayisaali.
23 The grace of the Lord Jesus Christ be with your spirit. Amen. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe. Amiina.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]