Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Colossians 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Paul, an apostle of Christ Jesus by the will of our Father, and Timothy our brother, Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, wamu ne Timoseewo owooluganda,
2 to Colossae's holy, faithful brothers and sisters in Christ: grace and peace to you from our Father. tuwandiikira abantu ba Katonda, abatukuvu era abooluganda abeesigwa mu Kristo ab’e Kkolosaayi, nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe bibeerenga nammwe.
3 We always thank our Father, the Father of our Lord Jesus Christ, praying for you, Buli bwe tubasabira, twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.
4 since we heard of your faith in Christ Jesus and the love you have for all the saints, Twawulira okukkiriza kwe mulina mu Kristo Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, abatukuvu,
5 because of the hope kept for you in heaven, which you already heard in the message of truth, the gospel, olw’essuubi eryabategekerwa mu ggulu, lye mwawulirako mu kigambo eky’amazima, ye Enjiri.
6 which reached you, bearing fruit and growing throughout the whole world as it has among you, since the day you heard and truly understood our Father's grace. Enjiri yajja gye muli, era ebunye mu nsi yonna ng’ebala ebibala era nga yeeyongera okukula. Okuviira ddala lwe mwasooka okugiwulira, ne mutegeerera ddala amazima agali mu kisa kya Katonda, Enjiri ebadde yeeyongera okubuna mu mmwe.
7 You learned it from Epaphras, our beloved fellow servant, a faithful minister of Christ on our behalf, Epafula muddu munnaffe omwagalwa omuweereza wa Kristo omwesigwa gye muli, eyabatuusaako Enjiri eyo,
8 and he has told us about your love in the Holy Spirit. ye yatubuulira okwagala kwe mulina mu Mwoyo.
9 So, since the day we heard, we haven't stopped praying for you, asking that you be filled with knowledge of his will in all spiritual wisdom and understanding, Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo.
10 so that you may walk worthy of the Lord, fully pleasing to him, bearing fruit in every good work and growing in the knowledge of our Father, Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda.
11 being strengthened with all power by his glorious might, for all endurance and patience with joy, Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke,
12 giving thanks to our Father, who qualified you to share the saints' inheritance in the light. nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu ab’obwakabaka obw’ekitangaala.
13 He rescued us from darkness's reign and brought us into his beloved Son's kingdom, Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa,
14 in whom we have redemption, the forgiveness of sins. atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.
15 He is the image of our invisible Father, the firstborn over all creation. Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo.
16 For everything was created in him—things in heaven and on earth, visible and invisible, thrones, dominions, powers, authorities—all created through him and for him. Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba ab’obuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe.
17 And he is before all things, and in him all things hold together. Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa.
18 He is head of the body, the church. He is the beginning, firstborn from the dead, so that he might have first place in everything. Ye gwe mutwe gw’omubiri, n’omubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna.
19 For our Father was pleased to have all his fullness live in the Son, Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye,
20 and through him reconcile all things to himself, whether things on earth or things in heaven, making peace through his cross's blood. era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.
21 Once you were alienated from our Father, hostile in your thinking, because of your evil deeds. Edda temwali kumpi ne Katonda, era ebirowoozo byammwe n’ebikolwa byammwe ebibi bye byabalabisa ng’abakyawa Katonda.
22 But now our Father has reconciled you in Christ's fleshly body through death, to present you holy, blameless, and beyond reproach before him, Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olw’okufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa.
23 if you truly remain in the faith, grounded and firm, not moved from the hope of the gospel you heard, proclaimed in all creation under heaven, of which I, Paul, became a servant. Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi ery’Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.
24 I now rejoice in my suffering for you, and in my flesh complete what is still lacking in Christ's hardships, for the sake of his body, the church. Kaakano nsanyuka olw’okubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lw’omubiri gwe, ye Kkanisa.
25 I became its servant through the assignment our Father gave me for you: to fully proclaim our Father's word. Katonda yateekateeka okunfuula omuweereza w’Ekkanisa ye ku lwammwe, ndyoke mbabuulire ekigambo kya Katonda mu bujjuvu.
26 The mystery that was hidden for ages and generations but is now revealed to his holy people. Ekyama ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna, n’emirembe n’emirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be.
27 To them our Father chose to reveal this mystery's glorious riches among Gentiles, which is Christ in you, the hope of glory. Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.
28 We proclaim him, warning and teaching everyone with all wisdom, to present everyone mature in Christ. Kristo oyo gwe tutegeeza nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna era nga tulabula buli omu, tulyoke twanjule buli muntu eri Katonda ng’atuukiridde mu Kristo.
29 For this I labor, striving with all the energy our Father supplies, which so powerfully works within me. Kyenva ntegana nga nfuba nga nkozesa obuyinza Katonda bw’ampa obw’amaanyi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]