Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Colossians 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 I want you to know how hard I'm struggling for you, those in Laodicea, and all who haven't met me in person, Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo okubasabira mmwe n’ab’omu Lawodikiya, era n’abo abatandabangako mu mubiri.
2 that their hearts may be encouraged, knit together in love, and come into all the riches of full assurance and understanding—into the knowledge of our Father's mystery, which is Christ, Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo.
3 in whom are hidden all the treasures of wisdom and knowledge. Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya.
4 I say this so that no one may deceive you with persuasive arguments. Ebyo mbibategeeza waleme kubaawo n’omu ababuzaabuza.
5 Though absent in body, I'm with you in spirit, glad to see your good order and the firmness of your faith in Christ. Kubanga wadde siri wamu nammwe mu mubiri, naye mu mwoyo ndi wamu nammwe, era nsanyuka okumanya nti mutambula nga bwe muteekwa okutambula mu Kristo era nti n’okukkiriza kwammwe mu Kristo kunywevu.
6 Therefore, as you received Christ Jesus the Lord, walk in him, Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye,
7 rooted and built up in him, firm in the faith as taught, overflowing with thanks. nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga.
8 Watch that no one captures you through philosophy and empty deceit, according to human tradition, according to the world's elemental spirits, not according to Christ. Mwekuumenga walemenga kubaawo n’omu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu by’obulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obw’abantu n’ebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo.
9 For in him the whole fullness of deity lives in bodily form, Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okw’Obwakabaka mwe kulabikira mu mubiri,
10 and in him you have been made complete, who is the head over all rule and authority. era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gw’obufuzi bwonna n’obuyinza bwonna.
11 In him you were also circumcised—a circumcision not made by hands, stripping off the body of flesh—the circumcision of Christ. Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kw’omubiri, naye si okukomolebwa okw’engalo z’abantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo.
12 Buried with him in baptism, in which you were also raised with him through faith in our Father's power, who raised him from the dead. Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olw’okukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu.
13 You were dead in your sins and uncircumcised flesh, but our Father made you alive with him, forgiving us all our sins, Mwali mufudde olw’ebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obw’okwegomba kw’omubiri. Katonda n’abafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna.
14 erasing the record of debt, with its regulations, that stood against us. He set this aside, nailing it to the cross. Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba,
15 He disarmed the rulers and authorities and publicly shamed them, triumphing over them in him. n’aggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi n’ab’obuyinza ab’omu bbanga, n’abaswaza mu lwatu, n’abawangulira ddala.
16 So let no one judge you over food, drink, festival, new moon, or Sabbath. Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu abasalira musango ku bye mulya ne bye munywa, oba okubasalira omusango olw’embaga z’Ekiyudaaya oba ez’omwezi ogubonese wadde olwa Ssabbiiti.
17 These are a shadow of the things that were to come, but the reality belongs to Christ. Kubanga ebyo kisiikirize eky’ebyo ebyali bigenda okujja, naye ekirimu ensa ye Kristo.
18 Let no one disqualify you by delighting in false humility and worship of angels, focusing on visions he has seen, puffed up without cause by his fleshly mind, Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’abanyagako ekirabo kye mwaweebwa, nga yeesigama ku kwewombeeka okw’obulimba n’okuwa bamalayika ekitiibwa ekingi, ng’anywerera mu bintu bye yalaba, nga yeenyumiririza mu butaliimu obw’amagezi ag’omubiri gwe.
19 and not holding on to the Head, from whom the whole body, fed and joined by joints and ligaments, grows with growth from our Father. Ab’engeri eyo baba tebakyali mu Kristo, omutwe gw’omubiri gwonna. Omubiri ogwo gugattibwa mu nnyingo ne mu binywa era ne gugattibwa wamu nga gukula, Katonda nga y’agukuza.
20 If you died with Christ to the world's elemental spirits, why, as if still part of the world, do you submit to its rules? Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi ag’ebintu ebyangu eby’ensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ng’ab’omu nsi?
21 "Do not handle, do not taste, do not touch"? Bino bye bimu ku biragiro ab’omu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti tokomba ku kino.
22 These all perish with use, because they are based on human commands and teachings. Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso.
23 These rules seem wise—invented worship, false humility, harsh treatment of the body—but hold no value against indulging the flesh. Birabika ng’eby’amagezi mu ngeri ey’okusinza, abantu gye beegunjirawo bokka mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri, songa tebiriiko kye bigasa n’akatono mu kufuga okwegomba kw’omubiri.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]