Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Colossians 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then, since you were raised with Christ, seek what is above, where Christ is seated at the right hand of our Father. Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
2 Set your minds on the things above, not on the things of the earth. Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi,
3 For you have died, and your life is hidden with Christ in our Father. kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda.
4 When Christ, who is your life, appears, then you also will appear with him in glory. Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.
5 So kill what is earthly in you: sexual sin, impurity, lust, evil desire, and greed—which is idolatry. Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala.
6 Because of these things the wrath of our Father is coming on those who disobey him. Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo,
7 You too once lived this way—that was your life. ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga.
8 Now get rid of all these: anger, rage, malice, slander, obscene talk from your mouth. Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi.
9 Do not lie to one another, since you have stripped off the old self with its practices, Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye,
10 and put on the new self, being renewed in knowledge after the image of its Creator. ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera.
11 No Greek or Jew here, circumcised or uncircumcised, barbarian, Scythian, slave or free—but Christ is all, in all. Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.
12 So, as our Father's chosen, holy and dearly loved, put on heartfelt compassion, kindness, humility, gentleness, and patience. Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza.
13 Put up with one another, forgiving whatever complaints you have against each other. Forgive as the Lord forgave you. Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga.
14 And over all these virtues put on love, which binds them all together in perfect unity. Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.
15 Let Christ's peace rule your hearts—you were called to it as one body. Be thankful. N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.
16 Let the word of Christ dwell in you richly, teaching and correcting each other with all wisdom, singing psalms, hymns, and songs from the Spirit, with gratitude in your hearts to our Father. Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe.
17 Whatever you do, in word or deed, do it all in the name of the Lord Jesus, thanking our Father through him. Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
18 Wives, submit yourselves to your husbands, as is fitting in the Lord. Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.
19 Husbands, love your wives and do not be harsh with them. Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.
20 Children, obey your parents in everything, for this pleases the Lord. Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.
21 Fathers, don't provoke your children, so they won't lose heart. Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.
22 Slaves, obey your earthly masters in everything—not just while watched, to gain favor, but with a sincere heart, fearing the Lord. Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe.
23 Whatever you do, work at it wholeheartedly, as for the Lord, not for people, Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu,
24 since you know you will receive the inheritance as reward from the Lord; you serve the Lord Christ. nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo;
25 Anyone who does wrong will be repaid for their wrong, and there is no favoritism. kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]