Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Colossians 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Masters, give your slaves what's right and fair—you too have a Master in heaven. Mmwe bakama b’abaddu, mubenga benkanya eri abaddu bammwe nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.
2 Devote yourselves to prayer, staying alert in it with thanksgiving. Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga
3 Pray for us too, that our Father would open a door for us to share the message, to declare Christ's mystery, for which I'm also in chains, nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, n’okutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa.
4 that I may make it clear, as I ought to speak. Ndyoke njolesenga ekyama ekyo nga bwe kiŋŋwanidde okukyogerako.
5 Walk in wisdom toward outsiders, making the most of every opportunity. Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina.
6 Always speak with grace, seasoned with salt, knowing how to answer each one. Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ng’enoga omunnyo, mulyoke mumanye eky’okwanukulanga buli muntu yenna.
7 Tychicus, our dear brother, faithful servant, and fellow slave in the Lord, will tell you all about me. Tukiko owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe alibategeeza ebinfaako byonna.
8 I sent him to you for this purpose: that you may know our circumstances, and he may encourage your hearts, Kyenva mmutuma gye muli mulyoke mumanye ebitufaako, era abazzeemu n’amaanyi,
9 with Onesimus, the faithful, dear brother, one of you. They will tell you everything here. awamu ne Onesimo owooluganda omwagalwa era omwesigwa, omu ku b’ewammwe; balibategeeza byonna ebifa eno.
10 Aristarchus, my fellow prisoner, and Mark, Barnabas's cousin, greet you—you received instructions about him: welcome him if he comes to you, Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko omujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako nti bw’aliba ng’aze gye muli mumusembezanga, babatumidde;
11 and Jesus, called Justus—the only Jews among my co-workers for our Father's kingdom; they have comforted me. ne Yesu ayitibwa Yusito abalamusizza. Abo be Bayudaaya, bakozi bannange bokka mu bwakabaka bwa Katonda, abaanzizaamu amaanyi.
12 Epaphras, one of you, a servant of Christ Jesus, greets you, always struggling for you in prayer, so you may stand mature and fully assured in everything our Father wills. Epafula ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, afuba bulijjo ku lwammwe okubasabira, mulyoke muyimirirenga nga munywedde mu kukkiriza era nga mutegeereranga ddala mu byonna Katonda by’ayagala, abalamusizza.
13 I can say he's worked hard for you, those in Laodicea, and Hierapolis. Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bw’afuba ennyo ku lwammwe, n’ab’omu Lawodikiya, n’ab’omu Kiyerapoli.
14 Luke, the beloved doctor, greets you, and so does Demas. Lukka, omusawo omwagalwa ne Dema, babalamusizza.
15 Greet the brothers and sisters in Laodicea, and Nympha and the church in her house. Mulamuse abooluganda ab’omu Lawodikiya, ne Nunfa, n’ekkanisa ekuŋŋaanira mu nnyumba ye.
16 When this letter is read among you, have it read in the Laodicean church too, and read the one from Laodicea as well. Ebbaluwa eno bw’emalanga okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n’ab’ekkanisa y’omu Lawodikiya, era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodikiya.
17 And tell Archippus, "Make sure you complete the ministry you have received in the Lord." Era mugambe Alukipo nti, “Ssaayo omwoyo ku kuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okutuukirize.”
18 I, Paul, write this greeting with my own hand. Remember my chains. Grace be with you. Nze Pawulo nzennyini nze mpandiise okulamusa kuno. Munzijukirenga mu busibe bwange. Ekisa kibeerenga nammwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]