Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Philippians 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Paul and Timothy, servants of Christ Jesus, to all the holy ones in Christ Jesus at Philippi, with the overseers and deacons: Nze Pawulo ne Timoseewo abaddu ba Kristo Yesu tuwandiikira abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, awamu n’abalabirizi n’abadiikoni;
2 Grace to you and peace from our Father and the Lord Jesus Christ. ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.
3 I thank my Father every time I remember you, Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira,
4 always praying for all of you with joy in every prayer, era buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu.
5 because of your partnership in the gospel from the first day until now. Kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n’okutuusiza ddala kaakano mwetaba wamu nange mu njiri.
6 I'm confident of this very thing: the one who began a good work in you will complete it until the day of Christ Jesus. Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu.
7 I'm right to feel this about you—I hold you in my heart, all of you sharing with me in grace, in my chains and in defending and confirming the gospel. Kino kituufu okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundowoozaako mu kusibibwa kwange ne mu kulwanirira Enjiri, ne mu kuginyweza, nga mwenna mwetaba wamu nange mu kisa.
8 For our Father is my witness, how I long for you all with Christ Jesus's deep affection. Katonda ye mujulirwa wange nga mwenna bwe mbaagala n’okwagala okuva eri Kristo Yesu.
9 This is my prayer: that your love overflow more and more, with knowledge and all discernment, Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera,
10 so you can discern what is best, staying pure and blameless until the day of Christ. mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo,
11 Filled with the fruit of righteousness through Jesus Christ, to our Father's glory and praise. nga mujjudde ekibala eky’obutuukirivu ku bwa Yesu Kristo, olw’okuweesa Katonda ekitiibwa n’okumutendereza.
12 I want you to know, brothers and sisters, that my circumstances have actually advanced the gospel, Abooluganda, njagala mmwe mutegeere kaakano nti ebimu ebyambaako byongera bwongezi kubunyisa Njiri,
13 so my chains for Christ became known to the whole imperial guard and everyone else. n’okusibibwa kwange kulyoke kulabise Kristo eri olusiisira lwonna olw’abaserikale ba kabaka n’eri abalala bonna.
14 Most of the brothers and sisters, made confident in the Lord by my chains, now dare more to speak the word fearlessly. N’abooluganda mu Mukama waffe abasinga obungi beeyongedde okuguma olw’okusibibwa kwange, era nga bamaliridde okwaŋŋanga okubuulira nga tebatya.
15 Some, it is true, preach Christ out of envy and rivalry, but others out of goodwill. Weewaawo abamu bategeeza abantu Kristo lwa buggya na kuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi.
16 These act from love, knowing I'm assigned to defend the gospel. Bano bakikola lwa kwagala, kubanga bamanyi nga nalondebwa lwa kulwanirira Njiri.
17 The others proclaim Christ out of selfish ambition, not sincerely, thinking to stir up trouble for me in my chains. Naye bali bategeeza Kristo lwa kuvuganya, so si mu mazima, nga balowooza nti banaayongera okunnakuwaza mu busibe bwe ndimu.
18 What then? Only that in every way—whether in pretense or truth—Christ is proclaimed, and I rejoice in this. Yes, I will keep rejoicing. Naye nze nfaayo ki? Kristo bw’abuulirwa, mu buli ngeri, oba za bukuusa oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi. Era nzija kweyongera okusanyuka.
19 For I know this will result in my rescue, through your prayers and the help of Jesus Christ's Spirit. Kubanga mmanyi nti olw’okunsabira n’olw’amaanyi g’Omwoyo wa Yesu Kristo, ndifuna okulokolebwa kwange.
20 My eager expectation and hope: I will never be ashamed, but with full courage, now as always, Christ will be praised in my body, whether by life or by death. Neesiga era nsubirira ddala nti sijja kuswala mu nsonga n’emu, wabula ne kaakano nzija kuguma nga bulijjo, Kristo agulumizibwe mu mubiri gwange, oba okuyita mu bulamu oba okuyita mu kufa.
21 For to me, to live is Christ, and to die is gain. Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde.
22 If I am to go on living in the body, this will mean fruitful work for me. Yet I don't know which to choose. Naye obanga bwe mba omulamu mu mubiri ng’ekyo kibala ky’okufuba kwange, simanyi kye nnaalondawo.
23 Torn between the two, I want to leave and be with Christ—far better, Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi.
24 but to remain in the body is more necessary for your sake. Naye okusigala mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe
25 Convinced of this, I know I'll remain and stay with you all, for your progress and joy in the faith, Ekyo nkikakasa era nkimanyi nti nzija kuba nga nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okusanyuka n’okukula mu kukkiriza,
26 so your boasting in Christ Jesus may overflow because of me, when I come to you again. bwe ndikomawo gye muli mulyoke mweyongere okwenyumiririza mu Kristo ku lwange.
27 Just live worthy of the gospel of Christ, so that whether I come and see you, or am absent, I hear you stand firm in one spirit, contending together with one mind for the gospel's faith, Naye kirungi obulamu bwammwe bubeerenga nga bwe kisaanira Enjiri ya Kristo; ne bwe ndijja oba ne bwe sirijja kubalaba, mpulire nti muli banywevu era mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw’enjiri n’emmeeme emu.
28 and not scared of your opponents at all—proof to them of their destruction, but of your salvation, and that from our Father. Temutyanga abo ababawakanya kubanga ke kabonero akakakasa nti balizikirizibwa, naye mmwe mulirokolebwa, era ekyo kiva eri Katonda.
29 For it has been graciously granted to you, for Christ's sake, not only to believe in him but also to suffer for him, Kubanga mwaweebwa omukisa, ku lwa Kristo, si mu kumukkiriza kyokka, naye n’okubonaabona ku lulwe.
30 going through the same struggle you saw me face, and now hear that I still face. Olutalo lwe mwalaba nga nnwana, era lwe muwulira lwe ndiko kaakano, nammwe lwe muliko.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]