Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 24 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Balaam saw that it pleased our Father to bless Israel, so he did not seek omens as before, but turned toward the wilderness. Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, n’ataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye n’ayolekeza amaaso ge eddungu.
2 Balaam looked up and saw Israel camped tribe by tribe; then the Spirit of our Father came on him. Balamu n’alengera ewala, n’alaba Isirayiri gye yasiisira ng’ebika bwe byali, n’ajjirwa Omwoyo wa Katonda,
3 He lifted his oracle and said: "The oracle of Balaam son of Beor, the oracle of the man whose eye is opened, n’alagula nti, “Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli, okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
4 the oracle of one who hears the words of our Father, who sees the vision of the Almighty, bowing down with eyes wide open: okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda alaba okwolesebwa kw’Ayinzabyonna, eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula:
5 How lovely are your tents, Jacob, your dwelling places, Israel! “Eweema zo nga nnungi, Ayi Yakobo, ebifo byo mw’obeera, Ayi Isirayiri!
6 Like valleys stretching far, like gardens beside a river, like aloes our Father has planted, like cedars beside the waters. “Byeyaliiridde ng’ebiwonvu, ng’ennimiro ku mabbali g’omugga, ng’emigavu egisimbiddwa Mukama ng’emivule egiri okumpi n’amazzi.
7 Water will flow from his buckets, and his descendants will have abundant water. His king will be higher than Agag, and his kingdom will be exalted. Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga ensigo zaabwe zirifunanga amazzi mangi. “Kabaka waabwe aliba wa kitiibwa okukira Agagi obwakabaka bwabwe bunaagulumizibwanga.
8 Our Father brings Israel out of Egypt; Israel is like the horns of the wild ox to them. Israel will devour the nations who oppose them, break their bones, and pierce them with arrows. “Katonda ye yabaggya mu Misiri balina amaanyi nga aga sseddume ey’omu nsiko. Basaanyaawo amawanga g’abalabe ne bamenyaamenya amagumba gaabwe mu butundutundu, ne babalasa n’obusaale bwabwe.
9 He crouches, he lies down like a lion, like a lioness—who dares rouse him? Blessed are those who bless you, and cursed are those who curse you." Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi, ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa? “Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa n’oyo akukolimira akolimirwenga!”
10 Balak's anger flared against Balaam, and he clapped his hands. Balak said to Balaam, "I called you to curse my enemies, but you've blessed them three times now! Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. N’akuba mu ngalo omulundi gumu, n’amugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule.
11 Now flee home! I said I would richly honor you, but God has kept you from honor." Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.”
12 Balaam answered Balak, "Did I not tell the messengers you sent me, Balamu n’agamba Balaki nti, “Ababaka bo be wantumira, saabagamba nti,
13 'Even if Balak gave me his house full of silver and gold, I couldn't go beyond my God's command to do good or bad on my own; I can only say what my God tells me'? ‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’
14 And now I am going back to my people. Come, let me warn you what this people will do to your people in the days to come." Kaakano nno nzirayo ewaffe mu bantu bange, naye wuliriza nga nkulabula abantu bano kye balikola abantu bo mu nnaku ezijja.”
15 Then he lifted his oracle, saying: "Oracle of Balaam son of Beor, oracle of the man whose eye is opened, N’alagula bw’ati nti, “Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli, okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
16 the oracle of one who hears the words of our Father, who knows the knowledge of the Most High, who sees the vision of the Almighty, bowing down with eyes wide open: okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda, aggya okutegeera eri oyo Ali Waggulu Ennyo alaba okulabikirwa kw’Ayinzabyonna eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula.
17 I see him, but not now; I gaze on him, but not near. A star will come out of Jacob, and a scepter will rise out of Israel; it will crush the brow of Moab and break down all the sons of Sheth. “Mmulaba, naye si kaakano; mmutunuulira, naye tali kumpi. Emmunyeenye eriva ewa Yakobo; omufuzi alisituka ng’ava mu Isirayiri. Alibetenta Mowaabu, obuwanga bw’abatabani ba Seezi.
18 Edom will be conquered, and Seir, his enemies, will be conquered, while Israel grows strong. Edomu aliwangulwa; Seyiri, omulabe we, aliwangulwa, naye Isirayiri alyeyongera amaanyi.
19 One from Jacob will rule, and will destroy the survivors of the city." Omufuzi alisituka ng’ava mu Yakobo n’azikiriza ab’omu kibuga abaliba bawonyeewo.”
20 Then Balaam saw Amalek, took up his message, and said: "Amalek was first among the nations, but his end is utter destruction." Balamu n’alaba Amaleki, n’alagula nti, “Amaleki ye yakulemberanga mu mawanga, naye ku nkomerero agenda kuzikirira.”
21 He looked at the Kenite, took up his oracle, and said: "Your dwelling place is firm, your nest set in the rock. N’alaba Abakeeni, n’alagula nti: “Ekifo kyo w’obeera wagumu, ekisu kyo kiri mu lwazi
22 Yet Kain will be consumed when Asshur takes you away captive." naye era mmwe Abakeeni mugenda kuzikirizibwa Asuli bw’alibatwala mu busibe.”
23 He took up his oracle and said: "Who can live when God does this? Ate n’alagula nti, “Woowe! Ani aba omulamu nga Katonda asazeewo eky’okukola?
24 Ships will come from the coasts of Kittim; they will afflict Asshur and afflict Eber, but they too will come to utter destruction." Ebyombo birijja nga biva ku mbalama za Kittimu; birifufuggaza Asuli ne Eberi, naye nabyo birizikirira.”
25 Then Balaam rose and went back to his home, and Balak also went on his way. Awo Balamu n’asituka n’addayo ewaabwe, ne Balaki n’akwata agage.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]