Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 23 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Balaam told Balak, "Build me seven altars here, prepare seven bulls and seven rams for me here." Balamu n’agamba Balaki nti, “Nkolera wano ebyoto musanvu, era onfunire ne sseddume z’ente musanvu, n’endiga ennume musanvu.”
2 Balak did as Balaam said; Balak and Balaam offered a bull and a ram on each altar. Balaki n’akola nga Balamu bwe yamugamba; bombi Balaki ne Balamu ne bawaayo ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.
3 Balaam told Balak, "Stand by your burnt offering while I go; maybe God will meet me, and I'll tell you whatever he shows me." Then he went to a bare height. Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ekiweebwayo kyo nze njire nga nzirako wabbali. Oboolyawo nga Mukama anajja n’ansisinkana. Buli kyonna ky’anambikkulira nnaakikutegeeza.” N’alaga waggulu ku lusozi awatali bimera.
4 Our Father met Balaam, who said to him, "I have set up seven altars and offered a bull and ram on each altar." Katonda n’asisinkana Balamu; Balamu n’amugamba nti, “Nteeseteese ebyoto musanvu, era ku buli kyoto mpeereddeko ente ya sseddume emu n’endiga ennume emu.”
5 Our Father put a word in Balaam's mouth: "Return to Balak and say this." Mukama Katonda n’assa ebigambo mu kamwa ka Balamu n’amugamba nti, “Ddayo eri Balaki omutuuseeko obubaka buno.”
6 He went back to Balak—there Balak stood beside his burnt offering, with all the princes of Moab. N’addayo gye yali, n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo kye, n’abakungu bonna aba Mowaabu.
7 He took up his oracle and said: "From Aram Balak brought me, Moab's king from the eastern mountains: Come, curse Jacob for me; come, denounce Israel. Balamu n’alagula nti, “Balaki ye yanzigya mu Alamu, kabaka wa Mowaabu yanzigya mu nsozi z’ebuvanjuba. N’aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimiririre Yakobo; jjangu oboole Isirayiri.’
8 How can I curse those our Father has not cursed? How can I denounce those our Father has not denounced? Nnyinza okukolimira abo Katonda batakolimidde? Nnyinza okuboola abo Mukama Katonda baatabodde?
9 From the top of the rocks I see them, from the hills I look on them: a people dwelling alone, not counting itself among the nations. Mbalaba okuva ku ntikko ez’enjazi mbalengera nga nsinziira ku nsozi. Ndaba abantu abeeyawuddeko abateerowooza kuba ng’erimu ku mawanga.
10 Who can count the dust of Jacob or number even a fourth of Israel? Let me die as the upright die, and let my end be like theirs!" Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo, oba okubala ekitundu ekyokuna ekya Isirayiri? Leka nfe okufa okw’omutuukirivu, n’enkomerero yange ebeere ng’eyaabwe!”
11 Balak said to Balaam, "What have you done to me? I brought you to curse my enemies, and look—you've only blessed them!" Balaki n’agamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obw’edda bwonna obadde obasabira mukisa!”
12 He answered, "Must I not be careful to say what God puts in my mouth?" N’addamu nti, “Tekiŋŋwanidde kwogera ekyo Mukama Katonda ky’atadde mu kamwa kange?”
13 Then Balak said, "Please come with me to another place where you can see them. You will see only their outer edge, not all of them, and curse them for me from there." Balaki n’amugamba nti, “Jjangu tugende mu kifo ekirala w’onoolabira abaana ba Isirayiri; ojja kulabako kitundu butundu so si bonna. Kale nno sinziira awo obankolimiririre.”
14 He took him to the field of Zophim, to the top of Pisgah, built seven altars, and offered a bull and a ram on each. N’amutwala mu nnimiro ya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n’azimbira eyo ebyoto musanvu n’awaayo sseddume w’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.
15 Balaam said to Balak, "Stand here by your burnt offering while I meet with him over there." Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ebiweebwayo byo, nze ŋŋende musisinkane wali.”
16 Our Father met Balaam, put a word in his mouth, and said, "Return to Balak and say this." Mukama Katonda n’asisinkana Balamu, n’ateeka obubaka mu kamwa ke, ng’agamba nti, “Ddayo eri Balaki omuwe obubaka obwo.”
17 He came to him—there, standing by his burnt offering, with Moab's princes. Balak said to him, "What has God spoken?" N’addayo gy’ali n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo, ng’ali n’abakungu ba Mowaabu. Balaki n’amubuuza nti, “Mukama Katonda agambye ki?”
18 He took up his oracle: "Rise, Balak, and hear; listen to me, son of Zippor: Bw’atyo n’alagula nti, “Golokoka, Balaki, owulirize; mpulira, mutabani wa Zipoli.
19 Our Father is not a man, that he should lie, nor a son of man, that he should change his mind. Has he ever said something and not done it? Has he ever spoken and not fulfilled it? Katonda si muntu, nti ayinza okulimba, oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye. Ayogera n’atakola? Asuubiza n’atatuukiriza?
20 Look, I have received a command to bless. He has blessed, and I cannot revoke it. Mpeereddwa ekiragiro okusaba omukisa; agabye omukisa, era siyinza kukikyusa.
21 He has seen no misfortune in Jacob, nor seen trouble in Israel. Our Father is with him, and the shout of a King is among them. “Tewali kibi kirabiddwa mu Yakobo, tewali kubonaabona kulabise mu Isirayiri. Mukama Katonda waabwe ali nabo; eddoboozi lya kabaka ery’omwanguka liri wakati mu bo.
22 Our Father, who brought them out of Egypt, is for them like the horns of the wild ox. Katonda ye yabaggya mu Misiri, balina amaanyi ng’aga sseddume ey’omu nsiko.
23 There is no enchantment against Jacob, no divination against Israel. Now it will be said of Jacob and of Israel, 'See what our Father has done!' Tewali bulogo ku Yakobo, tewali bulaguzi ku Isirayiri. Kiryogerwako ku Yakobo ne ku Isirayiri nti, ‘Mulabe Katonda ky’akoze!’
24 Look, a people rising up like a lioness, rousing itself like a lion; it will not lie down until it devours the prey and drinks the blood of the slain." Abantu basituka ng’empologoma enkazi, beezuukusa ng’empologoma ensajja etaweera okutuusa ng’eridde omuyiggo gwayo n’enywa omusaayi gw’ebyo by’esse.”
25 Balak said to Balaam, "Don't curse them at all, and don't bless them at all!" Balaki n’agamba Balamu nti, “Tobakolimira wadde okubasabira omukisa n’akamu!”
26 But Balaam answered Balak, "Didn't I tell you I must do all that God says?" Balamu n’addamu nti, “Saakutegeezezza nti kinsaanidde okukola ekyo kyonna Mukama Katonda ky’anaagamba?”
27 Balak said to Balaam, "Come, let me take you elsewhere. Maybe God will let you curse them for me from there." Balaki n’agamba Balamu nti, “Jjangu, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Katonda anakkiriza obankoliimiririre ng’osinziira awo.”
28 So Balak took Balaam to the top of Peor, which overlooks the wasteland. Balaki n’atwala Balamu ku ntikko y’olusozi Peoli, olwolekedde eddungu.
29 Balaam told Balak, "Build me seven altars here, and prepare seven bulls and seven rams here." Balamu n’agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, era onfunireyo wano ente za sseddume musanvu n’endiga ennume musanvu.”
30 Balak did as Balaam had said, and offered a bull and a ram on each altar. Balaki n’akola nga Balamu bwe yamusaba, n’awaayo sseddume y’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]