Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 22 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then the Israelites set out and camped in the plains of Moab beyond the Jordan, opposite Jericho. Awo abaana ba Isirayiri ne basitula, ne batambula ne basiisira mu lusenyi lwa Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.
2 Now Balak son of Zippor saw all that Israel had done to the Amorites. Balaki mutabani wa Zipoli n’alaba byonna Isirayiri bye yali akoze Abamoli.
3 Moab feared the people greatly, for they were many; Moab dreaded the Israelites. Mowaabu n’atya nnyo kubanga abantu abo baali bangi nnyo. Mowaabu okutya abaana ba Isirayiri ne kumusukkirira.
4 Moab said to Midian's elders, "This horde will lick up everything around us, as an ox licks up field grass." Balak son of Zippor was king of Moab then. Awo Mowaabu n’agamba abakulembeze ba Midiyaani nti, “Ogubiina gw’abantu bano bajja kulya byonna bye tuli nabyo ebitwetoolodde ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.” Balaki mutabani wa Zipoli, eyali kabaka wa Mowaabu mu biseera ebyo,
5 He sent messengers to Balaam son of Beor at Pethor, by the Euphrates in his people's land, to summon him. He said, "Look, a people has come out of Egypt. Look, they cover the face of the land, and have settled facing me. n’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, eyali mu Pesoli, ekiriraanye Omugga, mu nsi y’ewaabwe, okumuyita ng’amugamba nti, “Abantu bali wano, baavudde mu Misiri, basaanikidde ensi yonna we batudde; basiisidde wano okunninaana.
6 Come, please curse this people for me—they are stronger than I am. Maybe then I can strike them and drive them from the land, for I know: whoever you bless is blessed, and whoever you curse is cursed." Kale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gw’okolimira akolimirwa, ne gw’osabira omukisa aweebwa omukisa.”
7 The elders of Moab and elders of Midian went, fortune-telling fees in their hand, and came to Balaam and told him Balak's words. Awo ababaka abaatumibwa, abaali abakulembeze ba Mowaabu n’abakulembeze ba Midiyaani, ne basitula nga batutte n’ensimbi ez’okumusasula. Bwe baatuuka eri Balamu ne bamutegeeza obubaka Balaki bwe yabatuma.
8 He said to them, "Stay here tonight, and I'll bring back word as God speaks to me." So the officials of Moab stayed with Balaam. Balamu n’abagamba nti, “Musule wano leero, nange nnaabatuusaako ekigambo Mukama ky’anaaba aŋŋambye.” Bwe batyo abakungu abaava mu Mowaabu ne basula ewa Balamu.
9 Then our Father came to Balaam and said, "Who are these men with you?" Katonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?”
10 Balaam said to our Father, "Balak son of Zippor, king of Moab, has sent word to me: Balamu n’addamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, Kabaka wa Mowaabu ye yampeereza obubaka buno ng’agamba nti,
11 Look, the people who came out of Egypt cover the land's face. Come now, curse them for me—maybe I can fight against them and drive them out." ‘Abantu abavudde mu Misiri basaanikidde ensi we batudde. Kale nno jjangu obankolimirire. Oboolyawo ekyo kiyinza okunsobozesa okubalwanyisa ne mbagoba mu nsi yange.’ ”
12 But our Father told Balaam, "Do not go with them. Do not curse the people, for they are blessed." Naye Katonda n’agamba Balamu nti, “Togenda na bantu abo. Abantu bali tekikugwanidde kubakolimira, kubanga baaweebwa omukisa.”
13 Balaam got up that morning and told Balak's officials, "Return to your land—God has refused to let me go with you." Enkeera mu makya Balamu n’azuukuka, n’agamba abakungu abaatumibwa Balaki nti, “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama Katonda aŋŋaanye okugenda nammwe.”
14 Moab's officials got up, went to Balak, and said, "Balaam refused to come with us." Abakungu aba Mowaabu ne bakomawo eri Balaki ne bamugamba nti, “Balamu yagaanye okujja naffe.”
15 Then Balak sent officials again—more numerous and more honored than the first. Balaki ne yeeyongera okutuma abakungu abalala, nga baabitiibwa binene era nga bangi okusingako ku bali abaasooka.
16 They came to Balaam and said, "Balak son of Zippor says: Let nothing keep you from coming to me, Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti, ‘Nkwegayiridde, tokkiriza kintu kyonna kukuziyiza kujja gye ndi;
17 for I will honor you greatly, and do whatever you say to me. So please come and curse this people for me." kubanga nzija kutumbula nnyo ekitiibwa kyo, era ŋŋenda kukukolera kyonna ky’ononsaba. Jjangu onkoliimiririre abantu bano.’ ”
18 Balaam answered Balak's servants, "Even if Balak gave me his house full of silver and gold, I cannot go beyond God's command, to do small or great. Naye Balamu n’addamu abo Balaki be yatuma nti, “Balaki ne bw’alimpa enju ye ng’ejjudde ffeeza ne zaabu sigenda kukola kinene oba kitono nga kisukka ku kiragiro kya Mukama Katonda wange.
19 Now please, stay here tonight, you too, so I may learn what more our Father will say to me." Kale nno musule wano olwa leero, nga bannammwe bwe baakola, nange mpulire Mukama Katonda ky’anaayongera okuŋŋamba.”
20 And our Father came to Balaam at night and said to him, "Since these men came to summon you, get up and go with them, but do only what I tell you." Mu kiro ekyo Katonda n’ajja eri Balamu n’amugamba nti, “Obanga abantu abo bakuddukidde, genda nabo, naye okole ekyo kyokka kye nnaakulagira okukola.”
21 So Balaam got up in the morning, saddled his donkey, and went with the officials of Moab. Balamu n’agolokoka mu makya, n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’agenda n’abakungu ba Mowaabu.
22 But our Father's anger burned because he went, and our Father's messenger stood in the road as Balaam's adversary. Balaam was riding his donkey, with his two servants. Naye Katonda n’asunguwala nnyo kubanga Balamu yagenda, malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Balamu yali yeebagadde endogoyi ye, abaweereza be babiri nabo baali naye.
23 The donkey saw the messenger of our Father standing in the road, his sword drawn in his hand, and she turned off the road into the field. So Balaam struck the donkey to turn her back onto the road. Endogoyi n’eraba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde mu kkubo, n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe; endogoyi n’ekyama n’eva mu kkubo n’eraga mu nnimiro. Balamu n’agikuba agizze mu kkubo.
24 Then our Father's messenger stood in a narrow path between vineyards, a wall on each side. Malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kakubo akafunda akayita wakati w’ennimiro z’emizabbibu nga ziriko ekisenge ku buli luuyi.
25 The donkey saw the messenger of our Father, pressed against the wall, and pressed Balaam's foot against it, so he struck her again. Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda ne yeenyigiriza ku kisenge, n’ebetenterako ekigere kya Balamu. N’ayongera okugikuba.
26 The messenger of our Father went further and stood in a narrow place with no room to turn right or left. Malayika wa Mukama Katonda ne yeeyongerayo mu maaso, n’ayimirira mu kakubo akafunda ennyo, awataali kabanga ka kwekyusizaamu kulaga ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono.
27 When the donkey saw the messenger of our Father, she lay down under Balaam; his anger flared, and he struck her with his staff. Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda n’egalamira wansi, nga Balamu ye agituddeko; obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n’akuba endogoyi n’omuggo gwe.
28 Then our Father opened the donkey's mouth, and she said to Balaam, "What have I done to you, that you struck me these three times?" Awo Mukama Katonda n’ayasamya akamwa k’endogoyi, n’egamba Balamu nti, “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino gyonsatule?”
29 Balaam said to the donkey, "You have mocked me! If I had a sword in my hand, I'd kill you now." Balamu n’agamba endogoyi nti, “Kubanga onfudde atategeera! Singa mbadde n’ekitala mu mukono gwange nandikuttiddewo kaakano.”
30 The donkey said to Balaam, "Am I not your donkey, the one you've ridden all your life until today? Have I ever treated you this way before?" He said, "No." Endogoyi n’egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo gye weebagadde ebbanga lyonna n’okutuusa ku lunaku lwa leero? Ebadde mpisa yange okukukola bwe nti?” Balamu n’addamu nti, “Nedda.”
31 Then our Father opened Balaam's eyes, and he saw our Father's messenger standing in the road, sword drawn in hand, and he bowed low and fell facedown. Awo Mukama Katonda n’alyoka azibula amaaso ga Balamu, n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde wakati mu kkubo n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe. N’awunzika omutwe gwe, ne yeevuunika wansi n’avuunama.
32 The messenger of our Father said to him, "Why have you hit your donkey three times? I've come out as an adversary, because your way is reckless before me. Malayika wa Mukama Katonda n’amugamba nti, “Lwaki endogoyi ogikubye emirundi egyo gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza kubanga ekkubo ly’okutte terinsanyusa.
33 The donkey saw me and turned aside from me these three times. Had she not turned aside, I would have killed you by now and spared her life." Endogoyi yandabye n’enneebalama emirundi egyo esatu. Singa teyanneebalamye, nandibadde ggwe nkusse, naye yo nga ngirese.”
34 Balaam said to the messenger of our Father, "I have sinned—I didn't know you stood in the road to oppose me. Now if this is displeasing in your eyes, I'll turn back." Balamu n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Nnyonoonye. Saategedde nti ggwe oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale nno nga kye nkoze bwe kitakusanyusizza, ka nzireyo eka.”
35 The messenger of our Father told Balaam, "Go with the men, but say only what I tell you." So Balaam went on with Balak's officials. Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Balamu nti, “Genda n’abasajja abo, naye ebigambo bye nnaakulagira bye byokka by’oba oyogera.” Bw’atyo Balamu n’agenda n’abakungu ba Balaki.
36 When Balak heard Balaam was coming, he went out to meet him at the city of Moab, on the Arnon border, at the border's edge. Balaki bwe yawulira nga Balamu ajja, n’afuluma okugenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu ekiri ku nsalo ya Alumoni, ku nkomerero y’amatwale ge.
37 Balak said to Balaam, "Didn't I send urgently to call you? Why didn't you come to me? Can I really not honor you?" Balaki n’agamba Balamu nti, “Saakutumira nga nkuyita ojje ku bwange? Lwaki tewajja gye ndi? Olowooza siyinza kukuwa bitiibwa bingi?”
38 Balaam told Balak, "Look, I've come to you now—but can I say just anything? I can only speak what God puts in my mouth." Balamu n’addamu nti, “Nzuuno kaakano nzize gy’oli! Naye olowooza nnina obuyinza okwogera kyonna kye njagala? Nteekwa okwogera ebyo byokka Katonda by’anassa mu kamwa kange.”
39 So Balaam went with Balak, and they came to Kiriath-huzoth. Bw’atyo Balamu n’agenda ne Balaki ne bajja e Kiriasikuzosi.
40 Balak sacrificed cattle and sheep, sending shares to Balaam and the officials with him. Balaki n’awaayo ekiweebwayo eky’ente n’endiga, n’aweerezaako ne ku Balamu n’abakungu abaali naye.
41 In the morning Balak took Balaam and brought him up to Bamoth-baal, and from there he saw the edge of the people. Enkeera Balaki n’atwala Balamu n’amulinnyisa ku bifo bya Bamosi Baali, n’asinziira awo okulengera ku kitundu eky’abantu ba Isirayiri abaali okumpi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]