Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 21 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When the Canaanite, king of Arad, living in the Negev, heard Israel was coming by the Atharim road, he fought Israel and took some captive. Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo, n’awulira nga Isirayiri ajjira mu kkubo lya Asalimu, n’alumba Isirayiri n’amulwanyisa n’awambamu abamu ku bo.
2 Israel made a vow to our Father: "If you truly give this people into my hand, I will destroy their cities completely." Awo Isirayiri ne yeeyama eri Mukama Katonda obweyamo buno nti, “Bw’onoogabula abantu bano mu mukono gwaffe, ne tubawangula, ebibuga byabwe tulibizikiririza ddala.”
3 Our Father heard Israel's voice and handed the Canaanites over; they destroyed them and their cities completely. So the place was named Hormah. Mukama Katonda n’awulira okwegayirira kw’Abayisirayiri, Abakanani n’abawaayo eri Abayisirayiri, ne bazikiriza ebibuga byabwe; ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Koluma.
4 They set out from Mount Hor toward the Red Sea to go around Edom's land, but the people grew impatient on the way. Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne bakwata ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu, balyoke beetooloole ensi ya Edomu. Abantu nga bali ku lugendo olwo ne batandika okuggwaamu obugumiikiriza.
5 The people spoke against our Father and against Moses: "Why did you bring us out of Egypt to die in the wilderness? No bread, no water, and we loathe this wretched food." Ne beemulugunyiza Musa ne Katonda nga boogera nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okufiira wano mu malungu? Kubanga temuli mmere; so temuli mazzi; n’obumere buno bwe tufuna tubwetamiddwa.”
6 Then our Father sent venomous serpents among the people; they bit the people, and many Israelites died. Awo Mukama n’asindikira abantu emisota emikambwe egy’obusagwa, ne gibojja abantu, era abaana ba Isirayiri bangi ne bafa.
7 The people came to Moses and said, "We sinned by speaking against our Father and against you. Pray to him to remove the serpents from us." So Moses prayed for the people. Abantu ne bajja awali Musa, ne bamugamba nti, “Twayonoona bwe twakwemulugunyiza ne twemulugunyiza ne Mukama Katonda, ne tuboogerako bubi. Tusaba weegayirire Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa n’asabira abantu.
8 Our Father told Moses, "Make a venomous snake, put it on a pole; anyone bitten who looks at it will live." Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Kolayo omusota ogufaanana nga giri emikambwe egy’obusagwa oguwanike ku mulongooti; buli anaabojjebwanga omusota, n’agutunulako, anaawonanga.”
9 Moses made a bronze serpent and put it on a pole; whenever a serpent bit anyone, they looked at the bronze serpent and lived. Awo Musa n’aweesa omusota ogw’ekikomo, n’aguwanika ku mulongooti. Kale buli eyabojjebwanga omusota n’atunula ku musota ogw’ekikomo, ng’awona, ng’aba mulamu.
10 The Israelites set out and camped at Oboth. Awo abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okutuuka mu Yebosi, ne basiisira omwo.
11 They set out from Oboth and camped at Iye-abarim, in the wilderness facing Moab, eastward. Ne basitula okuva mu Yebosi ne batambula, ne basiisira mu Lye-Abalimu, mu ddungu eryolekedde Mowaabu, ku luuyi olw’ebuvanjuba.
12 From there they set out and camped in the Valley of Zered. Bwe baava awo, ne batambula okulaga mu kiwonvu kya Zeredi, ne basiisira omwo.
13 From there they moved on and camped beyond the Arnon, in the wilderness that extends from Amorite territory; for the Arnon is Moab's border with the Amorites. Ne bava awo, ne batambula ne basiisira emitala w’omugga Alunoni, oguli mu ddungu erituuka ne ku nsalo ya Abamoli. Omugga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, eyawula Mowaabu n’Abamoli.
14 So the Book of the Wars of our Father says: "Waheb in Suphah, and the ravines of the Arnon, Kyekyava kiwandiikibwa mu Kitabo ky’Entalo za Mukama Katonda, nti, “Zakabu ne Sufa, n’ebiwonvu bya Alunoni,
15 and the slope of the ravines that bends toward the site of Ar and reaches to the border of Moab." n’obuserengeto bw’ebiwonvu ebituuka ku kibuga kya Ali, ne byesigama ku nsalo ya Mowaabu.”
16 From there they went to Beer, the well where our Father told Moses, "Gather the people—I'll give them water." Bwe baava eyo ne batambula okutuuka e Beeri, olwo lwe luzzi Mukama we yagambira Musa nti, “Abantu bonna bakuŋŋaanye, mbawe amazzi.”
17 Then Israel sang this song: "Spring up, O well! Sing to it! Isirayiri n’alyoka ayimba oluyimba luno, nti, “Weetale, ggwe Oluzzi! Muluyimbirire!
18 The well that princes dug, that the nobles of the people dug out with their scepters and staffs." Then from the wilderness they went to Mattanah, Muyimbe ku luzzi abalangira lwe baasima, abakungu n’abantu lwe baayiikuula, abakungu, emiggo gyabwe.”
19 from Mattanah to Nahaliel, from Nahaliel to Bamoth, Ne bava mu ddungu ne batambula okutuuka e Matana. Bwe baava e Matana ne balaga e Nakalieri, ne bava e Nakalieri ne balaga e Bamosi.
20 and from Bamoth to the valley in Moab's plain, to Pisgah's peak overlooking the wasteland. Bwe baava e Bamosi ne balaga mu kiwonvu ekiri mu matwale ga Mowaabu wansi w’olusozi Pisuga, kw’osinziira okulengera eddungu.
21 Then Israel sent messengers to Sihon king of the Amorites, saying, Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli ng’amugamba nti,
22 "Let me pass through your land. We won't turn into field or vineyard, or drink well water. We'll go by the King's Highway until we've passed your border." “Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka olunene mwokka okutuusa lwe tuliva mu nsi yo.”
23 But Sihon refused to let Israel cross his territory. He gathered all his people, marched into the wilderness against Israel, reached Jahaz, and fought Israel. Naye Sikoni n’atakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye. N’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’agenda atabaale Isirayiri mu ddungu. Bwe yatuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri.
24 Israel struck him down with the sword, took his land from the Arnon to the Jabbok—up to the Ammonites, whose border was fortified. Isirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe.
25 Israel captured all these cities and settled in every Amorite city—Heshbon and all its surrounding villages. Isirayiri n’awamba ebibuga byonna eby’Abamoli n’abeera omwo, ne Kesuboni n’akiwambiramu n’obubuga bwonna obwali bukyetoolodde.
26 For Heshbon was the city of Sihon king of the Amorites, who fought the former king of Moab and captured all his land from him, up to the Arnon. Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka w’Abamoli kye yali awambye ng’amaze okulwana n’eyali kabaka wa Mowaabu n’amuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni.
27 So the poets say: "Come to Heshbon—let it be rebuilt, let Sihon's city be restored. Abayiiya ennyimba kyebaava bayimba nti, “Mujje e Kesuboni kizimbibwe; ekibuga kya Sikoni kizzibwewo.
28 For fire went out from Heshbon, a flame from the city of Sihon. It consumed Ar of Moab, the lords of the heights of the Arnon. “Omuliro gwafuluma mu Kesuboni, ennimi z’omuliro ne ziva mu kibuga kya Sikoni. Gwayokya Ali ekya Mowaabu, n’abatuula mu nsozi za Alunoni.
29 Woe to you, Moab! You are destroyed, people of Chemosh! He has made his sons fugitives and his daughters captives to Sihon king of the Amorites. Zikusanze, gwe Mowaabu! Muzikirizibbwa, mmwe abantu ba Kemosi! Batabani be abawaddeyo eri kabaka Sikoni ow’Abamoli ne bafuuka ng’abanoonyi b’obubudamu ne bawala be, ng’abawambe.
30 But we struck them down; Heshbon perished as far as Dibon. We laid waste as far as Nophah, which reaches to Medeba." “Naye tubawangudde Kesuboni azikiridde okutuukira ddala ku Diboni. Tubafufuggazza okutuuka ku Nofa, kwe kutuukira ddala ku Medeba.”
31 So Israel settled in the land of the Amorites. Bw’atyo Isirayiri n’atuula mu nsi y’Abamoli.
32 Moses sent men to scout Jazer; they captured its villages and drove out the Amorites there. Musa bwe yamala okutuma abakessi e Yazeri, abaana ba Isirayiri ne bawamba ebibuga ebyali bikyebunguludde, ne bagobamu Abamoli abaabibeerangamu.
33 Then they turned and went up the Bashan road, and Og king of Bashan came out against them, with all his people, to fight at Edrei. Ne bakyuka ne bambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi kabaka w’e Basani n’eggye lye lyonna ne yeesowolayo okubatabaala mu lutalo olwali mu Ederei.
34 But our Father told Moses, "Don't fear him—I've given him, all his people, and his land into your hand. Do to him as you did to Sihon king of the Amorites, who lived in Heshbon." Mukama n’agamba Musa nti, “Tomutya; kubanga mugabudde mu mukono gwo, n’eggye lye lyonna awamu n’ensi ye; omukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abamoli eyafugiranga mu Kesuboni.”
35 They struck him, his sons, and all his people, leaving no survivor, and took possession of his land. Bwe batyo ne bamutta, ne batabani be, n’eggye lye lyonna, ne batawonyaawo muntu n’omu. Ensi ye ne bagirya.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]