Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 20 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In the first month the whole community of Israel entered the Wilderness of Zin; the people stayed at Kadesh. Miriam died there and was buried there. Mu mwezi ogw’olubereberye, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batuuka mu ddungu lya Zini, ne batuula mu Kadesi. Miryamu n’afiira eyo, era gye yaziikibwa.
2 Now there was no water for the community, so they gathered together against Moses and Aaron. Awo ekibiina kyonna ne kitaba na mazzi. Abantu bonna ne beekuŋŋanyiza ku Musa ne Alooni.
3 The people argued with Moses: "If only we'd died when our brothers died in our Father's presence! Ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Singa nno naffe twafa, baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama Katonda!
4 Why bring our Father's assembly into this wilderness to die here, us and our livestock? Lwaki waleeta ekibiina kya Mukama Katonda kino mu ddungu tulyoke tufiire wano n’ebisibo byaffe?
5 Why did you bring us up from Egypt to this evil place? No grain, figs, vines, or pomegranates—no water to drink." Lwaki watuggya mu nsi y’e Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi bwe kiti? Tekiriimu mmere ya mpeke wadde ttiini, so si kifo kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga. Tewali na mazzi ge tuyinza kunywako!”
6 Moses and Aaron went from before the assembly to the entrance of the tent of meeting, fell facedown, and the glory of our Father appeared to them. Awo Musa ne Alooni ne bava mu maaso g’ekibiina ky’abantu ne balaga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bavuunama wansi. Ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kibalabikira.
7 Our Father said to Moses, Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
8 "Take the staff, gather the community—you and Aaron your brother—and speak to the rock before their eyes; it will give its water. Bring water from the rock for them, and give the community and their livestock drink." “Twala omuggo, ggwe ne muganda wo Alooni mukuŋŋaanye ekibiina kyonna. Lagira olwazi nga n’ekibiina kyonna kiraba, lujja kufukumula amazzi. Bw’otyo obaggire amazzi mu lwazi, basobole okunywako, era banywese n’ebisibo byabwe.”
9 So Moses took the staff from before our Father, as he had commanded him. Musa n’aggya omuggo awali Mukama n’agutwala nga Mukama Katonda bwe yamulagira.
10 Moses and Aaron gathered the assembly in front of the rock. He said, "Listen, you rebels—must we bring water for you out of this rock?" Musa ne Alooni ne bakuŋŋanyiza ekibiina ky’abantu bonna awali olwazi, Musa n’agamba abantu nti, “Mumpulirize, mmwe abajeemu; kitugwanidde ffe okubaggyira amazzi mu lwazi luno?”
11 Moses raised his hand and struck the rock twice with his staff; water gushed out abundantly, and the community and their livestock drank. Awo Musa n’ayimusa omukono gwe n’akuba olwazi n’omuggo gwe emirundi ebiri. Amazzi mangi ne gafukumuka okuva mu lwazi, abantu bonna mu kibiina ne banywa, n’ebisibo byabwe nabyo ne binywa.
12 But our Father told Moses and Aaron, "Because you did not trust me enough to honor me as holy before the Israelites, you will not bring this assembly into the land I have given them." Naye Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Olwokubanga temunneesize, ne mutampa kitiibwa, ne mutalaga kibiina kino eky’abaana ba Isirayiri nga bwe ndi omutukuvu, noolwekyo temugenda kutuusa kibiina ky’abantu bano mu nsi gye mbasuubizza okubawa.”
13 These are the waters of Meribah, where the children of Israel quarreled with our Father, and he showed himself holy among them. Ago ge mazzi ag’e Meriba, abaana ba Isirayiri gye baayombera ne Mukama, era ne Mukama Katonda gye yeeragira mu bo nga mutukuvu.
14 Moses sent messengers from Kadesh to Edom's king: "Your brother Israel says: You know all the hardship that has found us. Musa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ng’asinziira e Kadesi ng’amugamba nti, “Muganda wo Isirayiri agamba bw’ati nti: Ebizibu byonna ebyatutuukako obimanyi.
15 Our ancestors went down to Egypt; we lived in Egypt many years, and the Egyptians mistreated us and our ancestors. Omanyi nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumalayo emyaka mingi. Abamisiri ne bayisa bubi bakadde baffe, era naffe;
16 So we cried out to our Father; he heard our voice, sent a messenger, and brought us out of Egypt. Now we're at Kadesh, a town on your border's edge. naye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, n’atutumira malayika n’atuggya mu nsi y’e Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n’ensi yo.
17 Please let us pass through your land. We won't cross field or vineyard, or drink well water. We'll stay on the King's Highway, not turning right or left, until we've passed through your territory." “Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.”
18 Edom said to him, "You will not pass through me, or I'll come out against you with the sword." Naye Edomu n’addamu nti, “Tojja kuyita wano, bw’onookikola tujja kwesowolayo tukulumbe n’ekitala.”
19 Israel's people told him, "We'll take the highway. If we or our herds drink your water, we'll pay for it. Just let us cross on foot, nothing more." Abaana ba Isirayiri ne baddamu nti, “Tujja kwambukira mu luguudo olunene mwokka, era ebisibo byaffe naffe bwe tunaanywa ku mazzi gammwe tujja kugasasulira. Twagala kuyitawo buyisi nga tutambuza bigere, tetwetaagayo kirala.”
20 But he said, "You will not pass through." Edom came against him with great numbers and a strong hand. Naye Edomu n’addamu nti, “Temuyitawo.” Edomu ne yeesowolayo n’eggye ddene nnyo era nga lya maanyi.
21 So Edom refused to let Israel pass through his territory, and Israel turned away from him. Bw’atyo Edomu n’agaana Isirayiri okuyitira mu matwale ge, Isirayiri n’amuviira.
22 The whole community of the children of Israel set out from Kadesh and came to Mount Hor. Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Kadesi, ne batuuka ku lusozi Koola.
23 At Mount Hor, on Edom's border, our Father said to Moses and Aaron, Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni, nga bali ku lusozi Koola okuliraana n’ensalo y’ensi ya Edomu, nti,
24 "Aaron will be gathered to his people; he will not enter the land I gave the Israelites, because you both rebelled against my command at the waters of Meribah. “Alooni ajja kugenda abantu be bonna gye baalaga, kubanga tagenda kuyingira mu nsi gye nzija okuwa abaana ba Isirayiri. Kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag’e Meriba.
25 Take Aaron and Eleazar his son, and bring them up Mount Hor. Leeta Alooni ne mutabani we Eriyazaali, obaleete ku lusozi Koola;
26 Strip Aaron of his garments, dress Eleazar his son in them; Aaron will be gathered to his people and die there." Alooni omwambulemu ebyambalo bye, obyambaze Eriyazaali mutabani we, kubanga Alooni ajja kufa agende abantu be bonna gye baalaga.”
27 Moses did as our Father commanded, and they went up Mount Hor as the whole community watched. Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira; ne balinnya olusozi Koola ng’abantu bonna mu kibiina balaba.
28 Moses stripped Aaron's garments and dressed his son Eleazar in them. Aaron died there atop the mountain; Moses and Eleazar went down. Musa n’ayambulamu Alooni ebyambalo, n’abyambaza Eriyazaali mutabani wa Alooni. Alooni n’afiira awo ku ntikko y’olusozi. Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bakka wansi w’olusozi.
29 The whole community saw Aaron had died, and Israel's whole house mourned him thirty days. Abantu bonna mu kibiina bwe bategeera nga Alooni afudde, ab’omu nnyumba ya Isirayiri bonna ne bakungubagira Alooni okumala ennaku amakumi asatu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]