Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 19 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses and Aaron, saying: Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti,
2 "This is the statute of the law our Father commanded: Tell the Israelites to bring you a red heifer, flawless, with no defect, never yoked. “Kino kye kiragiro eky’etteeka Mukama ky’alagidde: Gamba abaana ba Isirayiri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko kamogo wadde ekikyamu kyonna, era nga tesibibwangamu kikoligo.
3 Give it to Eleazar the priest; it is to be led outside the camp and slaughtered before him. Ogiwanga Eriyazaali kabona; eneetwalibwanga ebweru w’olusiisira n’ettirwa mu maaso ge.
4 Eleazar the priest is to dip his finger in its blood and sprinkle it seven times toward the front of the tent of meeting. Eriyazaali anaddiranga ku musaayi gwayo n’olunwe lwe n’agumansira okwolekera obwenyi bwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu emirundi musanvu.
5 The heifer is to be burned as he watches—hide, flesh, blood, and waste together. Ente eyo eneeyokerwanga mu maaso ge; ne bookya eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’omusaayi gwayo n’obusa bwayo.
6 The priest must take cedar wood, hyssop, and scarlet yarn, and throw them into the fire burning the heifer. Kabona anaddiranga omuti omwerezi, n’ezobu n’olugoye olumyufu n’abisuula wakati mu nte eyokebwa.
7 The priest must wash his clothes, bathe his body in water, then enter the camp—but remains unclean until evening. Ebyo nga biwedde kabona anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba omubiri gwe n’amazzi. Anaddangayo mu lusiisira, naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8 He who burns it must wash his clothes in water, bathe his body in water, and remain unclean until evening. N’omusajja anaayokyanga ente eyo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9 "A clean man will gather the heifer's ashes and put them in a clean place outside the camp. Israel's community will keep them for water of cleansing—it removes sin. “Omusajja omulongoofu anaayoolanga evvu ly’ente, anaaliteekanga mu kifo ekirongoofu ebweru w’olusiisira. Linaalabirirwanga abaana ba Isirayiri ne balikozesanga mu mazzi ag’okwerongoosa; kwe kulongoosebwa okw’okuggibwako ekibi.
10 The one gathering the heifer's ashes must wash his clothes and remain unclean until evening. This is a permanent law for Israelites and the foreigner living among them. Omuntu oyo anaayoolanga evvu ly’ente, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Eryo linaabanga etteeka ery’emirembe n’emirembe eri abaana ba Isirayiri n’eri bannamawanga abanaatuulanga mu bo.
11 "Whoever touches the dead body of any person is to be unclean for seven days. “Buli anaakwatanga ku mulambo ogw’omuntu yenna, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.
12 He must purify himself with it on days three and seven; then he'll be clean. If he doesn't purify himself on days three and seven, he won't be clean. Kinaamusaaniranga okwerongoosa n’amazzi ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, olwo n’alyoka abeera omulongoofu. Naye bw’ateerongoosenga ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, taabenga mulongoofu.
13 Anyone who touches a corpse—the body of someone who died—and doesn't purify himself makes the tabernacle of our Father unclean; that person is cut off from Israel. Since the water of purification wasn't sprinkled on him, he stays unclean; his uncleanness remains on him. Buli anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu n’ateelongoosa, anaabanga ayonoonye ennyumba ya Mukama Katonda. Omuntu oyo anaagobwanga mu Isirayiri. Kubanga teyamansirwako mazzi agalongoosa, anaabeeranga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe bunaamusigalangako.
14 "This is the law: when someone dies in a tent, everyone entering it and everyone in it is unclean seven days. “Lino lye tteeka erikwata ku muntu anaafiiranga mu weema: Buli anaayingiranga mu weema omwo n’oyo anaabanga agirimu banaabanga abatali balongoofu okumala ennaku musanvu.
15 And every open vessel that has no lid fastened on it is to be unclean. Buli kintu ekiterekwamu ekyasaamiridde ekitaliiko kisaanikira tekiibenga kirongoofu.
16 "Whoever touches, in an open field, one killed by the sword, one who has died naturally, a human bone, or a grave, becomes unclean seven days. “Omuntu yenna ng’abadde ali ebweru mu kyererezi, n’akwata ku muntu attiddwa n’ekitala oba olumbe gwe lusse, oba omuntu yenna anaakwatanga ku ggumba ly’omuntu oba ku malaalo, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.
17 "For the unclean person, they are to take ashes from the burned purification offering, put them in a vessel, and add fresh running water. “Nga mukola ku muntu atali mulongoofu, munaatoolanga ku vvu ery’oku kiweebwayo olw’ekibi ne muliteeka mu bbakuli ne muliyiwako amazzi amalungi.
18 A clean person is to take hyssop, dip it in the water, and sprinkle it on the tent, on all the vessels, on everyone who was there, and on whoever touched a bone, a slain person, a corpse, or a grave. Omusajja omulongoofu anaddiranga ezobu n’aginnyika mu mazzi, n’agamansira ku weema ne ku bintu byamu byonna ne ku bantu bonna abanaabanga balimu. Era anaamansiranga ne ku muntu anaabanga akutte ku ggumba ery’omuntu, ne ku malaalo, ne ku muntu attiddwa, ne ku oyo afudde olumbe.
19 The clean person is to sprinkle the unclean one on the third and seventh day, purifying him on the seventh day. He must wash his clothes, bathe in water, and be clean by evening. Omusajja omulongoofu anaamansiranga ku oyo atali mulongoofu ku lunaku olwokusatu ne ku lw’omusanvu, ne ku lunaku olw’omusanvu anaabanga amulongoosezza. Omuntu oyo alongoosebwa anaayozanga engoye ze mu mazzi, n’okunaaba n’anaaba yenna; era akawungeezi ako anaabeeranga mulongoofu.
20 Anyone unclean who doesn't purify himself must be cut off from the assembly, for he has made our Father's sanctuary unclean; the water of purification wasn't sprinkled on him—he is unclean. “Naye omuntu atali mulongoofu bw’ateerongoosenga anaagobwanga mu banne bonna, n’asalibwa ku kibiina kyabwe, kubanga anaabeeranga ayonoonye awatukuvu wa Mukama Katonda. Amazzi agalongoosa nga tegamumansiddwako, taabeerenga mulongoofu.
21 This is a lasting statute for them: whoever sprinkles the water of purification must wash his clothes; whoever touches the water of purification is unclean until evening. Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya mirembe gyonna. Oyo anaamansiranga amazzi ag’obulongoofu, naye anaayozanga engoye ze, n’oyo anaakwatanga ku mazzi ag’okulongoosa anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
22 Whatever the unclean person touches becomes unclean; whoever touches that is unclean until evening." Buli kintu atali mulongoofu ky’akwatako, kinaabanga ekitali kirongoofu; na buli anaakikwatangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]