Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 18 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father said to Aaron, "You, your sons, and your father's house will bear the guilt of the sanctuary; you and your sons will bear the guilt of your priesthood. Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Ggwe, ne batabani bo, n’ab’omu kika kyo bonna, mmwe munaavunaanyizibwanga olw’emisango eginazzibwanga ku watukuvu; era ggwe ne batabani bo mwekka mmwe muneetikkanga obuvunaanyizibwa ku misango eginazzibwanga ku bwakabona.
2 Bring your brothers too—the tribe of Levi, your father's tribe—to join and serve you, you and your sons, before the tent of the testimony. Onooleetanga Abaleevi banno ab’omu kika kyo eky’obujjajja ne babeegattako, ggwe ne batabani bo, okubayambanga bwe munaabanga muweereza mu Weema ya Mukama ey’Endagaano.
3 They must keep your duties and all the tent's duties, but not approach the sanctuary's sacred objects or the altar, or both they and you will die. Banaaweererezanga wansi wo nga bakola emirimu gyonna egy’omu Weema ya Mukama; naye beekuumenga balemenga okusemberera ekyoto wadde eby’omu watukuvu byonna; bwe balikikola, bo naawe mugenda kufa.
4 They will join you and keep the charge of the tent of meeting, all its service—no outsider may come near you. Bagenda kukwegattako, balabirirenga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu gyonna egy’omu Weema, era tewaabenga mugwira n’omu anaasemberanga we muli.
5 Guard the sanctuary and altar, so wrath never again falls on Israel's people. “Mmwe munaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’emirimu gyonna egy’awatukuvu n’egy’Ekyoto, olwo obusungu buleme kuddamu kubuubuukiranga ku baana ba Isirayiri.
6 I have taken your fellow Levites from Israel's sons—a gift to you, given to me, to serve at the tent of meeting. Kale weeteegereze: nziridde ab’omu lulyo lwo olw’Abaleevi nga mbalonze mu baana ba Isirayiri, ne mbakukwasa ng’ekirabo ekiweereddwayo eri Mukama Katonda okukolanga emirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
7 You and your sons must guard your priesthood in all matters of the altar and behind the inner curtain; serve there. I give your priesthood as a gift; any outsider who approaches must be put to death." Naye ggwe ne batabani bo mwekka mmwe munaakolanga emirimu gyonna egy’obwakabona bwammwe egikwata ku kyoto n’egy’omunda w’eggigi. Obuweereza obw’Obwakabona mbubawadde ng’ekirabo. Omuntu yenna omulala anaasemberanga okumpi n’awatukuvu, anaafanga.”
8 Our Father said to Aaron, "I have given you charge of my contributions, all the holy gifts of Israel's people. I have given them to you as a portion, and to your sons as a permanent share. Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Laba, Nze kennyini nkukwasizza ebiweebwayo byonna ebireetebwa gye ndi; ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga mbikuwadde ggwe ne batabani bo nga gwe mugabo gwammwe ogw’olubeerera.
9 This is yours from the most holy things kept from the fire: all their offerings—every grain offering, every sin offering, and every guilt offering they bring me—are most holy, for you and your sons. Ku biweebwayo byonna ebitukuvu ennyo ebitayokeddwa mu muliro kunaabangako ebibyo. Omugabo gwo ne batabani bo gunaavanga ku birabo ebitukuvu ennyo abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga: ebiweebwayo eby’emmere y’empeke oba ebiweebwayo olw’ekibi, oba ebiweebwayo olw’omusango.
10 Eat it in the most holy place; every male may eat it—it is holy to you. Omugabo ogwo onooguliiranga mu kifo ekitukuvu ennyo, era buli musajja anaagulyangako. Osaana okitegeere ng’ebyo bitukuvu nnyo.
11 This too is yours: the contribution from their gifts, all Israel's wave offerings. I've given them to you, your sons, your daughters with you—a permanent law. Anyone clean in your house may eat it. “Bino nabyo binaabanga bibyo: ku birabo bye banandeeteranga, n’ebiweebwayo ebiwuubibwawuubibwa eby’abaana ba Isirayiri. Ebyo mbikuwadde ne batabani bo ne bawala bo okuba omugabo gwo ogw’olubeerera. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako.
12 The best of the oil, new wine, and grain—the firstfruits they give me—I give you. “Nkuwadde ku mafuta ag’omuzeeyituuni agasinga obulungi ne ku wayini omusu, ne ku mmere y’empeke embereberye bye baleetera Mukama eby’amakungula gaabwe.
13 The first produce of their land, brought to me, is yours. Anyone clean in your house may eat it. Ebibala ebinaasookanga okwengera mu nnimiro zaabwe, bye banaaleeteranga Mukama Katonda, binaabanga bibyo. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako.
14 Every devoted thing in Israel is to be yours. “Buli kintu kyonna mu Isirayiri ekiweereddwayo ddala ne kiwongebwa eri Mukama kinaabanga kikyo.
15 Every firstborn of human or animal offered to me is yours—but redeem the firstborn of humans, and redeem the firstborn of unclean animals. Buli ekinaggulangawo enda y’omuntu oba ey’ekisolo, nga kyakuwaayo eri Mukama Katonda, kinaabanga kikyo. Naye omwana omubereberye ow’omuntu onoomununulanga, era n’embereberye ez’ensolo ezitali nnongoofu nazo onoozinunulanga.
16 Redeem them at one month old for about two ounces of silver, by the sanctuary standard. Ebyo eby’okununula onoobinunulanga bimaze okuweza omwezi gumu ogw’obukulu. Onoobinunuliranga ku muwendo ogwagerekebwa ogwa gulaamu amakumi ataano mu ttaano, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri.
17 But the firstborn cow, sheep, or goat you must not buy back—they are holy. Splash their blood on the altar, burn their fat as a food offering, a pleasing aroma to me. “Naye embereberye ey’ente, oba embereberye ey’endiga oba ey’embuzi, ezo toozinunulenga, kubanga zo ntukuvu. Onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n’oyokya amasavu gaazo mu muliro ng’ekiweebwayo ekyokebwa ekivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.
18 But their flesh is yours, as the wave-offering breast and right thigh are yours. Ennyama yaazo eneebanga yiyo ng’ekiweebwayo ky’ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi ekya ddyo bwe kiri ekikyo.
19 All the holy offerings Israel brings me I give you, your sons and daughters with you, as a lasting share. It is a salt covenant forever before me, for you and your offspring with you." Ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleeteranga Mukama, mbikuwadde, ggwe ne batabani bo, ne bawala bo, okubeeranga omugabo gwo ogw’olubeerera. Eneebeeranga endagaano ey’omunnyo eya Mukama wakati we naawe n’ezzadde lyo emirembe gyonna.”
20 Our Father said to Aaron, "You will have no inheritance in their land, no portion among them. I am your portion and inheritance among Israel's sons." Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Toobenga na byabusika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo; Nze mugabo gwo era Nze busika bwo mu baana ba Isirayiri.
21 "I have given the Levites all the tenth in Israel as inheritance in exchange for the service they perform, the service of the tent of meeting. “Ebitundu eby’ekkumi byonna abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga, mbiwadde Abaleevi okubeeranga omugabo gwabwe nga ye mpeera yaabwe olw’omulimu gwe bakola nga baweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
22 The Israelites must no longer approach the tent of meeting, or they will bear guilt and die. Era okuva leero abaana ba Isirayiri tebaasembererenga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, si kulwa nga bakolerayo ebibi, ne bafa.
23 But the Levites will serve at the tent of meeting and bear their own guilt. This is a permanent law for your generations: they get no inheritance among Israel's people. Abaleevi be banaakolanga emirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, era be baneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe banaakolerangayo ebibi. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Tebaafunenga byabusika mu baana ba Isirayiri.
24 For the tenth Israel's people present to me as a contribution, I have given the Levites as their inheritance. So I have told them: they will have no inheritance among Israel's people." Kubanga ebitundu eby’ekkumi abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga ng’ekiweebwayo eri Mukama, mbiwadde Abaleevi okubeera omugabo gwabwe. Noolwekyo tebaabenga na byabusika mu baana ba Isirayiri.”
25 Our Father spoke to Moses, saying, Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
26 "Speak to the Levites and tell them: When you take the tenth I have given you from Israel's people as your inheritance, bring a contribution from it to me—a tenth of the tenth. “Yogera n’Abaleevi obagambe nti, ‘Bwe munaafunanga ebitundu eby’ekkumi, bye mbawadde ng’omugabo gwammwe, nga mubiggya ku baana ba Isirayiri, munaggyangako ekitundu eky’ekkumi ne mukireeta nga kye kiweebwayo kyammwe eri Mukama Katonda.
27 Your contribution will count for you as grain from the threshing floor, as full produce from the winepress. Ekiweebwayo kyammwe kinaabalibwanga ng’emmere y’empeke ey’omu gguuliro oba ng’omubisi ogw’omu ssogolero.
28 You too must present a contribution to me from all your tenth taken from Israel's people, giving from it my contribution to Aaron the priest. Mu ngeri eyo nammwe munaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga mukiggya ku bitundu eby’ekkumi bye munaafunanga ku baana ba Isirayiri. Ku bitundu ebyo eby’ekkumi kwe munaggyanga ekiweebwayo kya Mukama ne mukikwasa Alooni kabona.
29 From all your gifts, present every offering to me—from each, the best and holiest part. Mu birabo ebyo byonna bye banaabawanga munaggyangako ekisingira ddala obulungi era ekitukuvu ennyo ne mukireeta nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda.’
30 "So tell them: when you offer its best part, it counts for the Levites as produce of the threshing floor and winepress. “Abaleevi bagambe nti, ‘Bwe munaawangayo ebitundu ebisinga obulungi, binaababalirwangako ng’ebivudde mu gguuliro n’ebivudde mu ssogolero.
31 Eat it anywhere, you and your households—it is your wage for your service in the tent of meeting. Mmwe n’ab’omu maka gammwe munaayinzanga okubiriira wonna we munaayagalanga, kubanga eneebeeranga mpeera yammwe olw’omulimu gwe munaakolanga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
32 You incur no guilt from it once you have offered its best part. But you must not desecrate the holy things of Israel's sons, or you will die." Bwe munaawangayo ebisingira ddala obulungi, tewaabengawo musango gwonna gwe munaabanga muzzizza; bwe mutyo ebiweebwayo ebitukuvu eby’abaana ba Isirayiri munaabanga temubivumisizza, muleme okufa.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]