Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 25 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 While Israel lived in Shittim, the people began sexual sin with Moab's daughters. Isirayiri bwe yali mu Sitimu, abasajja ne batandika okwenda n’abakazi ba Mowaabu,
2 They invited the people to their gods' sacrifices; the people ate and bowed to their gods. abaabayitanga ku kuwaayo ebiweebwayo eri bakatonda baabwe. Abaana ba Isirayiri ne balya era ne bavuunamira bakatonda abo.
3 So Israel joined himself to Baal of Peor, and the anger of our Father burned against Israel. Bw’atyo Isirayiri n’ayingirira eby’okusinzanga Baali ow’e Peoli. Obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako.
4 Our Father said to Moses, "Take all the people's leaders and execute them before me in daylight, so my burning anger turns away from Israel." Mukama n’agamba Musa nti, “Kwata abakulembeze b’abantu bano obatte, obaanike mu maaso ga Mukama abantu bonna we babalabira, obusungu bwa Mukama bulyoke bukkakkane buve ku Isirayiri.”
5 Moses told Israel's judges, "Each of you kill his men joined to Baal of Peor." Musa n’agamba abalamuzi ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe atte abo abali mu mmwe abeegasse mu kusinza Baali ow’e Peoli.”
6 Then an Israelite man brought a Midianite woman to his brothers in front of Moses and Israel's whole assembly, while they wept at the entrance of the tent of meeting. Kale, laba, omusajja omu ku baana ba Isirayiri n’aleeta mu maka ge omukazi Omumidiyaani awo mu maaso ga Musa, nga n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri bali awo bakaabira mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
7 Phinehas son of Eleazar, son of Aaron the priest, saw this, rose from the assembly, and took a spear in his hand. Naye Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, bwe yakiraba, n’asituka mu kibiina n’akwata effumu mu mukono gwe
8 He followed the Israelite man into the chamber and pierced them both—the Israelite man and the woman, through her belly. Then the plague against the Israelites stopped. n’agoberera Omuyisirayiri n’amutuusa mu weema. Bombi n’abafumita effumu ne liyita mu Muyisirayiri ne liggukira ne mu mubiri gw’omukazi, ne libayitamu bombi. Awo kawumpuli eyali alumbye abaana ba Isirayiri n’akoma.
9 Those who died in the plague were 24,000. N’abo abaafa kawumpuli baawera emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
10 Then our Father said to Moses, Mukama n’agamba Musa nti,
11 "Phinehas son of Eleazar, son of Aaron the priest, has turned my anger from the Israelites by his zeal for my zeal among them, so I didn't destroy the Israelites in my zeal. “Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ankyusisizza obusungu bwange ne mbuggya ku baana ba Isirayiri; kubanga obusungu bwe bwabuubuuka nnyo ng’obwange olw’obutafaayo ku kitiibwa kyange, kyenvudde sibazikiriza kubamalawo.
12 Therefore say: I am giving him my covenant of peace. Noolwekyo mutegeeze nti, ‘Laba nkola naye endagaano ey’emirembe.
13 He and his descendants after him will have a covenant of lasting priesthood, because he was passionate for me and made atonement for the Israelites." Ye, ne bazzukulu be bonna banaabanga mu ndagaano ey’obwakabona obw’emirembe gyonna, kubanga yasunguwalira abaana ba Isirayiri olw’okutyoboola ekitiibwa kya Katonda we, n’abatangiririra.’ ”
14 The name of the Israelite killed with the Midianite woman was Zimri son of Salu, a Simeonite clan leader. Omusajja Omuyisirayiri eyattirwa awamu n’omukazi Omumidiyaani yali Zimuli mutabani wa Salu eyali omukulembeze mu kika kya Simyoni.
15 The Midianite woman killed was named Cozbi, daughter of Zur, head of a clan in Midian. N’erinnya ly’omukazi Omumidiyaani eyattibwa nga ye Kozebi muwala wa Zuuli, eyali omukulembeze mu kimu ku bika bya Midiyaani.
16 Then our Father said to Moses, Mukama n’agamba Musa nti,
17 "Treat the Midianites as enemies and strike them down, “Abamidiyaani obayigganyanga n’obatta,
18 for they are your enemies through their trickery, by which they tricked you in the matter of Peor, and of Cozbi, daughter of Midian's leader, their sister, struck down on the day of the plague over Peor." kubanga baayagala okubazikiriza n’enkwe zaabwe bwe baabakyamya e Peoli, n’olwa Kozebi muwala w’omukulembeze w’e Midiyaani, omukazi oyo eyattibwa ku lunaku okwajjira kawumpuli olw’ebyo ebyali e Peoli.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]