1After the plague, our Father said to Moses and to Eleazar son of Aaron the priest,OLCBAwo oluvannyuma lwa kawumpuli, Mukama Katonda n’agamba Musa ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni, kabona, nti,
2"take a census of the whole Israelite community by ancestral house, everyone twenty and older able to serve in Israel's army."OLCB“Bala omuwendo gw’abantu bonna abali mu kibiina ky’abaana ba Isirayiri, ng’obabala mu bika byabwe ne mu mayumba ga bakadde baabwe. Bala abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo abakyasobola okutabaala mu ggye lya Isirayiri.”
3Moses and Eleazar the priest spoke with them on the plains of Moab, by the Jordan across from Jericho:OLCBBwe batyo, nga bali mu nsenyi za Mowaabu, ku ludda lw’omugga Yoludaani okwolekera Yeriko, Musa ne Eriyazaali kabona, ne boogera ne bagamba abantu nti,
4"Count the people twenty years old and up, as our Father commanded Moses." These were Israel's people who came from the land of Egypt:OLCB“Mubale abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.” Bano be baana ba Isirayiri abaava mu nsi y’e Misiri:
5Reuben, Israel's firstborn. Sons of Reuben: Hanoch, clan of the Hanochites; Pallu, clan of the Palluites,OLCBAb’omu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano: abaava mu Kanoki, lwe lunyiriri lw’Abakanoki; abaava mu Palu, lwe lunyiriri lw’Abapalu;
6of Hezron, the clan of the Hezronites; of Carmi, the clan of the Carmites.OLCBabaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni; abaava mu Kalumi, lwe lunyiriri lw’Abakalumi.
7These are the clans of the Reubenites; they numbered 43,730.OLCBEzo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730).
8The sons of Pallu: Eliab.OLCBMutabani wa Palu yali Eriyaabu,
9Eliab's sons: Nemuel, Dathan, and Abiram—the same Dathan and Abiram, community representatives who challenged Moses and Aaron in Korah's assembly, when they challenged our Father.OLCBne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda.
10The earth opened its mouth and swallowed them and Korah, when the company died and the fire consumed 250 men—they became a warning.OLCBEnsi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira, ne bafiira wamu ne Koola; n’abagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu.
11But the sons of Korah did not die.OLCBKyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna.
12Simeon's sons by clan: Nemuel's, the Nemuelite clan; Jamin's, the Jaminite clan; Jachin's, the Jachinite clan,OLCBAb’omu kika kya Simyoni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Nemweri, lwe lunyiriri lw’Abanemweri; abaava mu Yamini, lwe lunyiriri lw’Abayamini; abaava mu Yakini, lwe lunyiriri lw’Abayakini;
13of Zerah, the clan of the Zerahites; of Shaul, the clan of the Shaulites.OLCBabaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera; abaava mu Sawuli, lwe lunyiriri lw’Abasawuli.
14These are the clans of the Simeonites: 22,200.OLCBEzo ze nnyiriri z’ekika kya Simyoni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (22,200).
15Gad's sons by clan: Zephon's clan, the Zephonites; Haggi's clan, the Haggites; Shuni's clan, the Shunites,OLCBAb’omu kika kya Gaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Zefoni, lwe lunyiriri lw’Abazefoni; abaava mu Kagi, lwe lunyiriri lw’Abakagi; abaava mu Suni, lwe lunyiriri lw’Abasuni;
16of Ozni, the clan of the Oznites; of Eri, the clan of the Erites;OLCBabaava mu Ozeni, lwe lunyiriri lw’Abaozeni; abaava mu Eri, lwe lunyiriri lw’Abaeri;
17of Arod, the clan of the Arodites; of Areli, the clan of the Arelites.OLCBabaava mu Alodi, lwe lunyiriri lw’Abaalodi; abaava mu Aleri, lwe lunyiriri lw’Abaaleri.
18These are the clans of the sons of Gad as they were numbered: 40,500.OLCBEzo ze nnyiriri z’ekika kya Gaadi. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
19Judah's sons were Er and Onan; Er and Onan died in the land of Canaan.OLCBEri ne Onani baali batabani ba Yuda, naye ne bafiira mu nsi ya Kanani.
20Judah's sons by clan: from Shelah, Shelanite clan; from Perez, Perezite clan; from Zerah, Zerahite clan.OLCBAb’omu kika kya Yuda ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Seera, lwe lunyiriri lw’Abaseera; abaava mu Pereezi, lwe lunyiriri lw’Abapereezi; abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera.
21Perez's sons: Hezron, clan of the Hezronites; Hamul, clan of the Hamulites.OLCBBazzukulu ba Pereezi be bano: abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni abaava mu Kamuli, lwe lunyiriri lw’Abakamuli.
22These are the clans of Judah as they were numbered: 76,500.OLCBEzo ze nnyiriri z’ekika kya Yuda. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu ebikumi bitaano (76,500).
23Issachar's sons by clan: Tola, clan of the Tolaites; Puvah, clan of the Punites,OLCBAb’omu kika kya Isakaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Tola, lwe lunyiriri lw’Abatola; abaava mu Puva, lwe lunyiriri lw’Abapuva;
24of Jashub, the clan of the Jashubites; of Shimron, the clan of the Shimronites.OLCBabaava mu Yasubu, lwe lunyiriri lw’Abayasubu; abaava mu Simuloni, lwe lunyiriri lw’Abasimuloni
25These are the clans of Issachar as they were numbered: 64,300.OLCBEzo ze nnyiriri z’ekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu (64,300).
26Zebulun's sons by clan: from Sered, the Seredite clan; from Elon, the Elonite clan; from Jahleel, the Jahleelite clan.OLCBAb’omu kika kya Zebbulooni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Seredi, lwe lunyiriri lw’Abaseredi; abaava mu Eroni, lwe lunyiriri lw’Abaeroni; abaava mu Yaleeri, lwe lunyiriri lw’Abayaleeri.
27These are the clans of the Zebulunites as they were numbered: 60,500.OLCBEzo ze nnyiriri z’ekika kya Zebbulooni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu ebikumi bitaano (60,500).
28The sons of Joseph according to their clans were Manasseh and Ephraim.OLCBAb’omu kika kya Yusufu nga bayita mu bika bya batabani be Manase ne Efulayimu.
29Manasseh's sons: Machir's clan, the Machirites; Machir fathered Gilead; Gilead's clan, the Gileadites.OLCBAb’omu kika kya Manase ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Makiri, lwe lunyiriri lw’Abamakiri, Makiri ye yali kitaawe wa Gireyaadi. Abaava mu Gireyaadi, lwe lunyiriri lw’Abagireyaadi.
30Sons of Gilead: Iezer, clan of Iezerites; Helek, clan of Helekites,OLCBAb’omu kika kya Gireyaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Yezeeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri, abaava mu Kereki, lwe lunyiriri lw’Abakereki;
31and of Asriel, the clan of the Asrielites; and of Shechem, the clan of the Shechemites;OLCBabaava mu Asuliyeri, lwe lunyiriri lw’Abasuliyeri, abaava mu Sekemu, lwe lunyiriri lw’Abasekemu:
32and of Shemida, the clan of the Shemidaites; and of Hepher, the clan of the Hepherites.OLCBabaava mu Semida, lwe lunyiriri lw’Abasemida; abaava mu Keferi, lwe lunyiriri lw’Abakeferi.
33Zelophehad son of Hepher had no sons, only daughters: Mahlah, Noah, Hoglah, Milcah, and Tirzah.OLCBZerofekadi teyazaala baana balenzi, yalina bawala bokka, amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.
34These are the clans of Manasseh; they numbered 52,700.OLCBEzo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).
35These are Ephraim's descendants by family: Shuthelah, family of the Shuthelahites; Becher, family of the Becherites; Tahan, family of the Tahanites.OLCBAb’omu kika kya Efulayimu ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Susera, lwe lunyiriri lw’Abasusera; abaava mu Bekeri, lwe lunyiriri lw’Ababekeri; abaava mu Takani, lwe lunyiriri lw’Abatakani.
36And these are the sons of Shuthelah: of Eran, the clan of the Eranites.OLCBBano be bazzukulu ba Susera: abaava mu Erani, lwe lunyiriri lw’Abaerani.
37These are the clans of Ephraim's sons, by their count: 32,500. These are Joseph's sons by their clans.OLCBEzo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano (32,500). Abo bonna baava mu Yusufu ng’ebika byabwe bwe byali n’ennyiriri zaabwe bwe zaali.
38Benjamin's sons by clan: Bela, clan of the Belaites; Ashbel, clan of the Ashbelites; Ahiram, clan of the Ahiramites,OLCBAb’omu kika kya Benyamini ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Bera, lwe lunyiriri lw’Ababera; abaava mu Asuberi, lwe lunyiriri lw’Abasuberi abaava mu Akiramu, lwe lunyiriri lw’Abakiramu
39of Shephupham, the clan of the Shuphamites; of Hupham, the clan of the Huphamites.OLCBabaava mu Sufamu, lwe lunyiriri lw’Abasufamu; abaava mu Kufamu, lwe lunyiriri lw’Abakufamu.
40Bela's sons: Ard and Naaman—from Ard, the Ardite clan; from Naaman, the Naamite clan.OLCBAbazzukulu ba Bera nga bava mu Aluda ne Naamani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Aluda, lwe lunyiriri lw’Abaluda; abaava mu Naamani, lwe lunyiriri lw’Abanaamani.
41These are the sons of Benjamin by their clans; they numbered 45,600.OLCBEzo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).
42These were Dan's sons by clan: from Shuham, the Shuhamite clan. These were Dan's clans by clan.OLCBAb’omu kika kya Ddaani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Sukamu, lwe lunyiriri lw’Abasukamu. Abo be baava mu Ddaani.
43All the clans of the Shuhamites numbered 64,400.OLCBZonna zaali nnyiriri za Basukamu. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina (64,400).
44Asher's sons by clan: Imnah, clan of the Imnites; Ishvi, clan of the Ishvites; Beriah, clan of the Beriites.OLCBAb’omu kika kya Aseri ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Imuna, lwe lunyiriri lw’Abayimuna; abaava mu Isuvi, lwe lunyiriri lw’Abayisuvi; abaava mu Beriya, lwe lunyiriri lw’Ababeriya.
45Sons of Beriah: Heber, clan of Heberites; Malchiel, clan of Malchielites.OLCBAte okuva mu bazzukulu ba Beriya, ze zino: abaava mu Keberi, lwe lunyiriri lw’Abakeberi; abaava mu Malukiyeeri, lwe lunyiriri lw’Abamalukiyeeri.
46Asher had a daughter named Serah.OLCBAseri yalina omwana omuwala erinnya lye nga ye Seera.
47These are the clans of the sons of Asher as they were numbered: 53,400.OLCBEzo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
48Naphtali's sons by clan: Jahzeel, clan of Jahzeelites; Guni, clan of Gunites,OLCBAb’omu kika kya Nafutaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Yazeeri, lwe lunyiriri lw’Abayazeeri, abaava mu Guni, lwe lunyiriri lw’Abaguni
49of Jezer, the clan of the Jezerites; of Shillem, the clan of the Shillemites.OLCBabaava mu Yezeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri; abaava mu Siremu, lwe lunyiriri lw’Abasiremu.
50These are the clans of Naphtali; they numbered 45,400.OLCBEzo ze nnyiriri z’ekika kya Nafutaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (45,400).
51This was the total number of the people of Israel: 601,730.OLCBOkugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu (601,730).
52Then our Father said to Moses,OLCBAwo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
53"Among these the land is to be divided for inheritance according to the number of names.OLCB“Ensi ejja kubagabanyizibwamu okubeera obutaka bwabwe ng’obungi bw’amannya gaabwe bwe buli.
54Give the larger group more land, the smaller less—each share sized to its census count.OLCBEkibiina ekinene kinaafuna wanene, n’ekibiina ekitono kinaafuna watono. Buli kibiina kinaafuna obunene nga obungi bw’amannya agali ku lukalala bwe genkana obungi.
55But the land must be divided by lot; they will inherit according to their fathers' tribal names.OLCBWeegendereze okukakasa ng’ensi egabanyizibbwa mu bwenkanya. Ekika, ekitundu kye kinaafuna kineesigama ku bungi bw’amannya ga bajjajja b’ekika ekyo.
56Their inheritance is to be apportioned by lot between the larger and the smaller."OLCBEbitundu ebinene binaagabanyizibwa ku kalulu, era n’ebitundu ebitono nabyo bwe bityo.”
57These are the numbered Levites by their clans: Gershon's clan, the Gershonites; Kohath's clan, the Kohathites; Merari's clan, the Merarites.OLCBBano be Baleevi abaabalibwa ng’enyiriri zaabwe bwe zaali: abaava mu Gerusoni, lwe lunyiriri lw’Abagerusoni; abaava mu Kokasi, lwe lunyiriri lw’Abakokasi; abaava mu Merali, lwe lunyiriri lw’Abamerali.
59Amram's wife was named Jochebed, Levi's daughter, born to Levi in Egypt; she bore Amram Aaron, Moses, and their sister Miriam.OLCBErinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. N’azaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu.
60And to Aaron were born Nadab and Abihu, Eleazar and Ithamar.OLCBAlooni ye yali kitaawe wa bano: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
61But Nadab and Abihu died when they offered unauthorized fire before our Father.OLCBKyokka Nadabu ne Abiku ne bafa bwe baakuma omuliro ogutali mutukuvu mu maaso ga Mukama.
62The Levites counted numbered 23,000, every male a month old and up. They were not counted among the Israelites, since no inheritance was given them among the Israelites.OLCBAbasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.
63Moses and Eleazar the priest counted these on the plains of Moab by the Jordan, across from Jericho.OLCBAbo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona lwe baabala abaana ba Isirayiri mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.
64None of these had been counted by Moses and Aaron the priest in the wilderness of Sinai.OLCBNaye mu bano abaabalibwa temwalimu musajja n’omu ku abo abaali babaliddwa Musa ne Alooni kabona bwe baabala abaana ba Isirayiri mu Ddungu lya Sinaayi.
65For our Father had said of them, "They would surely die in the wilderness." None remained, except Caleb son of Jephunneh and Joshua son of Nun.OLCBKubanga Mukama Katonda yali agambye abaana ba Isirayiri abo nti awatali kubuusabuusa bonna bagenda kufiira mu ddungu. Era tewali n’omu eyasigalawo nga mulamu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.