Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In those days, again a large crowd gathered with nothing to eat. Jesus called his disciples and said, Mu biseera ebyo, ebibiina ne byeyongera obunene nate, abantu emmere n’ebaggwaako. Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti,
2 "I feel compassion for the crowd—they've been with me three days now and have nothing to eat. “Abantu bano bankwasa ekisa, kubanga baakamala nange ennaku ssatu, naye tebalina kyakulya.
3 If I send them home hungry, they'll collapse on the way—some have come from far off." Singa mbasiibula baddeyo ewaabwe nga tebalidde, enjala ejja kubasuula ku kkubo! Ate abamu bava wala.”
4 And his disciples answered him, "How can anyone feed these people with bread here in the wilderness?" Abayigirizwa ne bamubuuza nti, “Emigaati tunaagiggya wa wano mu ddungu eginaamala abantu bano bonna?”
5 And he asked them, "How many loaves do you have?" They said, "Seven." Yesu n’ababuuza nti, “Mulinawo emigaati emeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.”
6 He told the crowd to sit on the ground, took the seven loaves, gave thanks, broke them, and gave them to his disciples to serve to the people; and they served the crowd. Awo Yesu n’alagira abantu batuule wansi. N’addira emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, n’agimenyaamenyamu, n’agiwa abayigirizwa be ne bagitwalira ekibiina ne babagabula.
7 They also had a few small fish; after blessing them, he told the disciples to serve these to the people. Era baalina wo n’ebyennyanja bitono, nabyo Yesu n’abiwa omukisa n’agamba abayigirizwa be babigabule abantu.
8 And they ate and were satisfied. And they took up seven baskets of the leftover pieces. Abantu bonna ne balya okutuusa lwe bakkuta, ne bakuŋŋaanya ebyabalema ebisero musanvu ebijjudde.
9 About 4,000 people were there. And he sent them away. Mu kibiina ekyo mwalimu abantu ng’enkumi nnya. N’abasiibula.
10 Then immediately he got into the boat with his disciples and went to the district of Dalmanutha. Amangwago n’asaabala mu lyato n’abayigirizwa be n’ajja mu kitundu eky’e Dalumanusa.
11 The Pharisees came and began debating with him, testing him by demanding a sign from heaven. Abafalisaayo ne bajja gy’ali ne batandika okuwakana naye nga banoonya akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa.
12 Sighing deeply in his spirit, he said, "Why does this generation demand a sign? Truly I tell you, no sign will be given to this generation." Yesu n’assa ekikkowe, n’abagamba nti, “Lwaki omulembe guno gunoonya akabonero? Ddala ddala mbagamba nti, Tewali kabonero kajja kuweebwa mulembe guno.”
13 And he left them, got back into the boat, and went to the other side. N’abaviira n’asaabala mu lyato n’alaga ku ludda olulala olw’ennyanja.
14 They'd forgotten to bring bread—only one loaf was with them in the boat. Abayigirizwa beerabira okutwala emigaati egiwera; baalina omugaati gumu gwokka mu lyato.
15 And he warned them, "Watch out—beware of the yeast of the Pharisees and the yeast of Herod." Yesu n’abakuutira nti, “Mwekuume ekizimbulukusa eky’Abafalisaayo n’ekizimbulukusa ekya Kerode.”
16 And they began discussing with one another that they had no bread. Ne boogeraganya bokka ne bokka nti tebalina migaati.
17 Knowing this, Jesus asked, "Why discuss having no bread? Do you still not see or grasp? Are your hearts hardened? Yesu bwe yakimanya n’abagamba nti, “Lwaki mugambagana nti temulina migaati? Era temunnategeera? Emitima gyammwe gikyali mikakanyavu?
18 Having eyes, do you not see? Having ears, do you not hear? And do you not remember? Lwaki temulaba, ate nga mulina amaaso? Lwaki temuwulira ate nga mulina amatu? Temujjukira?
19 When I broke the five loaves for the 5,000, how many baskets full of fragments did you collect?" They said, "Twelve." Mwerabidde emigaati etaano gye namenyamenyamu okuliisa abantu enkumi ettaano? Ebisero byali bimeka eby’obukunkumuka bye mwakuŋŋaanya?” Ne baddamu nti, “Kkumi na bibiri.”
20 "And when I broke the seven for the 4,000, how many basketfuls of broken pieces did you gather?" They said, "Seven." N’ababuuza nti, “Ate abantu bwe baali enkumi ennya n’emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebisero by’obutundutundu bwe baalemwa bimeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.”
21 And he said to them, "Do you still not understand?" N’abagamba nti, “Era temunnategeera?”
22 They came to Bethsaida, where people brought him a blind man and begged Jesus to touch the man. Awo bwe baatuuka mu Besusayida, ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe w’amaaso, ne bamwegayirira amukwateko.
23 He took the blind man's hand, led him out of the village, spit on his eyes, laid hands on him, and asked, "Do you see anything?" Yesu n’akwata omuzibe w’amaaso ku mukono n’amufulumya ebweru w’akabuga ako. N’awanda amalusu ku maaso g’omusajja n’agakwatako, n’amubuuza nti, “Kaakano waliwo ky’olaba?”
24 He looked up and said, "I see people, but they look like trees, walking." Omusajja n’amagamaga, n’addamu nti, “Yee! Ndaba abantu kyokka balabika ng’emiti egitambula.”
25 Then Jesus put his hands on the man's eyes again; he looked intently, was restored, and saw everything distinctly. Yesu n’ayongera okukwata ku maaso g’omusajja, omusajja n’azibuka amaaso n’awonera ddala buli kintu n’akiraba bulungi.
26 And he sent him home, saying, "Do not even go into the village." Yesu n’amutuma mu maka g’ewaabwe ng’amugamba nti, “Toddayo mu kyalo.”
27 Jesus and his disciples went to the villages of Caesarea Philippi. On the way he asked them, "Who do people say I am?" Awo Yesu n’abayigirizwa be, ne bagenda mu bubuga obw’e Kayisaliya ekya Firipo. Naye bwe baali batambula, Yesu n’ababuuza nti, “Abantu bampita ani?”
28 They told him, "John the Baptist; and others say Elijah; and others, one of the prophets." Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Yokaana Omubatiza, abalala Eriya, naye abalala nti omu ku bannabbi.”
29 Then he asked them, "But who do you say I am?" Peter answered, "You are the Christ." Kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo.”
30 And he strictly warned them not to speak about him. Naye Yesu n’abakuutira baleme okukibuulirako omuntu yenna!
31 He began teaching them the Son of Man must suffer much, be rejected by the elders, chief priests, and scribes, be killed, and rise after three days. Awo Yesu n’atandika okubabuulira nti, “Kigwanidde Omwana w’Omuntu okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, n’oluvannyuma lw’ennaku ssatu okuzuukira.”
32 He said this plainly. And Peter took him aside and began to rebuke him. Yayogera nabo ku nsonga zino zonna mu lwatu, Peetero kyeyava amuzza wabbali n’atandika okumunenya.
33 But turning, he looked at his disciples and rebuked Peter: "Get behind me, Satan! For you are not setting your mind on the things of our Father, but on the things of man." Yesu n’akyuka n’atunuulira abayigirizwa be, n’alyoka anenya Peetero nti, “Setaani dda ennyuma wange, kubanga tolowooza ku bya Katonda wabula olowooza ku by’abantu.”
34 He called the crowd and his disciples and said to them, "Whoever wants to come after me must deny himself, take up his cross, and follow me. Awo Yesu n’ayita ekibiina wamu n’abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Obanga waliwo omuntu ayagala okungoberera, asaanidde okwefiiriza asitule omusaalaba gwe alyoke angoberere.
35 Whoever wants to save his life will lose it; whoever loses his life for my sake and the good news will save it. Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Naye oyo awaayo obulamu bwe ku lwange ne ku lw’Enjiri alibuwonya.
36 What good does it do a person to gain the whole world and forfeit his soul? Kale omuntu agasibwa ki singa alya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe?
37 For what can a person give in exchange for his soul? Omuntu ayinza kuweebwa ki, akiwanyise olw’obulamu bwe?
38 For whoever is ashamed of me and my words in this adulterous, sinful generation—the Son of Man will be ashamed of them too when he comes in his Father's glory with the holy angels." Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, n’ebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana w’Omuntu alimukwatirwa ensonyi bw’alijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]