Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The Pharisees and some of the scribes who had come from Jerusalem gathered around Jesus, Awo abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka abamu abaali bavudde e Yerusaalemi ne bakuŋŋaanira awali Yesu.
2 and they saw that some of his disciples were eating bread with unclean hands—that is, unwashed. Ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga balya tebanaabye mu ngalo.
3 (For the Pharisees and all the Jews don't eat unless they wash their hands ceremonially, keeping the elders' tradition. Kubanga Abafalisaayo n’Abayudaaya bonna tebaalyanga nga tebasoose kunaaba mu ngalo n’obwegendereza ng’empisa zaabwe bwe zaali.
4 When they come from the market, they don't eat without washing. They also hold to many other traditions they've received—washing cups, pitchers, and copper vessels.). Era bwe baddanga eka nga bava mu katale, ekyo kye baasookanga okukola nga tebannaba kukwata ku kyakulya kyonna. Waliwo n’obulombolombo obulala bwe baagobereranga ng’okulongoosa ensuwa zaabwe, n’ebikopo, n’ebbinika n’essowaani, n’ebirala bingi.
5 Then the Pharisees and scribes asked him, "Why don't your disciples follow the elders' tradition, but eat bread with unclean hands?" Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne babuuza Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera mpisa za bajjajjaffe ez’edda? Kubanga balya nga tebanaabye mu ngalo.”
6 He replied, "Isaiah prophesied truly about you hypocrites, as written: 'These people honor me with their lips, but their heart is far from me.' Yesu n’abaddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Nnabbi Isaaya yaboogerako bulungi ebyobunnabbi bwe yagamba nti, “ ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe tegindiiko.
7 'They worship me in vain, teaching as doctrines the commandments of men.' Okusinza kwabwe tekuliimu nsa; kubanga bayigiriza bulombolombo bwabwe.’
8 You abandon the commandment of our Father and hold to the tradition of men." Muleka ebiragiro ebiva eri Katonda ne mugoberera obulombolombo bw’abantu.”
9 He said to them, "You do a fine job setting aside our Father's commandment to keep your own tradition!" N’abagamba nate nti, “Munyooma ekiragiro kya Katonda, ne muggumiza obulombolombo bwammwe.
10 For Moses said, 'Honor your father and your mother,' and 'Whoever curses father or mother must be executed.' Musa yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ Era n’agamba nti, ‘Omuntu yenna ayogera obubi ku kitaawe oba nnyina anattibwanga.’
11 "But you say: if anyone tells his father or mother, 'Whatever you'd have gained from me is Corban' (a gift devoted to our Father), Naye mmwe mugamba nti kituufu omuntu okulagajjalira bakadde be nga bali mu kwetaaga n’abagamba bugambi nti, ‘Mmunsonyiwe, kubanga kye nandibawadde ye Korubaani.’ ”
12 then you no longer let him do anything for his father or mother. “Omuntu temumukkiriza kubeerako ky’akolera kitaawe oba nnyina.
13 So you cancel the word of our Father with your handed-down tradition. You do many things like this." Bwe mutyo munyooma ekigambo kya Katonda mulyoke mutuukirize obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa. N’ebirala bingi ebiri ng’ebyo bye mukola.”
14 He called the crowd again and said to them, "Listen to me, all of you, and understand: Awo Yesu n’ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Mmwe mwenna, mumpulirize, era mutegeere.
15 Nothing outside a person entering him can make him unclean; rather, what comes out of a person is what makes him unclean." Ebintu ebiyingira mu muntu si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe bye bizoonoona.
16 Not in this edition (Omuntu alina amatu agawulira awulirize.)”
17 When he had left the crowd and entered the house, his disciples asked him about the parable. Yesu n’aviira ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g’ebigambo bye yayogera.
18 He said to them, "Are you also this dull? Don't you understand nothing entering a person from outside can make him unclean, N’abaddamu nti, “Nammwe temutegedde? Temutegeera nti buli kintu ekiyingira mu muntu si kye kimwonoona?
19 since it doesn't enter his heart but his stomach, and then goes out into the sewer?" (Saying this, he declared all foods clean.). Olw’okuba nga tekiyingira mu mutima gwe naye kiyingira mu lubuto lwe ne kiryoka kigenda mu kabuyonjo.” Mu kwogera atyo Yesu yakakasa nga buli kyakulya bwe kiri ekirongoofu.
20 He said, "What comes out of a person—that makes him unclean. Era n’ayongerako na bino nti, “Ebirowoozo by’omuntu bye bimwonoona.
21 For from within, out of the human heart, come evil thoughts—sexual sin, theft, murder, Kubanga mu mutima gw’omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi eby’obukaba, n’obubbi, n’obutemu, n’obwenzi,
22 adultery, greed, malice, deceit, sensuality, envy, slander, pride, and foolishness. n’okwegomba, n’omutima omubi, n’obukuusa, n’obumenyi bw’amateeka, n’obuggya, n’okusekeeterera, n’obusirusiru.
23 All these evils come from inside and make a person unclean." Ebibi bino byonna biva munda mu muntu ne bimwonoona.”
24 Jesus left there for the region of Tyre. He entered a house, wanting no one to know, but couldn't stay hidden. Awo Yesu n’alaga mu bitundu by’e Ttuulo, n’atayagala kitegeerekeke nti ali mu bitundu ebyo, naye ne kitasoboka.
25 Instead, a woman whose little daughter had an unclean spirit heard about him at once, came, and fell at his feet. Omukazi eyalina muwala we ng’aliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, n’ajja eri Yesu, n’agwa ku bigere bye.
26 The woman was Greek, Syrophoenician by birth. She kept asking him to drive the demon out of her daughter. Omukazi teyali Muyudaaya, yali Musulofoyiniiki, n’amwegayirira agobe dayimooni ku mwana we.
27 He told her, "Let the children eat first, for it's not right to take their bread and toss it to the dogs." Yesu n’agamba omukazi nti, “Omwana asaana asoke akkute, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”
28 But she replied to him, "Sir, even the dogs under the table eat the children's crumbs." Naye omukazi n’amuddamu nti, “Ekyo bwe kiri, ssebo, naye era n’embwa ezibeera wansi mu mmeeza, ziweebwa ku bukunkumuka obuva ku ssowaani z’abaana.”
29 He said to her, "Because of this answer, go—the demon has left your daughter." Yesu n’amugamba nti, “Olw’ekigambo ekyo, weddireyo eka, kubanga dayimooni avudde ku muwala wo.”
30 And she went home and found the child lying on the bed, and the demon gone. Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.
31 Then Jesus left the territory of Tyre, went through Sidon to the Sea of Galilee, into the region of the Decapolis. Yesu bwe yava mu Ttuulo n’agenda e Sidoni, eyo gye yava n’addayo ku nnyanja ey’e Ggaliraaya ng’ayitira mu “Bibuga Ekkumi” (Dekapoli).
32 They brought him a deaf man who could hardly speak, begging him to lay his hand on him. Awo ne bamuleetera omusajja omuggavu w’amatu ate nga tayogera, abantu bonna ne beegayirira Yesu amusseeko emikono gye amuwonye.
33 Jesus took him aside privately, away from the crowd, put his fingers in the man's ears, spit, and touched his tongue. Yesu n’aggya omusajja mu bantu n’amulaza wabbali, n’assa engalo ze mu matu g’omusajja; n’awanda amalusu, n’agasiiga n’olunwe lwe ku lulimi lw’omusajja.
34 Then, looking up to heaven, he sighed deeply and said to him, "Ephphatha!" (that is, "Be opened!"). Awo Yesu n’atunula waggulu n’assa ekikkowe, n’alyoka alagira omusajja nti, “Efasa!” ekitegeeza nti, “Gguka.”
35 And immediately his ears were opened, his tongue was released, and he began to speak plainly. Amangwago amatu g’omusajja ne gagguka n’awulira buli kintu era n’ayogera bulungi!
36 Jesus ordered them to tell no one; but the more he ordered, the more they proclaimed it. Yesu n’akuutira ekibiina baleme kutegeezaako balala ku bigambo ebyo okubisaasaanya, naye bo ne beeyongera okutegeeza.
37 They were completely amazed: "He has done everything well—he makes the deaf hear and the mute speak." Kye yakola kyali kibayitiriddeko. Ne boogera nga batenda Yesu nti, “Buli ky’akola kya kyewuunyo, aggula n’amatu ga bakiggala n’ayogeza ne bakasiru!”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]