Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 He went out from there and came to his hometown, and his disciples followed him. Yesu n’ava mu kitundu ekyo n’abayigirizwa be n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe.
2 On the Sabbath he began teaching in the synagogue. Many who heard were amazed: "Where did this man get this? What wisdom is this, given to him? How do such miracles happen through his hands? Olunaku lwa Ssabbiiti bwe lwatuuka n’agenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza, abantu bangi abaaliwo ne beewuunya nnyo bwe baawulira bw’ayigiriza, ne bawuniikirira ne beebuuza nti, “Bino byonna yabiyigira wa era magezi ga ngeri ki ono ge yaweebwa n’eby’amagero ebyenkanidde wano by’akola?”
3 Isn't this the carpenter, Mary's son, brother of James, Joses, Judas, and Simon? Aren't his sisters here with us?" They were offended by him. Ne beebuuza nti, “Ono si ye mwana w’omubazzi? Maliyamu si ye nnyina, ne baganda be si be ba Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetubeera nabo kuno?” Ekyo ne kibatawanya mu mutima.
4 Jesus said to them, "A prophet lacks honor only in his hometown, among his relatives, and in his own household." Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa buli wantu okuggyako mu nsi y’ewaabwe ne mu bantu be ne mu maka ge waabwe.”
5 He could do no miracle there, except laying hands on a few sick and healing them. Naye teyakolerayo byamagero bingi okuggyako abalwadde abatonotono be yakwatako n’abawonya.
6 He was amazed at their lack of faith. Then he went around the villages teaching. N’awuniikirira nnyo okulaba nga tebamukkirizza. Awo n’agenda ng’ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.
7 He called the twelve and began sending them out two by two, giving them authority over unclean spirits. Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abatuma babiri babiri era n’abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu.
8 He ordered them to take only a staff for the road—no bread, no bag, no money in their belts, N’abakuutira obutatwala kantu konna okuggyako omuggo ogw’okutambuza gwokka nti, “Temutwala mmere wadde akagugu newaakubadde ensimbi mu lukoba.
9 but to wear sandals and not put on two tunics. Mwambale engatto naye temutwala kkanzu yakubiri.”
10 And he said to them, "Wherever you enter a house, stay there until you leave that place. N’abagamba nti, “Era buli nnyumba gye munaayingirangamu musulanga omwo okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo.
11 Whatever place refuses to welcome or hear you, leaving there, shake the dust off your feet as testimony against them." Era bwe mutuukanga mu kifo ne batabaaniriza yadde okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo mukunkumuliranga mu kifo omwo enfuufu ey’omu bigere byammwe, okuba akabonero gye bali.”
12 So they went out and proclaimed that people should repent. Awo abayigirizwa ne bagenda nga babuulira buli muntu nti, “Mwenenye.”
13 And they drove out many demons and anointed many sick people with oil and healed them. Ne bagoba baddayimooni bangi ku bantu, ne basiiga abalwadde amafuta ne babawonya.
14 King Herod heard of it, for Jesus's name had become known. Some were saying, "John the Baptist has been raised from the dead; that is why these miraculous powers are at work in him." Awo Kabaka Kerode n’awulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna olw’ebyamagero bye yakolanga. Naye Kerode n’alowooza nti Yokaana Omubatiza y’azuukidde, kubanga abantu baayogeranga nti, “Tewali muntu mulala ayinza kukola byamagero nga bino.”
15 But others said, "He's Elijah." Others said, "He's a prophet, like one of the prophets of old." Naye abalala ne balowooza nti, “Eriya.” N’abalala ne bagamba nti, “Nnabbi ng’omu ku bannabbi ab’edda.”
16 But when Herod heard of it, he said, "John, whom I beheaded, has been raised." Kerode bwe yabiwulira ye n’agamba nti, “Oyo Yokaana, omusajja gwe natemako omutwe, y’azuukide mu bafu.”
17 Herod had sent and seized John, binding him in prison because of Herodias, his brother Philip's wife, whom he had married. Kubanga Kerode yennyini ye yatuma abaserikale be ne bakwata Yokaana Omubatiza ne bamuggalira mu kkomera, olwa Kerudiya muka muganda we Firipo, Kerode gwe yali awasizza.
18 For John kept telling Herod, "It is not lawful for you to have your brother's wife." Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okutwala Kerudiya muka muganda wo Firipo.”
19 And Herodias held a grudge against him and wanted to kill him, but she could not, Kerudiya n’ayagala okutta Yokaana yeesasuze, naye nga tayinza.
20 Herod feared John, knowing him righteous and holy, and protected him. Hearing John left Herod deeply puzzled, yet he gladly listened to him. Kubanga Kerode yatyanga Yokaana Omubatiza, ng’amuwa ekitiibwa ng’omuntu wa Katonda ow’amazima era omutukuvu, era ng’amukuuma. Era Kerode bwe yayogeranga ne Yokaana ng’emmeeme ye tetereera, so nga yali ayagala nnyo okuwuliriza by’amugamba.
21 Then a fitting day came: Herod's birthday, when he gave a banquet for his nobles, military commanders, and Galilee's leading men. Naye olwali olwo, Kabaka Kerode n’afumba embaga ku lunaku lw’amazaalibwa ge, n’ayita abakungu be n’abakulu b’abaserikale n’abaami bonna abatutumufu mu Ggaliraaya.
22 When Herodias's daughter entered and danced, she delighted Herod and his dinner guests. The king told the girl, "Ask me for anything you want, and I'll give it to you." Awo muwala wa Kerudiya yennyini n’ajja n’azina nnyo, n’asanyusa Kerode n’abagenyi be yali atudde nabo ku mbaga. Awo Kabaka Kerode n’agamba omuwala nti, “Nsaba kyonna ky’oyagala nange nnaakikuwa.”
23 He swore to her, "Whatever you ask me, I'll give you—up to half my kingdom." Era n’ayongera okumulayirira nti, “Kyonna kyonna ky’ononsaba yadde ekitundu ky’obwakabaka bwange nnaakikuwa!”
24 She went out and said to her mother, "What should I ask?" She said, "The head of John the Baptist." Awo omuwala n’afuluma ne yeebuuza ku nnyina. Nnyina n’amugamba nti, “Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”
25 She went in immediately, with urgency, to the king and asked, "I want you to give me this instant the head of John the Baptist on a platter." Omuwala n’addayo mangu eri kabaka n’amusaba nti, “Njagala ompe kaakano, ku ssowaani, omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”
26 Deeply grieved, the king still wouldn't refuse her, because of his oaths and his guests. Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, n’anyiikaala nnyo, kyokka olwokubanga yali amaze okulayira n’okweyama ng’abagenyi be bawulira, n’atya okumenya obweyamo bwe.
27 The king at once sent an executioner, ordering John's head brought. He went and beheaded him in the prison, Bw’atyo n’ayita omuserikale we, n’amulagira agende aleete omutwe gwa Yokaana. Omuserikale n’agenda mu kkomera, n’atemako Yokaana omutwe,
28 and brought his head on a platter, gave it to the girl, and the girl gave it to her mother. n’aguleeteera ku lutiba, n’aguwa omuwala n’omuwala n’agutwalira nnyina.
29 When John's disciples heard, they came, took his body, and laid it in a tomb. Abayigirizwa ba Yokaana bwe baategeera ne bajja ne baggyawo omulambo gwe, ne bagutwala ne baguziika.
30 The apostles gathered to Jesus and told him all that they had done and taught. Awo abatume ne bakomawo awali Yesu ne bamunnyonnyola byonna bye baakola ne bye baayigiriza.
31 He told them, "Come away by yourselves to a quiet place and rest a while." For many were coming and going, and they had no time to eat. N’abagamba nti, “Mujje tugende mu kifo eteri bantu tuwummuleko.” Kubanga baali babuliddwa n’akaseera ak’okuliiramu ku mmere olw’abantu abangi abajjanga gye bali; bano baabanga baakavaawo ate ng’abalala bajja.
32 And they went away in the boat to a desolate place by themselves. Bwe batyo ne balinnya mu lyato ne bagenda mu kifo ekiwolerevu eteri bantu.
33 Many saw them leave and recognized them; they ran on foot from every town and got there ahead of them. Naye abantu bangi abaava mu bibuga bingi ne babalaba nga bagenda ne bategeera gye baali bagenda ne badduka okwetooloola ku lukalu ne babeesookayo.
34 Stepping ashore, he saw a large crowd and felt compassion for them, for they were like sheep without a shepherd, and began teaching them many things. Yesu bwe yava mu lyato n’alaba ekibiina ky’abantu bangi abaali bakuŋŋaanye n’abasaasira nga bali ng’endiga ezitalina musumba. Awo n’atandika okubayigiriza ebintu bingi.
35 When it was already late, his disciples came to him and said, "This is an isolated place, and it's already late. Awo obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, “Ekifo kino kya ddungu ate n’obudde buwungedde.
36 Send them away to go into the surrounding countryside and villages and buy themselves something to eat." Abantu basiibule bagende beegulire emmere mu byalo ne mu bibuga ebiriraanye wano.”
37 He replied, "You give them something to eat." They said, "Should we go buy 200 denarii of bread and give them it to eat?" Naye Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya.” Ne bamubuuza nti, “Tugende tubagulire emmere nga ya dinaali ebikumi bibiri, tugibawe balye?”
38 He asked them, "How many loaves do you have? Go and see." They found out and said, "Five, and two fish." Yesu n’ababuuza nti, “Mulina emigaati emeka? Mugende mulabe.” Bwe baamala okwetegereza ne bamugamba nti, “Waliwo emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri.”
39 Then he commanded them all to sit down in groups on the green grass. Awo Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi ku muddo mu bibinja.
40 So they sat down in groups, by hundreds and by fifties. Awo ne batuula mu bibinja, eby’abantu ataano ataano, awalala kikumi kikumi.
41 Taking the five loaves and two fish, he looked up to heaven, gave thanks and broke the loaves, gave them to the disciples to set before the people, and divided the two fish among them all. Yesu n’atoola emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’ayimusa amaaso ge eri eggulu ne yeebaza Katonda. N’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja ebibiri, n’abiwa abayigirizwa be ne bagabula abantu bonna ne babuna.
42 And they all ate and were satisfied. Bonna ne balya ne bakkuta.
43 And they took up twelve baskets full of broken pieces and of the fish. Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw’emigaati n’obw’ebyennyanja ebisero kkumi na bibiri.
44 And those who ate the loaves were 5,000 men. Abasajja abaalya emigaati baali enkumi ttaano.
45 At once he made his disciples board the boat and go ahead to the other side, toward Bethsaida, while dismissing the crowd. Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bawunguke bagende emitala w’ennyanja e Besusayida abasange eyo, ng’amaze okusiibula ebibiina by’abantu.
46 And after he had taken leave of them, he went up on the mountain to pray. Bwe yamala okubasiibula n’alinnya ku lusozi okusaba.
47 When evening came, the boat was out on the sea, and he was alone on the land. Awo obudde bwe bwawungeera, Yesu ng’asigadde yekka ku lukalu,
48 He saw them straining at the oars, for the wind was against them. Around three in the morning he came to them, walking on the sea. He meant to pass by them, n’abalengera nga bategana n’eryato kubanga waaliwo omuyaga mungi n’amayengo amagulumivu ebyabafuluma mu maaso gye baali balaga. Awo obudde bwali bunaatera okukya nga ku ssaawa mwenda ez’ekiro, n’ajja gye bali ng’atambulira ku mazzi, n’aba ng’ayagala okubayitako.
49 but seeing him walk on the sea, they thought it was a ghost and cried out, Naye bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne baleekaana nnyo, bonna, nga batidde, kubanga baalowooza nti muzimu,
50 for all saw him and were terrified; but immediately he spoke to them, saying, "Take heart; it is I. Do not be afraid." kubanga bonna baamulaba ne batya. Naye n’ayanguwa okwogera nabo, n’abagamba nti, “Mugume omwoyo. Ye Nze, temutya.”
51 He got into the boat with them, and the wind stopped; they were completely amazed among themselves, Awo n’alinnya mu lyato, omuyaga ne gulekeraawo okukunta! Abayigirizwa be ne bawuniikirira nnyo.
52 for they did not understand about the loaves, but their hearts were hardened. Tebategeera kyamagero eky’emigaati kubanga emitima gyabwe gyali mikakanyavu.
53 When they had crossed over, they came to land at Gennesaret and moored to the shore. Awo eryato lyabwe bwe lyagoba ku lubalama lw’ennyanja Genesaleeti,
54 And when they got out of the boat, the people immediately recognized him. ne bavaamu. Abantu bwe balaba Yesu, amangwago ne bamutegeererawo.
55 They ran through that whole region and began carrying the sick on mats to wherever they heard he was. Ne babuna mu bitundu ebyali biriraanyeewo nga bamuleetera abalwadde nga basituliddwa ku butanda.
56 Wherever he went—villages, towns, countryside—they laid the sick in the marketplaces, begging to touch just the edge of his cloak. All who touched it were healed. Wonna wonna gye yagendanga, mu byalo, mu bibuga, mu butale ne ku nguudo ne baleeta abalwadde ne bamwegayirira waakiri bakwateko bukwasi ku lukugiro lw’ekyambalo kye. Era bonna abaakikwatako ne bawona.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]